TOP

Musisi agobye abakozi ba KCCA 58 ku mirimu

By Hannington Nkalubo

Added 11th May 2017

JENNIFER Musisi agobye abakozi 58, n’akyusa abamu ate n’alabula abalagajjalidde emirimu.

201310largeimg222oct2013083944127703422 703x422

Abakozi mu KCCA bali ku bunkenke olw’enkola Musisi gye yatandise okukeera mu ofiisi okulondoola abatuuka ekikeerezi n’abo aboosayosa.

Musisi alagidde omumyuka we Ying. Andrew Kitaka addeyo okukulira ekitongole ky’enguudo n’emirimu nga kigambibwa nti bukya avaayo emirimu gikolebvwa bubi nnyo.

Abakulira Ebyamasomero n’amalwaliro baweereddwa ebbaluwa ezibalabula olw’okulagajjalira emirimu gyabwe. Ate Peter Paul Wanyama akulira Ebyemirimu mu Munisipaali ya Kawempe asindikiddwa mu kakiiko akakwasisa empisa yeewozeeko ku mirimu egikoleddwa obubi okuli essomero lya Kisaasi Primary eryakoleddwa obubi era Musisi n’agaana okulitongoza.

Omwezi oguwedde Pulezidenti Museveni yayongedde Musisi endagaano okukulira KCCA emyaka emirala esatu.

Eggulo KCCA yafulumizza ekiwandiiko mwe yategeerezza nti kati emyaka mukaaga nga KCCA yeefunyiridde okuzza obuggya Kampala. “Tusazeewo okwekubamu ttooci twongere okwetereeza. Tugenda kwetegereza enkola ya buli mukozi n’amakampuni KCCA g’ewa ttenda”.

Olw’okuweereza Bannakampala obulungi, ekiwandiiko kyategeezezza nti waliwo abakozi abaakyusiddwa, abaawummuziddwa n’abaakuziddwa.

EKITIMBA BE KYAYODDE

Kuliko 18 abavunaanyizibwa ku kuyonja ekibuga Kampala wakati. Abakwasisa amateeka 40 bayimiriziddwa mu kibuga wakati.

Ate abamyuka b’akulira Ebyenjigiriza baaweereddwa ebbaluwa ezibalabula okugobebwa ssinga tebakyusa mu nkola y’emirimu.

Kino kiddiridde Musisi okulambula amasomero n’asanga ng’emirimu egikolebwayo gya kibogwe nga n’ebintu ebyangu tebikolwako. Mu kiseera kye kimu Musisi yalambudde amalwaliro ga KCCA okuli Kisenyi, Kawaala n’amalala n’asanga ng’abeekitongole ky’Ebyobulamu tebafaayo ku mirimu gyabwe.

Bwe yazze mu ofiisi n’abawandiikira ebbaluwa ezibalabula. Ensonda zaategeezezza nti akulira Ebyenjigiriza Juliet Namuddu asindikiddwa Bungereza kusoma ayongere okufuna obukugu.

Abakozi mu KCCA baategeezezza nti bukya Musisi afuna ndagaano mpya, yazze n’ankola ya kulumirawo.

Ye kennyini ava mu ofiisi ye n’agenda mu ofiisi ez’enjawulo mu City Hall n’abuuza abazikolamu gye bali. Bw’atakusanga ng’alagira omukubire mangu essimu ng’okomyewo.

Enkola eno Musisi agitutte ne mu Munisipaali za Kampala okuli; Kawempe, Makindye, Lubaga, Kampala Central ne Nakawa. Agwa bugwi nga tewali ategedde n’abuuza abakulira ebitongole gye bali.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nrmnabiserejenniferlynn 220x290

Aba NRM ababeera ebweru bakoze...

ABA NRM ababeera mu mawanga g’ebweru bakyusizza mu bakulembeze baabwe ne balonda ssentebe w’ettabi lyabwe e Misiri...

Unit 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO YAFULUMYE...

Mulindwa Muwonge alese ebiragiro 6 ebikakali ebitabudde abakungubazi n’abooluganda. Bato ba Zari boogedde ekisse...

Ziika9 220x290

Mulindwa Muwonge aziikiddwa wakati...

Mulindwa Muwonge aziikiddwa wakati mu biwoobe n'okwazirana okuva mu bannamwandu, abaana n'abooluganda.

Zika3 220x290

Nnyina wa Mulindwa Muwonge ayogedde:...

Nnyina wa Mulindwa Muwonge, Maria Namagembe akungubagidde mutabani we era akumye olumbe mu makaage agasangibwa...

Si 220x290

Minisitule etongozza akuuma akakebera...

MU kaweefube wa Gavumenti ne minisitule y’ebyobulamu okulwanyisa obulwadde bwa mukenenya mu ggwanga, Gavumenti...