TOP

Mayanja bamwanjudde n’akubira ennanga ku buko

By Josephat Sseguya

Added 8th October 2016

WADDE sirina maanyi mundeke nzinemu,’ bw’atyo omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Ssekandi bwe yayogedde ng’azina ne Stabua Natoolo ku mukolo gwa Henry Mayanja omukubi w’ennanga bwe yabadde ayanjulwa mu maka ga Hajji Swaibu Nsanjo ku kyalo Kirimya mu Masaka ku Lwokutaano.

Mayanjannanga1 703x422

Mayanja ng’aloola n’owuwe.

Bya JOSEPHAT SSEGUYA

‘WADDE sirina maanyi mundeke nzinemu,’ bw’atyo omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Ssekandi bwe yayogedde ng’azina ne Stabua Natoolo ku mukolo gwa Henry Mayanja omukubi w’ennanga bwe yabadde ayanjulwa mu maka ga Hajji Swaibu Nsanjo ku kyalo Kirimya mu Masaka ku Lwokutaano.

ayanja ne besitimaani we sekamatte Mayanja ne besitimaani we Ssekamatte.

 

Ssekandi yasoose kusesa bantu nga yeebaza Mayanja okugaana omuggo bazadde b’omuwala Madiina Namulindwa Engozi gwe baamuwadde okukuuma amakaage n’agamba nti ayinza okwekanga ng’agumukubye, Ssekandi n’agamba nti, kituufu temulwana naye bwe munyiigagana, omukwata ku bbeere n’asirika.

Ssekandi eyabadde atudde ne District Khadi wa Greater Masaka, Sheikh Swaib Ndugga, omukolo yagulese tegunaggwa. Leirah Kalanzi Kacapizo yabadde omu ku bassenga era yasessezza abantu bwe yatodde ‘Salaamu’ ey’ekitundu ng’awaayo ekimuli.

 andujja ku kkono sa usoke wakati ne ebecca jingoandujja ku kkono sa usoke wakati ne ebecca jingo Nandujja (ku kkono), Isa Musoke (wakati) ne Rebecca JjingoNandujja (ku kkono), Isa Musoke (wakati) ne Rebecca Jjingo

 

Omwogezi w’emikolo, Issa Musoke eyakulembedde abako yasanze akaseera akazibu olwa Mayanja okukola ebintu ebimu nga tannakkirizibwa omuli okulumba omugole nga yaakatuuka mu kidaala n’amugwa mu kifuba, okuzinira ku buko n’okukuba ennanga gye baabadde baamugaanye ate n’agikolerako obukolomooni.

muyimbi semakula ngaleeta omugole Omuyimbi Ssemakula ng’aleeta omugole.

 

Obudde bwayise olw’abayimbi abangi, bannakatemba ne basereebu abaabadde balina okweraga era omukolo gwawedde ssaawa bbiri ez’ekiro. Grace Ssekamatte ye yabadde ‘besitimaani’ wa Mayanja.

Olw’okuwasa Madina, Mayanja yasiramuka n’atuumwa Mubarak wadde nga teyayambadde nkoofi ira ya Kisiraamu. Mu kumussaako empeta, yavudde mu ngalo za Mayanja n’egwa n’ebula ne baginoonya okumala akaseera ng’abantu bwe boogera buli omu ky’ayagadde.

Baasaze keeki ku ssaawa bbiri ez’ekiro ne bagabula

 tabua ngazina ne sekandi Stabua ng’azina ne Ssekandi.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mazzi1 220x290

Omukozi atuuse okwezza omwami wo...

Ky‛olina okumanya, abaana abo be muleeta ng‛abakozi abamu babeera n‛ebigendererwa eby‛okufumbirwa naye ng‛abasajja...

Liz1 220x290

Abanoonya; Njagala musajja Muzungu...

Obutabeera na musajja kye kisinze okumalako emirembe

Baagalana1 220x290

Munno muyambeko ku mirimu gy’awaka...

Omulundi oguwedde nnabalaga nga bwe mwesuuliddeyo ogwannaggamba ku buvunaanyizibwa bwammwe.

Ova1 220x290

Okulwawo okwegatta kigumbawaza...

Baazudde nti buli musajja bw’alwawo okwegatta waliwo embeera y’omubiri mu kisawo ekitereka enkwaso ze gye kizaala...

Ho1 220x290

Omubaka Ssempala akyalimu endasi......

Omubaka Ssempala akyalimu endasi...