TOP
  • Home
  • Kasababecca
  • Abasajja banyize Mary Batta swiiki katono bamulemye okuyimba

Abasajja banyize Mary Batta swiiki katono bamulemye okuyimba

By Musasi wa Bukedde

Added 21st April 2017

ABAVUBUKA bafunzizza omuyimbi Mary Batta ne bamukwata ku swiici katono bamulemese okuyimba.

Nda 703x422

Mary Bata olwasuddemu oluyimba lwa 'Oluggi nduggudde abali ebwiru muyingire...." yabadde ng’annasudde emmanduso olwo abasajja ab’amaddu ne bamuyiikira nga baswakidde ng'enswera ennabojja.

Mary Batta y’omu ku baasanyusizza abadigize ku Sand bbiici e Nabugabo mu Masaka.

Abasajja bano bakira abeesindika nga balwana okulya empanga mu kunyiga Batta omunyigo okukkakkana nga bamutadde mu kattu ne bamubuzaako obwekyusizo.

Waliwo weebamunyigidde awabi n’ebyokuyimba n’abivaako olwo n’abatunuulira ng’ataddeko ffeesi ebanja naye ng’abasajja tebamuwuliriza boogera kuyiika.

Ekyewuunyisa nti bino Batta baabimukoledde mu kifo ky'abakungu gye yabadde tasuubira kubeera bantu ba ffujjo era gye byaggweredde ng’abaviiridde n'adda mu kifo ekirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bombersbrazeville2copy 220x290

Tikiti ezitwala ttiimu y'ebikonde...

Wade ng'ebula ennaku 4 empaka za Africa Boxing Championships ziggyibweeko akawuuwo e Congo Brazeville, ekibiina...

Musevenipik 220x290

Museveni alagidde layini z'amasimu...

Pulezidenti Museveni alagidde amasimu gazzibweko: Ayongezzaayo okwewandiisa okutuusa nga 30 August.

Africain01 220x290

Owa Tunisia kufiira ku KCCA FC...

Omutendesi wa Club Africain eya Tunisia Chiheb Ellili aweze nga bwe bazze n'ekigendererwa kimu kyokka kya kukuba...

Mwebe 220x290

Fayinolo ya Uganda Cup eyongeddwaayo...

AKAKIIKO ka FUFA akategeka empaka kajjuludde olunaku olubadde olw’okuzannyibwako fayinolo y’empaka za Uganda Cup...

Duka1 220x290

Ssebatta awonye ddukadduka w’amabanja:...

FRED Ssebatta awonye ddukadduka w’amabanja, Gen. Salim Saleh bw’amuwadde kavvu oluvannyuma lw’okumusindira ennaku...