TOP

Omuyimbi Cute Kaye alokose n'atulika n'akaaba

By Musasi wa Bukedde

Added 20th February 2017

OMUYIMBI Cute Kaye, eyayimba 'Ginkeese' olwakyaka ennyo naddala mu bakyala yeegaanyi Sitaani n'alokoka.

Beta 703x422

Cute Kaye ng'akaaba oluvannyuma lwa Paasita Kayanja okumwatuza Obolokole

OMUYIMBI Cute Kaye, eyayimba 'Ginkeese' olwakyaka ennyo naddala mu bakyala yeegaanyi Sitaani n'alokoka.

Kaye yayatulidde mu lukung'aana lw'enjiri olwa 77 Days of Glory Season 2 mu Kkanisa y'omusumba Robert ne Jessica Kayanja eya Lubaga Miracle Centre Cathederal wiiki ewedde.

Nga Paasita Kayanja amusabira, Kaye yatulise n'akaaba ekyewuunyisizza abantu abaabadde mu lukung'aana.

Ono yeegasse ku basereebu abalala okuli Bad Black ne Captain Dollar eyayimba 'Emmese' nabo abeesowolayo ne baatula obulokozi mu lukung'aana lw'enjigi lwe lumu.

Cute Kaye abadde takyawulikika nnyo mu kisaawe ky'okuyimba ekyaviirako n'abantu okumubikanga olutatadde n'abamu okubitebya nga bwe yagwa eddalu ali mu ddwaaliro e Mulago.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bombersbrazeville2copy 220x290

Tikiti ezitwala ttiimu y'ebikonde...

Wade ng'ebula ennaku 4 empaka za Africa Boxing Championships ziggyibweeko akawuuwo e Congo Brazeville, ekibiina...

Musevenipik 220x290

Museveni alagidde layini z'amasimu...

Pulezidenti Museveni alagidde amasimu gazzibweko: Ayongezzaayo okwewandiisa okutuusa nga 30 August.

Africain01 220x290

Owa Tunisia kufiira ku KCCA FC...

Omutendesi wa Club Africain eya Tunisia Chiheb Ellili aweze nga bwe bazze n'ekigendererwa kimu kyokka kya kukuba...

Mwebe 220x290

Fayinolo ya Uganda Cup eyongeddwaayo...

AKAKIIKO ka FUFA akategeka empaka kajjuludde olunaku olubadde olw’okuzannyibwako fayinolo y’empaka za Uganda Cup...

Duka1 220x290

Ssebatta awonye ddukadduka w’amabanja:...

FRED Ssebatta awonye ddukadduka w’amabanja, Gen. Salim Saleh bw’amuwadde kavvu oluvannyuma lw’okumusindira ennaku...