TOP

Sasha alangidde Big Eye obwenzi

By Musasi wa Bukedde

Added 19th May 2017

Ebigambo abiyisizza mu luyimba lw'atuumye "Kambite"

Lang 703x422

Big Eye ne Sasha Brighton

‘‘KAMBITE, kambite mukwano ebya laavu mbikooye, Kambite kambite mukwano ebya laavu bintamye, Oh... ndifuna omulala, gyali owange eyantonderwa, Omutima gwange gumenyese omusajja gwe mbadde njagala byonkoze ne bye wansuubiza enkumu nkizudde leeti nti wali olimba. Future yange ogyonoonye … nga temwesigwa mmwe.... Abasajja abasajja mbatadde mbiwumudde kale muntamizza obwenzi.”

Bino bye bimu ku bigambo ebiri mu luyimba lwa Sasha Brighton olupya ‘Kambite’ olutandise okwogeza abantu ebikankana nga bagamba nti mwayise okulaga obulumi bw’ayitamu n’okuddiza muninkini we Big Eye omuliro olw’okumukyawa.

Wadde Sasha bino abiwakanya agamba ayimbye ku mbeera abaagalaana ab’enjawulo gye bayitamu.

Bw’oluwuliriza amakulu agalulimu n’ekiseera we lufulumidde toyinza kwawukana n’abo abagamba nti ayimbye ku Big Eye abangi gwe babadde bamanyi nga muganzi we.

Big Eye essaawa eno alina omukazi nkubakyeyo Debbie Lavis (Nantongo Debbie Suzan) gwe yayingizzaawo ng’era bw’omubuuza ebya Sasha tayagala kumanya.

Sasha twayogedde naye ku luyimba luno n’obulamu bwe obwa bulijjo era emboozi yatambudde bweti.

Sasha Brighton y’ani?

Nze Joweria Karungi, muwala w’Omuky. Aisha Kiyingi e Wobulenzi mu Luweero. Nnyimbira mu Da Nu Eagles.

Big Eye okukusuulawo gufuuse musango otuuke n’okumukubamu oluyimba?

Hahaha… leeka naawe nze siyimba ku Big Eye, oluyimba naluyiiya dda lwakuba ndufulumizza mu kiseera kino.

Sasha totulimba, mubadde mwagalana?

Nedda, ebyo bigambo by’abantu era nabigumira kubanga sisobola kugaana muntu kwogera ky’ayagala.

Ssinga Lutaaya akuwa okukulira Da Nu Eagles, kiki ky’oyinza okukyusaamu?

Sirina kubanga buli kimu kitambula bulungi.

Bagamba Lutaaya abanyigiriza n’abamu mwagala kuvaayo?

Ebyo bigambo by’abantu, ffe tuli basanyufu na buli kimu kyatukolera.

Amaanyi go mu kuyimba gali ludda wa?

Eddoboozi esseeneekerevu n’endabika yange ebinnyambye okufuna abawagizi abangi n’emikwano.

Kusoomozebwa ki kw’osanze mu kuyimba?

Olumu menyeka olw’ebigambo ebingi bye banjogerako omuli n’okunjagaza abasajja be simanyi.

Wasemba ddi okukaaba?

N’omwezi guno nkaabye ate buli lwe mpulira oluyimba ‘Kambite’ mpisibwa buli nnyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kuba 220x290

Batandise kaweefube okuyamba abaana...

Omubaka wa Makindye East, Ibrahim Kasozi eyasoma n’omugenzi era abadde mukwano gwe yasabye watandikibwewo ensawo...

Dragonboat6 220x290

Ssekandi awadde ab'amaato akamwenyumwenyu...

OMUMYUKA wa Pulezidenti w’eggwanga, Edward Kiwanuka Ssekandi aleese abavuzi b’amaato akaseeko ku matama bw'alagidde...

Taekwondomay282017ambassadorscup5 220x290

Babiisanyizza mu mpaka za Tae Kwondo...

Abazannyi ba Rwanda beefuze empaka za Tae Kwondo eza Ambassadors Cup ezibumbujjidde mu Lugogo Indoor Arena okumala...

Cranes1 220x290

Cranes etandise kaweefube okuddayo...

UGANDA Cranes wansi w’omutendesi Micho Sredojevich enkya ya leero etandise mu butongole okutendekebwa mu kisaawe...

Kcca12 220x290

KCCA ne Express buli omu awera...

ZAAKUDDA okunywa akawungeezi ka leero nga kirabu ebbiri ezimu ku zisinga amaanyi mu mupiira gwa Uganda Express...