TOP
  • Home
  • Kasababecca
  • Don Zella akatemye eyali muninkini we Big Eye: 'Omwana gw'okaayanira si wuwo, wa musajja mulala'

Don Zella akatemye eyali muninkini we Big Eye: 'Omwana gw'okaayanira si wuwo, wa musajja mulala'

By Martin Ndijjo

Added 19th May 2017

Olutalo lw’okulwanira omwana wakati w’omuyimbi Big Eye n’eyali mukazi we Sheila Patience (Don Zella) lulinnye enkandaggo.

Zella2 703x422

Don Zella ku ddyo ne Big Eye. Wakati ye satifikeeti eraga obuzaale bw'omwana Big Eye gw'akaayanira nti wuwe

Big Eye atabukidde Don Zella ng’ayagala amuwe mutabani we Britton Mayanja ow’emyaka ena (4) Kyokka  Don Zella n'amuddiza omuliro bw'akamutemye nti omwana gw’ayita owuwe wa musajja mulala.

Kino kiddiridde Big Eye okuvaayo ku Lwokubiri n'assa obubaka ku mukutu gwe ogwa 'Facebook' ng’ayoozayoza mutabani we okuweza emyaka 4 n'agattako obubaka obulaga nga bw'atali mumativu olw’engeri Don Zella gy’amuyisaamu ku mwana, tayagala amulabeko wadde okwogera naye nti kyokka kino tekigenda kumulemesa kwagala mutabani we kubanga mwana we bwoya era musaayi gwe.

Obubaka buno busaanudde Don Zella n'atuuka n’okulangira Big Eye nga bw'atalina buvunaanyizibwa, yeeyita taata w’omwana naye nga talina kye yali amuwadde okuggyako okukola ogw’obutayisa sikaati n’okuganza buli bawala abamusala mu kkubo omuli ne bankubakyeyo.

Don Zella agamba nti omwana yamugabira bba Omumerika kubanga y'abadde amulabira ebbanga lyonna ate ng'amwagala kyenkanyi ng’abaana be abalala.

Okukakasa by'ayogera, Don Zella yatadde ku mukutu gwe ogwa Face book ebbaluwa eraga obuzaale bw’omwana ng’eri mu mannya ga Britton Diamond Juntunen era ng'eraga Omumerika James Matthew Juntunen nga kitaawe so ssi Big Eye.

Mu kiseera kino omwana ali ne nnyina mu Amerika ate Big Eye gye buvuddeko yafuna nkubakyeyo Debbie Lavis kati gw'apepeeya naye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Zika3 220x290

Nnyina wa Mulindwa Muwonge ayogedde:...

Nnyina wa Mulindwa Muwonge, Maria Namagembe akungubagidde mutabani we era akumye olumbe mu makaage agasangibwa...

Si 220x290

Minisitule etongozza akuuma akakebera...

MU kaweefube wa Gavumenti ne minisitule y’ebyobulamu okulwanyisa obulwadde bwa mukenenya mu ggwanga, Gavumenti...

Mao1 220x290

Poliisi yezoobye n'aba DP: Mao...

Pulezidenti wa DP, Nobert Mao bamuggalidde.

Bre 220x290

Eyakubwa poliisi amasasi mu kwekalakaasa...

KYADDAAKI omukazi eyakubwa poliisi amasasi mu kwekalakaasa kwa ‘Walk to Work’ e Kajjansi afunye ku ssanyu kkooti...

Dfgkithwsaqxwrojpglarge 220x290

Aboogera ku by'ekkomo ku myaka...

PULEZIDENTI Museveni ayanukudde abagamba nti ayagala kukyusa Ssemateeka w’eggwanga aggye ekkomo ku myaka 75, n’ategeeza...