TOP
  • Home
  • Kasababecca
  • Zari ne King Lawrence bakaayanidde okujjanjaba Ssemwanga

Zari ne King Lawrence bakaayanidde okujjanjaba Ssemwanga

By Martin Ndijjo

Added 18th May 2017

EMBEERA y’omugagga Ivan Ssemwanga akulira ekibiina kya ‘The Rich Gang’ eyongedde okwonooneka bw'asannyaladde omubiru oludda lwa kkono.

Zarierichcuts8 703x422

King Lawrence, muganda wa Ssemwanga. Ku ddyo ye Zari ne Ssemwanga nga bakyali mu mukwano . EKIF: MARTIN NDIJJO

Kino kyongedde okutabula abooluganda n’abawagizi be. Bangi bakyagenda mu maaso okumuweereeza obubaka obumusaasira n’okumusabira adde engulu nga bayita ku mikutu gya yintaneti egy’enjawulo.

Ssemwanga eyaddusibwa mu ddwaaliro e South Afrika ku Lwokutano lwa wiiki ewedde n’okutuusa kati akyali mu kkoma era akuumibwa mu kasenge awajjanjabirwa abalwadde abayi akamanyiddwa nga Intensive Care Unit.

ku Lwokusatu  yabadde asuubirwa okulongoosebwa olw’omusaayi ogwazuuliddwa nga gwatonye ku bwongo kyokka muganda we, King Lawrence ali e South Africa ategeezezza nti kino tekyasobose olw’abasawo okusalawo okwongera okumwekebejja kuba embeera gy’alimu mbi nnyo.

Katemba mu ddwaaliro.

Waabaddewo katemba mu ddwaaliro lya Steve Biko mu kibuga Pretoria, Ssemwanga gy’ajjanjabirwa nga Zari Hussein, eyaliko munikini wa Ssemwanga era maama w'abaana be abasatu asika omuguwa ne King Lawrence kw’ani ateekeddwa okuba n’obuvunanyizibwa ku mulwadde.

King Lawrence eyabadde aleese omuwala gw’agamba nti ye muganzi wa Ssemwanga gw’alina mu kiseera kino yabadde awakanya Zari ng’agamba nti ono yadduka dda ku Ssemwanga n’afumbirwa omuyimbi Omutanzania Diamond Platnumz amulinamu n'abaana babiri kale tebasobola kumukkiriza kubeera na buvunaanyizibwa bwa nkomeredde ku mulwadde.

Embeera eno yaddiridde abasawo okusaba abantu ba Ssemwanga okwerondamu omuntu omu abeere n’obuvunanyizibwa obujjuvu ku mulwadde era nga gwe beebuuzako ku buli kye bagala okukola.

King Lawrence eyatuuse ne ku mbeera eraga abasawo ebifaananyi bya Zari ng’ali ne Diamond okubakakasa ky’ayogerako oluvannyuma yapondose wakati nga Zari yeeecwacwana nga naye agamba tayinza kukkiriza muntu mulala okuggyako ye maama w’abaana ba Ssemwanga, kuba yamwanjula ate ne waalwalidde nga bakolagana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

E0a830087c06467f84a8750da60b2ba9 220x290

Entaana ya Ssemwanga ewedde okuyooyootebwa:...

Ekiri e Kayunga: Entaana ya Ssemwanga ewedde okuyooyootebwa, abakungubazi bakyesomba okwetaba mu kuziika

Kayungadorahnajjembamukiragalanessengawassemwangacissynakiwalangabakaaba 220x290

Ebyabaddewo ng'omulambo gwa Ssemwanga...

Ebyabaddewo ng'omulambo gwa Ssemwanga gutuusibwa ku biggya e Kayunga: Biwoobe

Pala 220x290

Ebyobugagga bya Ssemwanga biwuniikirizza...

Rashid Nsimbe, avunaanyizibwa ku mutindo gw’ebisomesebwa mu masomero ga Ssemwanga, yategeezezza nti mu byobugagga...

Semwanganamirembe30 220x290

Omugagga Kirumira addiza omuliro...

Omugagga Godfrey Kirumira olwakutte omuzindaalo n’akoma ku booluganda lwa Ssemwanga babikke ku mpisa zaabwe ensiiwuufu...

Davoimcwsaazntu 220x290

Ab'e South Afrika banoonya anaddira...

Ab'e South Afrika banoonya anaddira Ssemwanga mu bigere