TOP
  • Home
  • Aga wiiki
  • Okukyala kw’omuyimbi Ykee Benda kwafuuse kwanjula

Okukyala kw’omuyimbi Ykee Benda kwafuuse kwanjula

By Musasi wa Bukedde

Added 8th May 2017

“NZE faama ono ye nnimiro yange naye kati mweyitira Malayika….” bwatyo omuyimbi Ykee Benda eyakuyimbira ‘Farmer’ ne Sheebah Karungi kati alina ‘Eva’ olukutte abavubuka omubabiro bwe yatandise ng’awaana omwagalwa we Omumbejja Julie Batenga.

Yanju1 703x422

Ykee ng’amema ne malayika we.

Wiiki ewedde Ykee Benda ng’amannya ge amatuufu ye Wycliff Tugume yatandise ku kisuubizo kye eri Batenga eky’okumuwasa mu bufumbo Obutukuvu bwe yakyadde mu maka ga ssenga we, Lillian Nasolo e Nabutti- Mukono ng’ono ye mukyala w’omubaka Jonson Muyanja Ssenyonga omukulu.

 bimu ku bintu ebyaleeteddwa Ebimu ku bintu ebyaleeteddwa.

Wadde omukolo gwabadde gwa kukyala, naye ng’oyinza okulowooza kwanjula olw’engeri gye gwatambuziddwaamu n’obungi bw’abantu abaagwetabyeko okusingira ddala abooludda lw’omuwala era bano batudde mu weema.

 bamu ku bako abaawerekeddeko kee enda Abamu ku bako abaawerekeddeko Ykee Benda.

Batenga yakyusizza emirundi ebiri ate bwe baatuuse okubuuza abako, bassenga, abawala b’awaka ssaako n’abalenzi bazze nga bazinira ku bidongo nga n’ezimu ku nnyimba obwedda DJ zaakuba zaabadde za Ykee Benda olwo enduulu n’esaanikira ekidaala nga bwe basuusuuta omuko abamu obwedda gwe bayita ssereebu.

 senga ngagabula omuko ne besitimaani Ssenga ng’agabula omuko ne besitimaani.

Ykee Benda ebintu naye yatutte ebiwerako. Batenga muwala wa Harriet Birabwa ne David Walugembe ate Ykee Benda mutabani wa Ruth Mbabazi ne Alex Mpakanyi ab’e Kireka.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Cranes1 220x290

Cranes etandise kaweefube okuddayo...

UGANDA Cranes wansi w’omutendesi Micho Sredojevich enkya ya leero etandise mu butongole okutendekebwa mu kisaawe...

Kcca12 220x290

KCCA ne Express buli omu awera...

ZAAKUDDA okunywa akawungeezi ka leero nga kirabu ebbiri ezimu ku zisinga amaanyi mu mupiira gwa Uganda Express...

Bas1 220x290

Abalamazi 80 basimattuse okufiira...

Abalamazi 80 basimattuse okufiira mu kabenje ka Bbaasi e Masaka

Mo1 220x290

Poliisi gwe yazze okukwata yabasiseeko...

Poliisi gwe yazze okukwata yabasiseeko emmundu ne batuuyana

Bu1 220x290

Eyasiibudde mukyala we nti agenda...

Eyasiibudde mukyala we nti agenda Rwanda bamukutte n'owa p7 mu loogi