TOP

Miiro anneekweka

By Musasi wa Bukedde

Added 19th April 2017

NZE Rebecca Nagawa, nnina emyaka 19 nga mbeera Namasuba.

Bala 703x422

Nagawa

Mu 2015 nafuna mukwano gwange omulenzi era nga tetuteηηana nga tukirako abalongo anti ewaabwe baali bammanyi nga n’ewaffe bamumanyi.

Simanyi gye yafunira kirowoozo n’atandika okunkwana. Nange olw’okuba nnali ndudde naye era nga mmanyi buli ekimukwatako, kyannyanguyira okumukkiriza.

Twayagalana ne Miiro naye nga tetugenda mu bikolwa bya bafumbo okutuusa lwe twakemebwa.

Twamala ebbanga nga tweyagala okutuusa lumu Miiro lwe yannoonya nga tandaba kwe kugenda ewa maama n’amubuuza gye nnali era bwe yamuyombesa n’amuddamu bubi maama n’atabuka.

Maama yannyombesa ng’alowooza nti nze natumye Miiro era okukkakkana nga maama angobye awaka. Nasalawo okugenda e Ndejje ewa mukwano gwange mbeere naye wabula saamanya nti nnali ηηenze n’olubuto.

Waayita emyezi ebiri, mu 2016 ne ndaba nga sigenda mu nsonga era nagenda okwekebeza nga ndi lubuto. Nava e Ndejje ne ηηenda e Namasuba ηηambe Miiro nti ndi lubuto wabula tewali kye yannyega yatambula n’anviira n’andeka we twali tutudde.

Yannekweka ne munoonya n’ambula ng’ate yali akimanyi nti sirina gye mbeera anti nga ne mukwano gwange e Ndejje angobye ate nga ne maama yangoba dda.

Natandika okupanga obulamu nga bwe nsula mu bibanda ne mu bbaala ez’enjawulo.

Waliwo omukyala eyali atunda amanda nga bamuyita Nakato eyansembeza ne ntandika okubeera mu kabanda ke era ne ntandika n’okunywa eddagala ng’annyamba mu buli kimu wadde naye yatuuka ekiseera n’ankoowa.

Naddamu okutaayaaya ku kyalo anti nga sirina we nsula kyokka ne Miiro ng’anneewala. Mu kiseera kino sirina wembeera ate tewali ky’ampa ate nga naatera okuzaala, ndi mu myezi musanvu.

Miiro aneewala ate n’ewuwe takyabeerayo nga n’essimu gye nnali mmanyi yagiggyako. Simanyi kyakukola era nsaba abazirakisa bampe ku magezi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ji1 220x290

Poliisi eggalidde abasirikale baayo...

Poliisi eggalidde abasirikale baayo 10 ku misango egy'enjawulo

C111a580e9174d5997f3a6a40439e2b818 220x290

Raila Odinga addukidde mu kkooti...

RAILA Odinga yeefukuludde n’addukira mu kkooti ensukkulumu okuwakanya obuwanguzi bwa Uhuru Kenyatta ku bwapulezidenti...

Yaga 220x290

Omusajja ayagala kunzigyako mwana...

NZE Uwineza Adiah nnina emyaka 26 nga mbeera Lubaga. Okuva lwe nafuna olubuto, baze yagaana okuddamu okundabirira...

Ssenga1 220x290

Nina bulwadde ki?

NINA emyaka 25 naye seegattangako na mukazi yenna kuba buli lwe ngezaako okwegatta nkoma ku mulyango ne njiwa....

Leka 220x290

Owapoliisi yesse lwa bwavu

OMUSERIKALE wa poliisi eyawummula, Robert Mugume asangiddwa nga yeetuze.