TOP

Balumbye Beti Kamya ku tteeka lya Loodi Meeya

By Hannington Nkalubo

Added 12th May 2017

EBBAGO lya Gavumenti erireeteddwa okukyusa mu tteeka lya Kampala litabudde Loodi Meeya Erias Lukwago n’abakulembeze abalonde mu kibuga ne balabula nti minisita Beti Kamya amaze budde, tebasobola kumukkiriza kuggyako balonzi ddembe lyabwe.

United 703x422

Loodi Meeya Erais Lukwago

Lukwago alangiridde nti agenda kweyambisa amakubo gonna agakkirizibwa mu mateeka okuyimiriza ebbago lino.

“Ng’enda kutandikira ku kutuuza nkiiko ez’enjawulo mu Kampala nga nnyinnyonnyola abalonzi n’okubasomesa akabi akali mu bbago lino. Nja kuddayo mu kkooti byonna ebiyimirize,” Lukwago bwe yagambye.

Yatuuzizza olukiiko lwa bannamawulire mu ofiisi ye eggulo ng’ali n’ababaka ba palamenti mu Kampala n’ategeeza nti olukwe minisita Beti Kamya lw’aluka lwa kumugoba mu ofiisi nti kyokka gwe yaddira mu bigere Frank Tumwebaze yalukolako ne lumulema.

Yawagiddwa ababaka ba palamenti ne bameeya ba munisipaali ettaano ezikola Kampala bwe baategeezezza nti omuntu yenna ayagala okukyusa mu nnonda ya Kampala yeetyabira kalimu buwuka.

Allan Ssewanyana (Makindye West) yagambye nti Gavumenti erowooza nti Bannakampala ebigenda mu maaso tebabitegeera.

Yayongeddeko nti abalonzi mu kibuga bagoberera era ennaku 45 eziweereddwa sipiika bagenda kuzeeyambisa okukyusa ebintu byonna nga beebuuza ku balonzi.

Meeya Nganda Mulyannyama (Makindye) yagambye nti ebbago lya Kampala abamu balitunuulidde bubi.

Balowooza liggyawo kulonda kwa Loodi Meeya Lukwago yekka. “Naffe bameeya ba munisipaali litutwaliramu.” Yalabudde nti kino kijja kuleetera Bannakampala okukola ekitasuubirwa.

Ate Ronald Balimwezo yategeezezza nti abakulembeze ba Kampala bonna bakkiriziganya nti ebbago lino terisaanidde era omuntu yenna agenda okulikakaatika ku bantu abeera mulabe.

Lukwago yagambye nti Kampala alina ebizibu eby’amangu okugeza ekifo awayiibwa kasasiro e Kiteezi okujjula ne kkampuni ezimuyoola okulemererwa.

Lukwago yagambye nti Bbanka y’ensi yonna yawa Kampala ssente obukadde bwa doola 175 zikole enguudo kyokka nga Gavumenti eteekwa okusooka okusasula ebitundu 10 ku buli 100 ku ssente zino naye Gavumenti eremeddwa at ne minisita Beti Kamya takyogerako, ali ku bya Loodi Meeya!

Hassan Kasibante, omuyambi wa minisita Beti Kamya yagambye nti ebyayanjuddwa mukama we, byalekebwawo eyali minisita Frank Tumwebaze. Kyokka nabyo bikyalina okukolwamu ennongoosereza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kaaba1 220x290

Zari atulise n'akaaba bw'akubye...

Zari atulise n'akaaba bw'akubye ku mulambo gwa Ssemwanga eriiso: Abaana bamuwooyawooyezza

Lwana1 220x290

Balwanidde emmere ku mukolo gw'okuziika...

Balwanidde emmere ku mukolo gw'okuziika Ivana Ssemwanga e Kayunga

Koz1 220x290

Kintu Nnyago awadde ab'e Kyaddondo...

Kintu Nnyago awadde ab'e Kyaddondo East amagezi

Ba7 220x290

Ebyokwerinda binywezeddwa mu kuziika...

Ebyokwerinda binywezeddwa mu kuziika Ivan Ssemwanga: Aba 'Rich Gang' batudde mu tenti yaabwe bokka

Zari1 220x290

Zari n'abaana batuukidde mu byokwerinda...

Zari n'abaana batuukidde mu byokwerinda ebyamaanyi: Beebulunguddwa bakanyama