TOP

Atalina sitamina tasenga mu Katanga!

By Moses Kigongo

Added 15th March 2017

Bw’otuuka mu Katanga oyinza okwewuunya engeri abantu baayo gye batambuzaamu obulamu kubanga ebintu nga kaabuyonjo, amazzi amayonjo n’ebifo awasuulibwa kasasiro bitono ddala.

Myala1 703x422

Abakozi ba KCCA nga balongoosa ogumu ku mwala egisangibwa mu kifo kino.

Bya Moses Kigongo

KATANGA kye kimu ku bifo ebyenzigotta ebisangibwa mu munisipaali y’e Kawempe era nga kiri mu kikko ekyawula ettendekero ekkulu ery’e Makerere n’eddwaaliro ly’e Mulago.

 mukyala atunda obuugi ngagezaako okuyita ku mwala ogusangibwa mu kifo kino abuutwalire bakasitoma be Omukyala atunda obuugi ng’agezaako okuyita ku mwala ogusangibwa mu kifo kino abuutwalire bakasitoma be.

 

Ekitundu kino kirimu nnyo bamufunampolamu era nga kigatta kumpi abantu ab’amawanga gonna naddala ababeera baze mu kibuga Kampala okutandika okuyiiyiizaayo obulamu.

 mukyala ngabuuka omwala okuva ku nnyumba ye Omukyala ng’abuuka omwala okuva ku nnyumba ye.

 

Wabula bw’otuuka mu kitundu kino oyinza okwewuunya engeri abantu baayo gye batambuzaamu obulamu kubanga ebintu nga kaabuyonjo, amazzi amayonjo n’ebifo awasuulibwa kasasiro bitono ddala.

 bamu ku baana nga bali mu atanga Abamu ku baana nga bali mu Katanga.

 

Kyokka bw’otunuulira omuwendo gw’abantu abasulayo n’okukolerayo oyinza okwewuunya engeri gye bamalako.

 aama wabaana ngafumba kacaayi katunda Maama w’abaana ng’afumba kacaayi k’atunda.

 

Eno mu Katanga gy’osanga obuyumba obwakazibwako erinnya lya “ maama yingiya poole” kyokka nga buli kumuukumu okufaananako bbalakisi z’abaserikle kyokka nga bwonna bwetolooddwa emyala.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Zika3 220x290

Nnyina wa Mulindwa Muwonge ayogedde:...

Nnyina wa Mulindwa Muwonge, Maria Namagembe akungubagidde mutabani we era akumye olumbe mu makaage agasangibwa...

Si 220x290

Minisitule etongozza akuuma akakebera...

MU kaweefube wa Gavumenti ne minisitule y’ebyobulamu okulwanyisa obulwadde bwa mukenenya mu ggwanga, Gavumenti...

Mao1 220x290

Poliisi yezoobye n'aba DP: Mao...

Pulezidenti wa DP, Nobert Mao bamuggalidde.

Bre 220x290

Eyakubwa poliisi amasasi mu kwekalakaasa...

KYADDAAKI omukazi eyakubwa poliisi amasasi mu kwekalakaasa kwa ‘Walk to Work’ e Kajjansi afunye ku ssanyu kkooti...

Dfgkithwsaqxwrojpglarge 220x290

Aboogera ku by'ekkomo ku myaka...

PULEZIDENTI Museveni ayanukudde abagamba nti ayagala kukyusa Ssemateeka w’eggwanga aggye ekkomo ku myaka 75, n’ategeeza...