TOP

Bobi Wine akolokose Mmengo ng’akuba abadigize emiziki e Busaabala

By Moses Nsubuga

Added 19th April 2017

BOBI Wine alumbye ab’e Mmengo abaasenda ekitundu kya bbiici ye bw’akyusizza ezimu ku nnyimba ze ezibadde zikolokota Gavumenti ng’awali ekigambo Gavumenti ateekawo abaasenze ettaka ly’ayita erirye.

Bobi 703x422

Bobi Wine ng’akuba emiziki e Busaabala.

Mu kivvulu kye ekyabadde e Busaabala ku Easter Monday, yalinnye ku siteegi ku 5.30 ez’ekiro n’oluyimba lwa, Tugambire ku Jennifer lwe yayimba ng’alaga obukambwe bwa dayirekita wa Kampala, Jennifer Musisi.

‘Lwali Lwakutaano bwe buti ng’obukuba bwatonnye ku bbiici gye nkubira emiziki, obusajja bwasalako ne zikatapira nga bukambwe okukira ennumba….’

Bino bye bimu ku bigambo Bobi bye yakyusizza mu luyimba lwe wabula ng’ayimba nga bw’atuuka ku kigambo Jennifer ate n’asirika olwo abawagizi ne baddamu nti tugambire ku Mmengo.

Yatandise oluyimba lwa Byekwaso kyokka nga bw’alaalika abawagizi be obuteesiga Mmengo n’abakungu baayo olw’ebyabaddewo.

Yagambye nti, be bamu abalikuguza era be bakusendawo kale osaana obegendereze olwo abawagizi be ne bakuba enduulu.

Kuno yazizzaako oluyimba lwa Time Bomb kyokka n’agamba nti ettaka baliggye ku ffe bannansi nga batusenda ate ne baliwa Abachina nga kino yakizzeemu emirundi etaano.

Bobi Wine yayimirizza okuyimba n’ayogera nti teyaweebwa mukisa nga batuuse okumusendawo ate nga n’ekituufu teyalina musango gwonna kuba bonna baweereza Ssaabasajja Kabaka wabula waliwo abamu abakozesa obubi ofiisi ne batulugunya abantu ne kyonoona erinnya lya Kabaka.

Bwe wabadde otunula olukwakwayo, ng’olowooza nti abantu baabadde bangi kyokka tebaabadde bangi nga bwe kitera okubeera olw’abawagizi abamu okulowooza nti bbiici eno eya One love, yonna baagisenda.

Waliwo n’abaabadde batuuka ne beewuunya okulaba nga tebaagimalaawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

No Matching Document

Emboozi endala

Kuba 220x290

BINO BYE BIKULU EBIRI MU BUKEDDE...

Abantu ba Ssebaana Kizito bali ku bunkenke bwe kizuuliddwa nti ‘situlooko’ yamukubye n’obwongo.

Rugbycraneselgoncupleg1bukeddeweb1 220x290

Rugby Cranes erumbye Kenya namutima...

Omutendesi wa Rugby Cranes, John Duncan asudde abazannyi basatu abamu ku baali mu ttiimu eyasooka okuzannya Kenya...

Suula4 220x290

Basudde obubuzi okumpi n'amaka...

POLIISI etandise omuyiggo gw'abavubuka abaasudde obubizzi e Nakasero okuliraana amaka g'Obwapulezidenti.

Kunya 220x290

Bakunyizza eyasinga okugabana ettaka...

HAJJI Harunah Ssemakula 45, eyasinga okugabana ettaka ly’ebibira e Wakiso, ayanise RDC Ian Kyeyune mu kakiiko k’ettaka...

Mbwa1 220x290

Omusirikale akubye embwa amasasi...

Omusirikale akubye embwa amasasi agagittiddewo n'agiresa obwana; Bannannyiyo bamututte ku Poliisi