TOP

KCCA ewangudde engule y'ensi yonna

By Hannington Nkalubo

Added 30th June 2017

EKITONGOLE kya KCCA kirondeddwa mu mawanga 115 okwetoloola ensi yonna ng'ekisinze okukozesa enkola ya kkompyuta okusolooza ssente z’emisolo mu kibuga.

Win703422 703x422

Jennipher Musisi ng'akwasibwa engule

EKITONGOLE kya  [KCCA]  kirondeddwa mu mawanga 115 okwetoloola ensi yonna ng'ekisinze okukozesa enkola ya kkompyuta okusolooza ssente z’emisolo mu kibuga.

Ekibiina wa World  e –Government Organization [WeGO] ekirina ekitebe kyakyo mu ggwanga lya Russia kye kironze KCCA ne kigiwa n'engule.

Ensi 115 ezikozesa enkola ya tekinologiya akozesebwa okusasulira ssente ku ssimu mu bitongole bya Gavumenti n’ama kkampuni agenjawulo ge galonze KCCA.

KCCA yatandikawo enkola y’okusasulira ssente ku ssimu mu mwaka gwa 2013 ng'emu ku nkola egenderera okuzibikira emiwaatwa gyonna omwali muyita ssente za Gavumenti okubbibwa.

Ekiseera kino tewali akkirizibwa kukwata ku ssente za musolo zisoloozebwa KCCA.

Mu ssente zino mulimu eza layisensi, eza takisi, busuulu, pulaani era abakozi ba KCCA bakubiriza abantu okusasulira ssente ku ssimu okwewala okusimba ennyiriri n’okukozesa nnyo ebiseera okutambula okugenda mu bbanka.

KCCA y'erondeddwa mu Africa yonna nga ekibuga ekitakyakwata ku ssente za muwi wa musolo kubanga zonna kumpi bazisasulira ku kkompyuta.

 ayirekita wa  usisi Dayirekita wa KCCA Musisi

Ttabamiruka omwaloondeddwa KCCA yatudde mu kibuga Ulyanovsk e Russia.

Mu mawanga mukaaga agaaweereddwa engule eno, KCCA yokka ye yafunye engule eno mu Africa ku mutendera gwa Cooperative City Category.

Omwogezi wa KCCA, Peter Kauju agambye nti KCCA ekozesa enkola ya kompyuta ennyangu era bwe baagitunuulidde ng'ekola bulungi nnyo n'agamba nti y'ensonga lwaki KCCA ebibuga byonna mu Afrika yabirinyweddemu akendo!

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mail 220x290

Muganda w’omubaka eyafa e Iganga...

ABAKYALA munaana be beesoweddeyo okuvuganya ku kifo ky’omubaka omukazi owa Iganga.

Nrmnabiserejenniferlynn 220x290

Aba NRM ababeera ebweru bakoze...

ABA NRM ababeera mu mawanga g’ebweru bakyusizza mu bakulembeze baabwe ne balonda ssentebe w’ettabi lyabwe e Misiri...

Unit 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO YAFULUMYE...

Mulindwa Muwonge alese ebiragiro 6 ebikakali ebitabudde abakungubazi n’abooluganda. Bato ba Zari boogedde ekisse...

Ziika9 220x290

Mulindwa Muwonge aziikiddwa wakati...

Mulindwa Muwonge aziikiddwa wakati mu biwoobe n'okwazirana okuva mu bannamwandu, abaana n'abooluganda.

Zika3 220x290

Nnyina wa Mulindwa Muwonge ayogedde:...

Nnyina wa Mulindwa Muwonge, Maria Namagembe akungubagidde mutabani we era akumye olumbe mu makaage agasangibwa...