TOP

Bamukutte abba ebitaala bya KCCA

By Musasi wa Bukedde

Added 11th May 2017

BAMBEGA ba KCCA abassibwa ku nguudo z’omu Kampala bakutte abavubuka ababadde babba ebitaala by’oku nguudo ebikozesa amaanyi g’enjuba.

Pa 703x422

BAMBEGA ba KCCA abassibwa ku nguudo z’omu Kampala bakutte abavubuka ababadde babba ebitaala by’oku nguudo ebikozesa amaanyi g’enjuba.

Abaakwatiddwa ye, Akram Kintu ne Eria Ahimbisibwe (mu kifaananyi) nga baabadde batambulira ku bodaboda. Abavubuka bano baasangiddwa nga balinnye ekitaala ku luguudo oluva e Kibuye okudda e Munyonyo.

Baagenze okubakwata nga batandise okukisala. Kintu yagambye nti yatumiddwa omu ku bakozi mu kitongole kya UMEME eyamugambye nti alinnye asumulule ekitaala waggulu akimutwalire akiddaabirize.

N’agamba nti eyamutumye aludde ng’amuwa emirimu gy’okuddaabiriza amasannyalaze nga yabadde agutwala nga mulimu ogumutumiddwa n’agamba nti tamanyi bbeeyi ya kitaala kino.

N’asaba bamusonyiwe kuba kye bamuvunaana takimanyi.

Yasabye bamukkirize abatwale eri eyamutumye kuba amanyi w’atera okubeera era bajja kumusangayo.

BAMBEGA ba KCCA abassibwa ku nguudo z’omu Kampala bakutte abavubuka ababadde babba ebitaala by’oku nguudo ebikozesa amaanyi g’enjuba. Abaakwatiddwa ye, Akram Kintu ne Eria Ahimbisibwe (mu kifaananyi) nga baabadde batambulira ku bodaboda. Abavubuka bano baasangiddwa nga balinnye ekitaala ku luguudo oluva e Kibuye okudda e Munyonyo. Baagenze okubakwata nga batandise okukisala. Kintu yagambye nti yatumiddwa omu ku bakozi mu kitongole kya UMEME eyamugambye nti alinnye asumulule ekitaala waggulu akimutwalire akiddaabirize. N’agamba nti eyamutumye aludde ng’amuwa emirimu gy’okuddaabiriza amasannyalaze nga yabadde agutwala nga mulimu ogumutumiddwa n’agamba nti tamanyi bbeeyi ya kitaala kino. N’asaba bamusonyiwe kuba kye bamuvunaana takimanyi. Yasabye bamukkirize abatwale eri eyamutumye kuba amanyi w’atera okubeera era bajja kumusangayo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

E0a830087c06467f84a8750da60b2ba9 220x290

Entaana ya Ssemwanga ewedde okuyooyootebwa:...

Ekiri e Kayunga: Entaana ya Ssemwanga ewedde okuyooyootebwa, abakungubazi bakyesomba okwetaba mu kuziika

Kayungadorahnajjembamukiragalanessengawassemwangacissynakiwalangabakaaba 220x290

Ebyabaddewo ng'omulambo gwa Ssemwanga...

Ebyabaddewo ng'omulambo gwa Ssemwanga gutuusibwa ku biggya e Kayunga: Biwoobe

Pala 220x290

Ebyobugagga bya Ssemwanga biwuniikirizza...

Rashid Nsimbe, avunaanyizibwa ku mutindo gw’ebisomesebwa mu masomero ga Ssemwanga, yategeezezza nti mu byobugagga...

Semwanganamirembe30 220x290

Omugagga Kirumira addiza omuliro...

Omugagga Godfrey Kirumira olwakutte omuzindaalo n’akoma ku booluganda lwa Ssemwanga babikke ku mpisa zaabwe ensiiwuufu...

Davoimcwsaazntu 220x290

Ab'e South Afrika banoonya anaddira...

Ab'e South Afrika banoonya anaddira Ssemwanga mu bigere