TOP

Akatale k’e Nateete katundiddwa

By Kizito Musoke

Added 23rd July 2017

PALAMENTI eyingidde mu nsonga z’akatale k’e Nateete Central Market akaatundiddwa.

Tunda1 703x422

Omumyuka wa meeya w’e Lubaga, Asuman Ntale ayimiridde ng’alaga loodi meeya Erias Lukwago empapula eziraga nti akatale kaatundibwa.

PALAMENTI eyingidde mu nsonga z’akatale k’e Nateete Central Market akaatundiddwa.

Abakozi ba KCCA abaakulembeddwa dayirekita w’ekibuga, Jennifer Musisi baategeezezza akakiiko ka Palamenti aka COSASE akabuuliriza ku nzirukanya y’ebitongole bya Gavumenti nti e Nateete tebamanyiiyo katale nti akatale ka KCCA ke bamanyi kali Busega.

Baabadde batangaaza ku byafulumira mu lipooti y’omubalirizi w’ebitabo bya Gavumenti ey’omwaka 2013/2014, eyalaga nga famire y’omugenzi Hajji Asuman Numba bwe yali ekaayanira ettaka okuli akatale ne KCCA.

Aba KCCA baategeezezza nti famire ya Hajji Numba yawangula ekitongole kya KCCA ku bwannannyini bw’ettaka okwali akatale.

Baagambye nti wadde ekitongole kyali kisazeewo okugula ettaka lino, kyokka ssente ze baali babasalidde tebaazimalaAyo.

Bagambye nti KCCA oluvannyuma yayagala okutunda ettaka lino okuli akatale eri musigansimbi, kyokka aba famire y’omugenzi Numba ne beekubira enduulu mu kkooti nga bagamba nti tebalina bwannannyini okuva bwe baalemererwa okusasula ssente ze baali bakkaanyizaako.

Oluvannyuma omusango gwasalwa era aba KCCA ne bawaayo ettaka okwali akatale.

Abdu Katuntu (Bugweri) ssentebe w’akakiiko yabuuzizza akatale k’e Nateete we kasangibwa, kyokka aba KCCA ne bamutegeeza nti tebamanyi we kali.

Wadde Florence Namayanja (Bukoto East) yategeezezza nti akatale k’e Nateete kaazimbibwa ku ssente ezaava mu Banka y’Ensi yonna, kyokka aba KCCA baategeezezza nti tebakamanyi.

Moses Kasibante (Lubaga North) yaleese lisiiti za KCCA eza layisinsi ze bazze bawa abasuubuzi era nga yeewuunyizza okuwulira nti tebamanyi katale kano.

Yaleese ebbaluwa eyawandiikibwa Caleb Mugisha, ng’ono munnamateeka wa KCCA ng’awandiikira kkampuni ya Kaggwa and Co. Advocates eyakiikirira kampuni ya RR abaagula akatale ng’abalaga nga bwe batamanyi katale akoogerwako.

Bino we bijjidde ng’abasuubuzi bali mu kusattira oluvannyuma lw’akatale kaabwe okutundibwa nga bali mu bweraliikirivu nti essaawa yonna bandisengulwa.

Baatuuzizza olukiiko ku Lwokubiri olwetabyemu Loodi Meeya Erias Lukwago gwe baasabye abataase.

Omumyuka wa meeya we Lubaga , Asuman Ntale yazze n’ekiwandiiko kye yaggye mu kitongole ky’ebyettaka kye yasomedde abasuubuzi nga kiraga ng’akatale bwe kaatundibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ji1 220x290

Poliisi eggalidde abasirikale baayo...

Poliisi eggalidde abasirikale baayo 10 ku misango egy'enjawulo

C111a580e9174d5997f3a6a40439e2b818 220x290

Raila Odinga addukidde mu kkooti...

RAILA Odinga yeefukuludde n’addukira mu kkooti ensukkulumu okuwakanya obuwanguzi bwa Uhuru Kenyatta ku bwapulezidenti...

Yaga 220x290

Omusajja ayagala kunzigyako mwana...

NZE Uwineza Adiah nnina emyaka 26 nga mbeera Lubaga. Okuva lwe nafuna olubuto, baze yagaana okuddamu okundabirira...

Ssenga1 220x290

Nina bulwadde ki?

NINA emyaka 25 naye seegattangako na mukazi yenna kuba buli lwe ngezaako okwegatta nkoma ku mulyango ne njiwa....

Leka 220x290

Owapoliisi yesse lwa bwavu

OMUSERIKALE wa poliisi eyawummula, Robert Mugume asangiddwa nga yeetuze.