TOP

Engeri Bad Black ne Don Zella gye beeyubudde okuddamu ‘okujooga’

By Martin Ndijjo

Added 20th February 2017

NNAWOLOVU obutafiira ku bbala limu, lugero olutuukira obulungi ku Bad Black (Shanita Namuyimbwa) ne munywanyi we Don Zella (Sheila Nadede) abaluse ddiiru empya okuddamu ‘okujooga’.

Kola0 703x422

Bwe babeera boogera ku bawala abali b’obulamu n’esswagga mu Kampala ababiri bano tosobola kubabuusa maaso wadde ennaku zino ebintu bibadde tebikyabatambulira bulungi.

Embeera esinze kunyiga Black olw’ebizibu by’azze ayitamu ebimumazeemu ng’ono gwe baali baakazaako erya nnannyini ssente olw’omusimbi gwe yamansanga, mmotoka ez’ebbeeyi ze yavulumulanga yatuuka ne ku mbeera esaba lifuti.

Gwe baakwatiranga ensawo ya ssente kati azitereeka mu kaleega, ng’eyagabanga 7,000 eza doola kati agaba 7,000/- eza Uganda nga n’oluusi aziggya mu kaleega.

Bano ebizibu bye bafaanaganya, gye buvuddeko byabagasse era eggandaalo lya Ssekukkulu baalimazeko batiguka bombi.

ENGERI GYE BATETENKANYIZZA OKUDDA ENGULU

Bad Black ne munywanyi we bagaanyi embeera embi era buli muntu ali mu ddiiru gy’atambuza okuddamu okufuna ssente.

Black ekkubo akutte lya kulokola era agamba nti ayagala ssente za mukisa asobole okuzikuuma era aliko paasita omu ow’erinnya mu ggwanga gwe yeekutteko okumutuusa ku kirooto kye eky’okuddamu okufuna ssente.

Nnalongo Don Zella wadde alinamu ensimbi ezimumala okucakala ng’omuntu, taata w’abaana be Amumerika z’amuwa, agamba zino tezimala kujooga era yatuuse dda mu Amerika kweyiiya n’okukola bizinensi naye nga yasoose South Afrika ew’omulenzi we omupya, Warren naye gw’alinamu essuubi okumuyiwamu omusimbi.

Bino nga tebinnabawo, omwaka oguwedde ababiri bano baasoose kwewuunyisa bantu bwe balangira nga bwe beesozze ensiike y’okuyimba n’ebigendererwa ebyenjawulo omuli n’okufuna ssente era buli omu aliko ennyimba ze yafulumya .

Kigambibwa nti Black okuyimba lye kkubo lye yali ayagala okukozesa okufuna ssente eziwerako okuva ewa muganzi we Omuzungu mu mbeera y’okumuteekamu ssente okutumbula ekitone kye ate mu kiseera kye kimu okwekuumira mu kiti kya bassereebu ng’abayimbi abalala.

Don Zella naye aliko ssente ze yali abaaza era emabegako yali atandise n’okukuba ebivvulu kyokka waliwo n’ebigambibwa nti okuyimba yakikola kufeebye eyali muninkini we omuyimbi Big Eye anti n’oluyimba lwa ‘Don Zella nze azirina’ lulimu ebigambo ebirumba Big Eye.

Abantu abamanyi Black bamusekeredde nga bagamba nti yazannyira mu mukisa ate nga gujja lumu, n’alemwa okukozesa obwongo bwe okukuuma obuwumbi bwe yafuna ku muzungu era tasuubira kuddayo mu mbeera gye yalimu nga afukamiza n’abasajja.

 

Omu ku mikwano gya Black ow’oku lusegere yatutegeezezza nga bw’ayagala okuyita mu kkanisa apange okulaba ng’afuna enkolagana n’Abazungu okufaananako n’abasumba abafuna ssente z’Abazungu mu mbeera ey’okuweebwa obuyambi.

Bukya avaayo n’alangira nga bw’alokose, Black agezezzaako okutuukira abasumba b’Abalokole abawerako muli Pasita Mutebi ow’ekkanisa ya Miracle Centre e Ntebe, Imelda Namutebi ne Robert Kayanja owa Miracle Centre gy’atera okusabira.

Ono era alina pulaani y’okukola ekkanisa mw’ayagala okuyita okufuna obuyambi.

BYE BAFAANAGANYA

Gwe atamanyi Black ne Don zella, bwe bakugamba nti balongo, wadde si kituufu, oyinza obutawakana olw’ebintu ebiweerako bye bafaanaganya mu bulamu bwabwe obwa bulijjo.

Okwagala Abazungu:

Bombi baagadde ku basajja Abazungu era bano babaafuula nsawo zaabwe enzibizi gye baddukira buli lwe bafuna ebizibu oba nga bali mu bwetaavu bwa ssente.

Black yamanyika lwa ssente za muganzi we David Greenhalgh enzaalwa ya Bungereza wadde batabuka n’amusibisa ne mu kkomera e Luzira okumala emyaka ena olw’okubulankanya obuwumbi obusoba mu 11.

Bano n’okutuusa kati bakyakwatagana kyokka takyamupokera ssente nga bwe yakolanga. Ssente kati azimuwa okusinzira ku bwetaavu oba nga waliwo ensonga enkulu gye yeetaaga okukolako era Omuzungu y’alabira n’abaana ba Black n’okubasomesa.

Ye Don Zella abaana be ababiri abakulu yabazaala mu musajja enzaalwa ya Amerika abeera e Dubai. Ono amwogerako nga bba ow’empeta kyokka tamugaana kwetaaya era Don Zella buli lw’afuluma Dubai afunayo omusajja amubeesabeesa (ow’ekiseera) mu mawanga amalala gy’abeera alaze.

Omumerika ono alabirira Don Zella n’abaana be bonna era bw’abeera wano mu Uganda buli lw’aggwaamu ng’alinnya ennyonyi ng’agenda e Dubai afune ku ssente.

Balina abaana basatu:

Buli omu ku bano alina abaana abasatu, abawala babiri n’omulenzi omu. Bagabye abaana eri abasajja abatali bataata abatuufu. Mu 2012 ng’ali lubuto lw’omwana we asembayo obuto, Black yategeeza nga bwe luli olw’Omuzungu David Greenhalgh.

Wadde yazaala muddugavu ono yasooka kulemerako nga bwali ow’Omuzungu era ekiseera kyonna yali ajja kukyuka afaanane Omuzungu. Oluvannyuma yamugabira abasajja ab’enjawuulo be yapepeyanga nabo okutuusa ejjo ly’abalamu bwe yayogedde taata w’omwana omutuufu nti ye dizayina w’abayimbi Kim Swagga.

Ate Don Zella gye buvuddeyo yategeezezza ng’omwana gwe yazaala mu Big Eye bw’atakyali wuwe kubanga yagaana okumulabira n’asalawo naye okumuwa bba Omumerika era okusinziira ku biwandiiko by’omwana kati byakozesa biraga nti Omumerika ye taata.

BAZZE BAKYUSA AMANNYA

Ng’oggyeeko amannya gaabwe amatuufu bano bazze beeyita amannya ag’enjawulo okusinziira ku mbeera ne bye bakola. Black yasooka kweyita Bad Black, Good Brown, Shanita Bradley Baibe, kati yeeyita Pastor Snail Baby Ate ye Sheila yasooka kweyita Lady Sheila ebiseera ebyo ng’akola nga pulomoota w’abayimbi, Don Zella ate olumu yeeyita Nnaalongo.

BAGANZIZZA KU BAYIMBI N’OKUBATEEKAMU SSENTE

Bano bombi bazze boogerwako okuganza abayimbi nga babateekamu omusimbi. Ebiseera Black we yalagira ssente ono yali tataηηana na bayimbi okwali Rabadaba ate Don Zella ye yali muganzi w’omuyimbi Big Eye era azze ayogerwako okuba mu nkolagana n’abayimbi abalala.

BALI BA BULAMU

Bano bulamu bwabwe kati butambulira mu masanyu era wadde Black ye yavaayo n’ategeeza nga bwe yalokoka ono nakati buli lw’afuna ssente asula atiguka mu bifo eby’enjawulo ebisanyukirwamu. Wano mu ggwanga bagobera mu bifo eby’ebbeeyi omuli Club Guvnor, Play, Casablanca, Club Establishment n’awalala gye babeera nga banywa n’okulya.

Bavuze kummotoka ez’ebbeeyi: Nga tannafuna bizibu ebyamwavuwaza, Black yali avuga mmotoka za bbeeyi zokka okwali; Range Rover, BMW, Benz n’endala ate ye Don Zella alina Hummer gy’atera okutambuliramu buli lw’abeera kuno.

 on ella ngali nmumerika ansi ye ammer mwatambulira Don Zella ng’ali n’Omumerika. Wansi ye Hammer mw’atambulira

Waliwo ebigambibwa nti yagitunda era yagiguza omu ku bannannyi byuma ebikuba ku bivvulu by’abayimbi kyokka olw’okwagala okusigala mu bulamu amanyi okugipangisa n’aliramu sswaga Okweyerusa.

Olw’okwagala okutambula n’omulembe bano bakyusizza endabika yaabwe nga beyeerusa. Black eyali omuddugavu kati afaananira ddala Omuzungu ate ye Don Zella eyali owa kataketakke agenze yeeyongera okweruka.

EBIZIBU BY’OMUKWANO

Wadde Black akyakwatagana ne David Greenhalgh, buli lukya enkolagana yaabwe, bukya batabuuka olw’okubulankanya ssente za bizinensi ze yaali amuwadde, yakendeera ekyavaako okumugattako abakazi abalala abamuzaalidde n’abaana.

Black agezezzaako okufuna abavubuka abalala okumuwa ku ssanyu ly’omukwano wabula nayo tebimutambulidde bulungi anti azze atabuka nabo omuli ne Meysean.

Don Zella n’okutuusa kati talabagana na muyimbi Big Eye eyamuddukako ng’agamba nti yali asussizza okumufuga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ivannamirembendijjo19 220x290

Ssemwanga aweerezza Buganda n'omutima...

Charles Bwenvu, minisita wa Kabaka omubeezi ow’ensonga za Buganda ebweru, yategeezezza nti Ssemwanga yawaako Obwakabaka...

E0a830087c06467f84a8750da60b2ba9 220x290

Entaana ya Ssemwanga ewedde okuyooyootebwa:...

Ekiri e Kayunga: Entaana ya Ssemwanga ewedde okuyooyootebwa, abakungubazi bakyesomba okwetaba mu kuziika

Kayungadorahnajjembamukiragalanessengawassemwangacissynakiwalangabakaaba 220x290

Ebyabaddewo ng'omulambo gwa Ssemwanga...

Ebyabaddewo ng'omulambo gwa Ssemwanga gutuusibwa ku biggya e Kayunga: Biwoobe

Pala 220x290

Ebyobugagga bya Ssemwanga biwuniikirizza...

Rashid Nsimbe, avunaanyizibwa ku mutindo gw’ebisomesebwa mu masomero ga Ssemwanga, yategeezezza nti mu byobugagga...

Semwanganamirembe30 220x290

Omugagga Kirumira addiza omuliro...

Omugagga Godfrey Kirumira olwakutte omuzindaalo n’akoma ku booluganda lwa Ssemwanga babikke ku mpisa zaabwe ensiiwuufu...