TOP

KCCA egobye ababuulira enjiri ku nguudo mu Kampala

By Muwanga Kakooza

Added 20th April 2017

KCCA erabudde ababuulira enjiri ku nguudo nti boolekedde okukwatibwa bavunaanibwe singa tebakomye muze guno gwe balumiriza nti gumenya amateeka.

Njiri1 703x422

Omu ku batera okubuulira Enjiri ku Yaadi ng'aliisa abatambuze ekigambo. EKIF: MUWANGA KAKOOZA

KCCA erabudde ababuulira enjiri ku nguudo nti boolekedde okukwatibwa bavunaanibwe singa tebakomye muze guno gwe balumiriza nti gumenya amateeka.

Abalala abalabuddwa olukiiko olufuga ekibuga Kampala olwa KCCA kuliko; abatimba ebipande by’ebivvulu nga tebafunye lukusa, abatunda engoye abaleekaanya ebizindaalo,  abalanga ebirango by’oku mmotoka n’ebirala byonna bye bagamba nti bimenya mateeka.

Ekiwandiiko ekifulumiziddwa KCCA kitegeezezza nti  omuze gw’okubuulira enjiri ku nguudo (street preaching), okutimba ebipande, okuleekaanya ebizindaalo, okulanga ebyamaguzi  ku bimotoka n’engeri endala etagoberera mateeka bikudde ejjembe.

KCCA egamba nti kimenya tteeka lya “ KCCA maintenance of law and Order  Ordinance 2006’’ .

Wabula KCCA  terambuludde bulungi musango gw'evunaana babuulira njiri ku nguudo kyokka waliwo okwemulugunya nti olumu abantu bano baleekaanira abatambula ku bigere  n'abatambulira mu mmotoka mu kibuga.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Yaga 220x290

Omusajja ayagala kunzigyako mwana...

NZE Uwineza Adiah nnina emyaka 26 nga mbeera Lubaga. Okuva lwe nafuna olubuto, baze yagaana okuddamu okundabirira...

Ssenga1 220x290

Nina bulwadde ki?

NINA emyaka 25 naye seegattangako na mukazi yenna kuba buli lwe ngezaako okwegatta nkoma ku mulyango ne njiwa....

Leka 220x290

Owapoliisi yesse lwa bwavu

OMUSERIKALE wa poliisi eyawummula, Robert Mugume asangiddwa nga yeetuze.

Kadi2 220x290

Kadaga awabudde ku bbula ly'emirimu...

SIPIIKA Rebecca Kadaga ategeezezza nti ebbula ly’emirimu mu bavubuka ky’ekimu ku bisinze bikwatagana butereevu...

Dhyljrxcaaw1zm 220x290

Museveni asisinkanye minisita wa...

MINISITA wa German ow’ensonga z’ebweru asisinkanye Pulezidenti Museveni n’asaba amawanga g’ebweru okuyamba Uganda...