TOP

‘Tulokose tetukyaddamu kubba’

By Edward Luyimbazi

Added 20th April 2017

POLIISI y’e Kinnawattaka - Mbuya mu munisipaali y’e Nakawa ekoze ekikwekweto n’eyoola abavubuka abasukka mu 30 abagambibwa okubeera mu kibinja abeeyita aba UNATO abatigomya ebitundu by’e Kinnawattaka Mbuya n’ebiriranyeewo.

Break 703x422

Meeya Balimwezo (mu kkooti ) ne RCC we Nakawa Jakie Kemigisha (ku ddyo) nga basunsula abamu ku baakwatiddwa.

Kyakulembeddwa Brayan Ibembe akulira poliisi eno nga kyayindidde mu Zooni omuli Mbuya, Kinnawattaka, Katogo, Banda gye baasanze abavubuka abawera nga banywa enjaga.

Lawrence Kiwanuka ssentebe wa LC 2 ow’omuluka gwa Mbuya 1 yategeezezza nti baakoze ekikwekweto kino kuba obubbi bubadde buzzeemu mu bitundu bino.

Abamu ku bavubuka bano bakkirizza okunywa enjaga n’okutigomya abatuuze mu bitundu by’e Nakawa eby’enjawulo ne basaba Meeya Ronald Balimwezo Nsubuga n’omubaka wa Gavumenti Jackie Kemigisha Kiiza okubasonyiwa ne bategeeza nti, “tulokose tetugenda kuddamu kwenyigira mu bikolwa bya bumenyi bw’amateeka.”

Ibembe yategeezezza nti abavubuka bano babakutte emirundi mingi mu bikolwa by’obubbi era tebagenda kubasonyiwa, bagenda kubatwala mu kkooti ebavunaane basindikibwe mu kkomera basobole okubonerera olwo balyoke babakwase Meeya Balimwezo ne RCC Kemigisha babafunire eby’okukola.

Dan Balengera ow’e Mbuya nga y’omu ku bavunaanyizibwa ku by’okwerinda yagambye nti abakwatiddwa b’ebo bennyini abatigomya Kinnawattaka era wiiki ewedde waliwo Omuyindi gwe baateega ne bamunyagako ssente n’ebintu bye.

Balimwezo yagambye nti obubbi bubadde buyitiridde mu Nakawa ng’abavubuka abali wansi w’emyaka 18 be basinga okubwenyigiramu n’asiima poliisi eyakoze ekikwekweto kino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

No Matching Document

Emboozi endala

Cfhhsjxsaayhka 220x290

Kiprotich awangudde omudaali gwa...

Munnayuganda Stephen Kiprotich akutte kyakubiri n'awangula omudaali gwa feeza mu mbiro z'okutolontoka ebyalo eza...

Teeka1 220x290

Kazibwe Kapo ‘Ow’emmundu ku ggombolola’...

Kazibwe Kapo ‘Ow’emmundu ku ggombolola’ by’ayimba tabissa mu nkola? : Yasuubizza abakazi 2 embaga omuli ne nkubakyeyo...

Kusaba1 220x290

Aba Victory Christian Centre, Bujingo...

AB'EKKANISA ya Victory Christian Centre, abaakuza Bujingo n'okumuteekateeka okufuuka omusumba bavumiridde enneeyisa...

Save1 220x290

Abasumba batadde akazito ku Paasita...

Paasita Aloysious Bujingo owa House of Prayer Ministries e Makerere Kikoni bamunoonyerezaako ku bya Bayibuli ezookebwa....

United1 220x290

Bano 13 abavunaaniddwa be batta...

KU basajja 13 abaaleeteddwa mu kkooti ne basomerwa omusango gw’okutta Kaweesi kuliko bana ababadde babeera ennyo...