TOP

Lutalo yeegaanyi eby'okuweebwa ssente n'atayimba

By Musa Ssemwanga

Added 16th July 2017

Omuyimbi David Lutalo yeesambye ebibadde biyiting'ana nti yagaana okuyimba ku bbaala ya Dinners e Bukoto ng'ate yali asasuddwa obukadde busatu.

Yimba1 703x422

Omuyimbi David Lutalo. EKIF: MUSA SSEMWANGA

Ono agamba nti teyaweebwa yadde ekikumu era tewali yadde obukakafu mu buwandiike obulaga nti yaweebwa ssente okuyimba nga bwe kigambibwa.

Kino kizze oluvannyuma lwa Alex Muhangi omutegesi wa komedi ku bbaala eno okussa ekiwandiiko ku mukutu gwe ogwa 'facebook' nga kirangira Lutalo okuba omuyaaye.

Mu kiwandiiko kino, Alex agamba nti Lutalo yabayiwayo nnyo n'agaana okuggya era katono abadigize beecange nga bakizudde nti tagenda kujja ate nga baamusasula.

Wabula Lutalo agamba nti ssente obukadde 3 bwe yali yasaba omutegesi ono okuyimba bwamulema okuweza n'adda mu kumunyumiza biboozi by'amalwa.

Mu bino mwe mwali eky'okuba nti abantu baali ba muswaba nga n'obutebe obusinga bukalu, Muhangi n'amugamba nti ayagala kumuwa akakadde kamu n'agaana era n'alinnya n'addayo ewuwe.

Agattako nti omutegesi ono yali ayagala kumuwaamu kuleeti za bbiya 3 mu kifo kya ssente ate ye tanywa mwenge, ekintu ky'agamba nti kyali kimulabisa ng'omuyimbi owa layisi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mail 220x290

Muganda w’omubaka eyafa e Iganga...

ABAKYALA munaana be beesoweddeyo okuvuganya ku kifo ky’omubaka omukazi owa Iganga.

Nrmnabiserejenniferlynn 220x290

Aba NRM ababeera ebweru bakoze...

ABA NRM ababeera mu mawanga g’ebweru bakyusizza mu bakulembeze baabwe ne balonda ssentebe w’ettabi lyabwe e Misiri...

Unit 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO YAFULUMYE...

Mulindwa Muwonge alese ebiragiro 6 ebikakali ebitabudde abakungubazi n’abooluganda. Bato ba Zari boogedde ekisse...

Ziika9 220x290

Mulindwa Muwonge aziikiddwa wakati...

Mulindwa Muwonge aziikiddwa wakati mu biwoobe n'okwazirana okuva mu bannamwandu, abaana n'abooluganda.

Zika3 220x290

Nnyina wa Mulindwa Muwonge ayogedde:...

Nnyina wa Mulindwa Muwonge, Maria Namagembe akungubagidde mutabani we era akumye olumbe mu makaage agasangibwa...