TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omukazi buli lwe tutabuka ng’ansibisa

Omukazi buli lwe tutabuka ng’ansibisa

By Musasi wa Bukedde

Added 16th March 2017

NZE Dalton Byakatonda mbeera Namere, Mpereerwe. Tumaze ne mukyala wange emyaka esatu mu bufumbo nga twagalana mu maka gaffe agasangibwa e Mpereerwe.

Bala 703x422

Okumufuna yali abeera kumpi n’ennyumba gye nali mpangisaako ne tusiimagana. Endabika ye kye kimu ku bintu ebyasinga okuntengula omutima kuba yali anyirira okukira ekinya.

Olwo twali mu 2014. Twamala naye akaseera katono ne mufunyisa olubuto ekyampaliriza okumutwala mu maka gange afumbe. Entandikwa yaffe yali nnungi kuba buli kimu kyali kitambula bulungi.

Wabula embeera za mukazi wange zaagenda zikyuuka nga takyategerekeka.

Nga wayise akabanga, yatandika okuyomba buli kiseera. Ne ndowooza nti osanga ayomba kuba ali lubuto kale ne nsooka nkigumira.

Lumu yantabukira nga nange mpulira nneekyaye era ensonga zaasibira ku poliisi y’e Mulago.

Yanzigulako emisango egitali gimu omuli n’ogwokumukuba. Banyingiza akaduukulu ne bansiba okumala olunaku lulamba okutuusa bwe nafuna abanneeyimirira ne nsobola okuvaayo.

Omulundi ogwaddako, yakomawo awaka matumbibudde era yansanga nneebase.

Olwali okuyingira mu nnyumba yatandikirawo kunzigulako lutalo era ekyaddirira kwali kulwanagana naye. Enkeera yaddukira ku poliisi e Namere okunzigulako emisango era ne bansiba.

Gye buvuddeko, yatumbudde ttivvi mu budde bw’ekiro ng’alina by’alaba. Mu butuufu otulo twambuze ne nsalawo okugyako ttivvi tusobole okufuna ku tulo.

Omukazi yanziguddeko olutalo era ne tulwana ekiro ekyo. Bwe bwakedde ku makya yaddukidde ku poliisi y’e Kanyanya.

Waayiseewo akaseera katono abaserikale ne bajja ne bankwata nga banvunaana emisango egy’enjawulo.

Mpulira nkooye okunsibya era nkooye n’obufumbo bw’obunkenke n’okumalako emirembe.

Eby’embi ewaabwe simanyiiyo wadde okumanya abantu be waakiri nandimukutte ne mutwala ewaabwe ne nfuna ku ssanyu. Bannange simanyi kyakukola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mazzi1 220x290

Omukozi atuuse okwezza omwami wo...

Ky‛olina okumanya, abaana abo be muleeta ng‛abakozi abamu babeera n‛ebigendererwa eby‛okufumbirwa naye ng‛abasajja...

Liz1 220x290

Abanoonya; Njagala musajja Muzungu...

Obutabeera na musajja kye kisinze okumalako emirembe

Baagalana1 220x290

Munno muyambeko ku mirimu gy’awaka...

Omulundi oguwedde nnabalaga nga bwe mwesuuliddeyo ogwannaggamba ku buvunaanyizibwa bwammwe.

Ova1 220x290

Okulwawo okwegatta kigumbawaza...

Baazudde nti buli musajja bw’alwawo okwegatta waliwo embeera y’omubiri mu kisawo ekitereka enkwaso ze gye kizaala...

Ho1 220x290

Omubaka Ssempala akyalimu endasi......

Omubaka Ssempala akyalimu endasi...