TOP
  • Home
  • Embaga
  • Kapere bamugasse n’ekimyula kye mu mbaga y'ekikungo

Kapere bamugasse n’ekimyula kye mu mbaga y'ekikungo

By STEVEN MUSOKE

Added 8th May 2017

OMUSUMBA Robert Kayanja owa Lubaga Miracle Centre agasse abagole emigogo 280 n’agatta ne Kapere n’ekimyula kye.

Kapere1 703x422

Kapere ng’amanya ge amatuufu ye John Mbuuse ng’akuba mukyala we Lydia Nakandi kiisi nga baakamala okugattibwa mu bufumbo Obutukuvu.

Abagole abaasombeddwa ku lukululana okubaleeta mu kidaala ng'eno abeηηanda bwe basimbye ennyiriri ebbali n’ebbali babakubira emizira.

Omukolo gw’okugatta abagole bano yagukoze ng'ayambibwako mukyala we Omusumba Jesca Kayanja n'Abasumba abalala abaagasse abagole kinnoomu.

 musumba ayanja ne mukyala we esaca mu maaso nabamu ku bagole be baagasse Omusumba Kayanja ne mukyala we Jesaca (mu maaso) n’abamu ku bagole be baagasse.

Omukolo gwatandise ku ssaawa 6:00 n’okutuuza abagole mu bifo byabwe era bwe baamaze Omusumba Kayanja n’ayita banne ne batandika omukolo gwe baakoledde kumpi essaawa nnya.

Buli mugogo gwa bagole Omusumba yabawadde keeki gye baasaze ate nga ye yakoze ku kubambaza n'okusembeza abagenyi baabwe.

 mulema enis ziwa ngaamema nomulungi we uth amata nga baakagattibwa mu kanisa yomusumba ayanja Omulema Denis Zziwa nga’amema n’omulungi we, Ruth Namata nga baakagattibwa mu Kkanisa y’omusumba Kayanja.

Wabula Omusumba Kayanja yasiriikiriddemu katono bwe yatuuse ku musajja Rogers Nkajja abazigu gwe baakuba kalifoomu ne bamutwala ne bamutemako emikono n’amagulu oluvanyuma ne bamusuula ku luguudo lw’eggaali y’omukka e Mukono.

 ogers kajja eyagwa mu batemu ne bamutemako emikono namagulu ngali ne famire ye oluvannyuma lwokugattibwa ne mukyala we etty akate Rogers Nkajja eyagwa mu batemu ne bamutemako emikono n’amagulu ng’ali ne famire ye oluvannyuma lw’okugattibwa ne mukyala we Betty Nakate.

Nkajja nga mutuuze e Wantoni Mukono yalombozze ebyamutuukako era nga mu kaseera kano abagoberezi abamu baatuuse n’okunyiikala kyokka Omusumba n’ayanguwa okubajjukiza nti obudde bwa kusanyuka.

Yeeyamye okuyamba Nkajja ne mukyala we Nakate okubafunira eky’okukola basobole okulabirira abaana baabwe abana be balina.

 teven imbowa eyawasizza ddaali oyce irembe omulema nga baloola oluvannyuma lwokugattibwa ewmusumba ayanja Steven Kimbowa eyawasizza ddaali Joyce Mirembe omulema nga baloola oluvannyuma lw’okugattibwa ew’Omusumba Kayanja.

Yeebazizza omukyala olw’obutasuula musajja we ng’afuuse omulema n’ategeeza nti bino by’ebibala bya 77 Dogs.

Abagole abalala Kimbowa Steven yawasizza Joyce Mirembe atambulira mu kagaali ate Ruth Namata yakubye ebirayiro n’omulema Dennis Zziwa n’alayira okufa naye.

 mulangira teven alugembe ngaloola ne mwanamunne orret abuufu ngmusumba obert ayanja yaakamala okubagatta Omulangira Steven Walugembe ng’aloola ne mwanamunne, Gorret Nabuufu ng’Omusumba Robert Kayanja yaakamala okubagatta.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bas1 220x290

Abalamazi 80 basimattuse okufiira...

Abalamazi 80 basimattuse okufiira mu kabenje ka Bbaasi e Masaka

Mo1 220x290

Poliisi gwe yazze okukwata yabasiseeko...

Poliisi gwe yazze okukwata yabasiseeko emmundu ne batuuyana

Bu1 220x290

Eyasiibudde mukyala we nti agenda...

Eyasiibudde mukyala we nti agenda Rwanda bamukutte n'owa p7 mu loogi

Va1 220x290

Entaana ya Ivan eneetera okuggyibwako...

Entaana ya Ivan eneetera okuggyibwako engalo

Kiibi1 220x290

Okukungubagira Polofeesa Mukiibi...

Okukungubagira Polofeesa Lawrence Mukiibi kusitudde abanene