TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omukazi aleka bbebi waffe mu nju n’agenda okunywa omwenge

Omukazi aleka bbebi waffe mu nju n’agenda okunywa omwenge

By Musasi wa Bukedde

Added 16th March 2017

POLIISI musibe omukazi oyo kubanga antamye okuleka omwana mu nnyumba n’agenda okunywa omwenge era akomawo matumbibudde.

Saba 703x422

Ssentamu ne Nagirimana ng’ayonsa bbebi waabwe.

Nze Zayidi Ssentamu 23. Mbeera mu Nalwewuba Zooni e Mulago nga nkolera mu kkampuni emu.

Okufuna omuwala ono nnali ntambudde era gye nagwiira ku muwala Brenda Nagirimana 19 ng’abeera mu bazadde be e Mulago.

Namwegomba ne musaba ewaabwe tubeere ffembi n’ajja gye nnali mpangisa.

Mmaze naye emyaka esatu era mu myaka egyo tubadde tunoonya omwana ng’atubuze okutuusa Katonda bwe yatuwadde omwana omulenzi kati ow’emyezi omusanvu.

Nagirimana yasooka n’ayagala omwana ono ebyensusso wabula kati yakyuka oluvannyuma lw’okufuna ebibinja by’abakazi.

Asibira omwana mu nnyumba n’agenda okunywa omwenge era akomawo matumbibudde oluusi nga bukedde. Buli lwe nva ku mulimu nsanga omwana akaabira mu nnyumba yekka.

Olumu akomawo ng’atamidde n’agamba nti ayagala twekubemu era n’antawaanya okutuusa lwe tulwana.

Ku Lwomukaaga yakomyewo ku ssaawa 9:00 ogw’ekiro n’akonkona ne hhaana okumuggulira n’addayo mu banne yakomyewo nga bukedde n’agezaako okulwana ne mukuba ne mutwala ne ku poliisi.

Lumu yasulako awaka naye nagenda okuzuukuka ng’akutte ekiso ayagala kunfumita era ensonga ne nzireeta ku poliisi.

Poliisi y’e Mulago yagguddewo omusango gw’okutulugunya omwana ng’amusibira mu nju n’agenda okunywa omwenge ku fayiro nnamba SD Ref. 05/05/03/2017.

Ndi mweraliikirivu nti engeri mukyala wange ono gy’anywa ennyo omwenge, abasajja bamukwanirayo era njagala bamusibemu naye tebamutwala Luzira kubanga omwana ajja kuntawaanya naye waakiri bamubonerezeemu ategeere bwe bakwata omusajja.

Wabula Nagirimana mu kwewozaako yagambye bwati;

“Baze mmwagala naye simanyi kinywesa mwenge. Okusookera ddala baze alina ebbuba era mbeera nywamu katono naye obudde bwe ndaba nga bugenze nsalawo ne nsula mu mikwano gyange. Nva awaka nga nfumbye emmere nga na buli mulimu ngukoze, bwe ntambulako akomawo ng’ayomba nange kwe kusulayo naye nga ye mmwagala. Nsaba temunsiba sijja kuddamu.

Akulira poliisi ekola ku nsonga z’abaana n’amaka e Mulago (yagaanyi okumwatukiriza amannya ge) yategeezezza nti bagenda kubonereza omukazi aveemu omuze gw’okunywa omwenge.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

C111a580e9174d5997f3a6a40439e2b818 220x290

Raila Odinga addukidde mu kkooti...

RAILA Odinga yeefukuludde n’addukira mu kkooti ensukkulumu okuwakanya obuwanguzi bwa Uhuru Kenyatta ku bwapulezidenti...

Yaga 220x290

Omusajja ayagala kunzigyako mwana...

NZE Uwineza Adiah nnina emyaka 26 nga mbeera Lubaga. Okuva lwe nafuna olubuto, baze yagaana okuddamu okundabirira...

Ssenga1 220x290

Nina bulwadde ki?

NINA emyaka 25 naye seegattangako na mukazi yenna kuba buli lwe ngezaako okwegatta nkoma ku mulyango ne njiwa....

Leka 220x290

Owapoliisi yesse lwa bwavu

OMUSERIKALE wa poliisi eyawummula, Robert Mugume asangiddwa nga yeetuze.

Kadi2 220x290

Kadaga awabudde ku bbula ly'emirimu...

SIPIIKA Rebecca Kadaga ategeezezza nti ebbula ly’emirimu mu bavubuka ky’ekimu ku bisinze bikwatagana butereevu...