TOP

Okuvuganya kweyongedde mu bizinensi y’ebbaala

By Musasi wa Bukedde

Added 17th June 2016

Amasanyu bwe geeyongedde n’abadigize ne bakyusa mu ngeri gye balyamu obulamu okulaba nti bafunira ddala essanyu baganyulwe mu ssente zaabwe.

Bar1 703x422

Kati bateekamu ebifo eby’ebbeeyi nga bino.

Bya BASASI BA BUKEDDE

KAMPALA kibuga ekijjudde amasanyu era ekiro awuuma olw’abadigize abettanira ebbaala n’ebifo ebisanyukirwamu nga bagenze okuwuuta omwenge n’okusala ddansi.

Kino kye kireetedde bizinensi y’ebbaala ne Club okuba ogumu ku mirimu egisinga okufuna ne kisikiriza bangi omuli n’abagagga okugwesogga batere beeyoolere ku nsimbi olw’abacakaze kati abatakyalinda wiikendi kudigida anti buli kiro kubeera kulya kaasi era teweewuunya kubasanga ku Mmande nga baddugazza emmeeza.

Amasanyu bwe geeyongedde n’abadigize ne bakyusa mu ngeri gye balyamu obulamu okulaba nti bafunira ddala essanyu baganyulwe mu ssente zaabwe.

Abalala engeri gye bacakalamu ekwewuunyisa anti balinga balambuzi abatakyatuula mu kifo ekimu bakola gwa kutalaaga ebifo eby’enjawulo okukeesa obudde, abamu kati beetanira bifo bipya ate abalala baagala kubakwata nga zaabu.

 bawala nga bano babeera nnyo mu bbaala ne kisikiriza abasajja Abawala nga bano babeera nnyo mu bbaala ne kisikiriza abasajja.

 

Embeera eno bw’ogigattako n’ebifo ebisanyukirwamu ebipya ebimerukawo buli lunaku byongedde okuleetawo okuvuganya okw’amaanyi mu bizinensi eno ekiwalirizza bannannyini bifo n’ababiddukanya okuvaayo n’obukodyo bwe baleese okusikiriza abadigize (bakasitoma).

Abo abasigalidde emabega bawaliriziddwa okuggalawo anti gy’okoma okuba n’abantu abangi mu bbaala bwe bungi bw’omwenge n’ebyokunywa ebirala by’otunda era ze ssente z’oyoola. Obumasu bw ’oku vuganya Buno bwe bumu ku bukodyo bwe balese okusikiriza bakasitoma n’okukuumira abo be balina mu bifo byabwe.

1 Kati kumpi buli bbaala erimu kiraasi (ebifo ebyenjawulo) okulaba nti basikiriza buli kika ky’omuntu omuli abagagga n’abantu baabulijjo era bano bakwatibwa mu mbeera ez’enjawulo.

2 Ekimu ku bisikiriza abantu okucakalira mu bifo bino y’endabika yabyo era kati bbaala ezenjawulo zitonaatoneddwa mu ngeri ez’enjawulo ekifo okulabika obulungi n’okusikiriza.

3 Okufuna abayimbi ab’enkalakalira ababeera mu bifo byabwe ku nnaku ez’enjawulo. Olw’okuba abayimbi balina abawagizi bangi bannanyini bbaala bakutula nabo ddiiru omuli okubawa ssente n’ebyokunywa ne babaako ebiro bye babeera ku bbaala zaabwe ne bwe baba nga tebayimbye wabula okusikiriza abantu.

Kyokka abayimbi bano basudde ebifo ebimu kubanga basaba omwenge mungi olw’abantu abangi be batambula nabo ne weesanga ng’amagoba baganywedde ate nga babasasula ne ssente.

4 Buli kiro bakiwa erinnya era baleeta abantu ab’enjawuulo okusanyusa bakasitoma okusinziira ku linnya ly’ekiro.

5 Abamu bateekawo bandi ekuba ku nnaku ez’enjawulo ate ku biro nga; Bahamas Night, Bikini, Caribbean Night, Rwandan Night n’ebirala abawala babeera mu kwolesa mibiri.

6 Balinnya ku siteegi ne batandika okwolesa emisono n’okutambula mu bantu nga kumpi bali bukunya ate mu bifo ebirala kibeera kimansulo. Kino kye kimu ku biro ebisinga okukolera ab’ebbaala era buli lwe bitegekebwa bijjuza olw’abasajja abeeyiwayo beerabire ku mibiri gy’ebijuujulu ebyamyuka ng’amatungulu.

7 Bakitunzi b’ebbaala ezimu buli lunaku bakubira abadigize abamanyiddwa okuba ab’olulango amasimu ne babasaba okucakalirako mu bifo byabwe nga bababuulira ebirungi oba eky’enjawulo kye balinayo mu kiro ekyo ssaako okubategekera obulungi n’abakungu era abamu bamannyi n’okubawola eby’okunywa ne bwe baba nga kulunaku olwo tebalina ssente.

 

Club Silk kati ekola ennaku bbiri mu wiiki. Bagamba nti bagiddaabiriza.

8 Okusomba abayizi ba yunivasite. Mu bimu ku bintu ebisinga okusibira abasajja mu bbaala n’ebifo ebirala ebisanyukirwamu bye byana ebinyirira ebibeerayo.

9 Abaddukanya ebbaala bakolagana ne bannannyini bisulo ebisuza abayizi ba yunivasite n’amatendekero amalala aga waggulu ababakkiriza okusomba abayizi bano naddala nga babayiwa mu bifo byabwe era bano bayingirira bwereere.

Eno abasajja ‘babasalako’ ne babagulira ebyokunywa nga bwe bazina nabo n’abamu okubakwana.

10 Mu bbaala ezimu abayizi bano babateekerawo n’ebiro ebyabwe bye bayita “Camps Night” era kumpi buli bbaala mu wiiki erina olunaku luno.

11 Bbaala ezisinga kati mu Kampala abacakaze bayingirira bwereere anti bannyini zo kye bakola kwe kutunda omwenge n’ebyokulya.

12 Bbaala ezimu zikolagana ne kkampuni agasogola omwenge ne basala ku bbeeyi ng’eccupa eya 5,000/- bagitunda 2,500/- ate abalala kye bakola kwe kuwa abantu abasooka okuyingira omwenge ogw’obwereere kwe bongereza gwe beegulira. Bbaala bye bakyusizza Okusobola okuvuganya obulungi abamu bawaliriziddwa okufuna ssente awalala omuli n’okwewoola mu bbanka balinyise omutindo gw’ebifo byabwe.

Abalala basazewo kuzimba bipya ate abo abalemereddwa batunze bakole bizinensi endala kyokka waliwo n’abo abalaajana olw’amabanja nga bagamba nti ebifo byabwe baagala kubitwala.

Embeera eno etuukira ddala ku Club Silk emu ku bbaala ezibadde zisinga okwettanirwa mu ggwanga kyokka kati oyinza okugamba nti tekyakola olwa bakasitoma okukendeera. Ng’oggyeeko okuba ey’omulembe, Club Silk y’emu ku bbaala ezisinga obukadde (emaze emyaka 22) ng’etaddewo omukululo gw’ebbaala mu ggwanga.

 baala ya e osh baagiggalawo agamba nti bagiddaabiriza Bbaala ya De- Posh baagiggalawo. Bagamba nti bagiddaabiriza.

 

Ate mu nsiike y’okuyimba eyambye abayimbi bangi okuyitimuka n’okumanyika okuli n’abanene nga Jose Chameleon, Bebe Cool ne Bobi Wine. Okumanya ebintu bibi, bbaala ebadde ekola kumpi buli kiro kati ekola ennaku bbiri zokka mu wiiki ate nga nazo abantu tebabeerayo.

Elvis Ssekyanzi omu ku bannannyini kifo kino agamba nti kituufu embeera tebatambulira bulungi olw’okuvuganya okweyongedde mu bizinensi eno kyokka ng’erimu ku makubo g’okukomyawo bakasitoma basazeewo okugizza obuggya.

“Kituufu Club Silk tekyakola nga bwe gubadde emabega nga ffe bannamba emu kyokka njagala okukakasa nti teggalangawo.

Ensonga ziwerako ezitutuusizza mu mbeera eno okuba nti mu wiiki kati tuggulawo ennaku bbiri zokka: Olwokubiri n’Olwokutaano naye olw’okuba eno bizinensi, naffe tetutudde tuli mu kuyiiya.

Tusazeewo okukozesa embeera eno eya bakasitoma abatono n’okuba nti ennaku ezisinga tetukola olw’omulimu gw’okugiddaabiriza n’okugiyooyoota era aba club n’ebbaala endala batwerinde.

Bwe yabuuziddwa ku bigambibwa nti amabanja gandiba ge gasudde Silk yazzeemu nti: ‘’okubeera n’amabanja sikyegaana kubanga ssente ze zikola ssente ate n’abasuubuzi bangi ab’amannya abatambuza bizinensi nga ssente ze bakozesa za bbanka kyokka kino si kye kitawaanya Silk’’.

Ky’olina okumanya yadde bizinensi eno efuna nnyo, erimu okuvuganya okw’amannyi nga mwenna kumpi mulwanira abantu be bamu. Kale olina okuyiiya okusigala ng’ofunamu ssente, eno y’ensonga lwaki natandikawo ekifo ekirala ekya ‘Liquid Silk’ e Bugoloobi. Eno wakola bulungi nga bwe tulwana okulaba nga ne Club Silk eddamu okukola.

 bbaala ya mbiance Ebbaala ya Ambiance

 

Yagyongerako okufumba emmere ekitali ku Silk so nga n’omutindo gwayo guli waggulu.  Bbaala endala eziddabirizibwa omuli n’ezo ezigaddewo

lDe- Posh e Kabalagala Eno Bannakampala gye babadde bakeeseza ng’abadigize bannyuka ssaawa 1.00 ey’oku makya.

Gye buvuddeko Vicky, nnannyini bbaala eno yagiggala ng’agamba nti eri mu kuddaabirizibwa. l

Soldiers Bar Moze Radio bwe baamusomera bizinensi y’ebbaala okufuna, yakola Soldiers Bar e Wandegeya kyokka mu bbanga ttono yamulemerera n’agitunda. Yakola endala e Mulungu -Munyonyo kyokka nayo yamutuulira. Kigambibwa omwenge ogusinga Moze ne banne be baagwenyweranga ne bagisuula.

l Club T1: Eno yali mu kibangirizi ky’amakolero e Lugogo. Yaggalawo nga bannannyini yo tekyabakolera magoba. Kati waliwo Club Play. 

Effendys: Yali esangibwa ku Centenary Park nga yaggalawo oluvannyuma lwa KCCA okwagala okusendawo ekifo kino. lBulldog: Yali Wandegeya nga yali ya Bazungu. Kati baagifuula kkanisa.

lBristol Bar e Nateete: Eno yali ya Golooba e Nateete. Yacaaka nnyo nga n’oluusi bategekerayo ebivvulu.

lClub Rouge: Esangibwa mu Kampala okumpi n’ekitebe ky’eggaali y’omukka. Ezze ekyusa emikono nga n’abamu ku bagiddukanyizzaako ye Spear Abowe. Yagitunda nga kati kigambibwa ya George Waiswa ng’eyitibwa ‘The Place’.

 bantu nga bakyeyiwa mu bbaala ya nylum nga tebannaba kugiggalawo Abantu nga bakyeyiwa mu bbaala ya Anylum nga tebannaba kugiggalawo.

 

lAsylum: Yali ku luguudo oludda e Namugongo eya Darius Mugisha ne Henry Ssali. Kati baagizza Kiwaatule okwongera okugisembereza abadigize.

lBuddies e Ntinda: Yali ya Davis Kazoora kyokka kati yasigaza linnya.

lVirgin Island: Yali esangibwa Bugoloobi nga kati eyitibwa Temptations. Kigambibwa ya Innocent Nahabwe owa Amnesia.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mail 220x290

Muganda w’omubaka eyafa e Iganga...

ABAKYALA munaana be beesoweddeyo okuvuganya ku kifo ky’omubaka omukazi owa Iganga.

Nrmnabiserejenniferlynn 220x290

Aba NRM ababeera ebweru bakoze...

ABA NRM ababeera mu mawanga g’ebweru bakyusizza mu bakulembeze baabwe ne balonda ssentebe w’ettabi lyabwe e Misiri...

Unit 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO YAFULUMYE...

Mulindwa Muwonge alese ebiragiro 6 ebikakali ebitabudde abakungubazi n’abooluganda. Bato ba Zari boogedde ekisse...

Ziika9 220x290

Mulindwa Muwonge aziikiddwa wakati...

Mulindwa Muwonge aziikiddwa wakati mu biwoobe n'okwazirana okuva mu bannamwandu, abaana n'abooluganda.

Zika3 220x290

Nnyina wa Mulindwa Muwonge ayogedde:...

Nnyina wa Mulindwa Muwonge, Maria Namagembe akungubagidde mutabani we era akumye olumbe mu makaage agasangibwa...