TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Gwe yaleeta nga mwannyina yali muganzi we

Gwe yaleeta nga mwannyina yali muganzi we

By Musasi wa Bukedde

Added 20th April 2017

MUKYALA wange yantamya omukwano kuba gwe yaleeta nga mwannyina yali muganzi we!

Jah 703x422

MUKYALA wange yantamya omukwano kuba gwe yaleeta nga mwannyina yali muganzi we!

Nze Denis Lukwago, mbeera Mutungo. Tubadde tumaze ne mukyala wange emyaka ena mu bufumbo nga tulina abaana babiri.

Buli kimu kibadde kitambula bulungi okutuusa lwe nakizudde nti gw’ayita mwannyina ate ye muganzi we.

We nnamusisinkanira, yali akolera mu wooteeri emu wano mu Kampala ng’akola gwa kuweereza mmere.

Nnamulaba omulundi ogwasooka ne mwegomba kubanga yali alabika bulungi ate ng’alina n’empisa ebyampaliriza okumuganza. Natandika okumwogereza okutuusa lwe nnamuwangula.

Yali abeera ne mukwano gwe e Kireka era ne musaba tutandike okubeera ffena kuba nnali sirina mukyala ate nga nnoonya omuntu owookuwasa.

Nga tumaze ebbanga nga tubeera ffembi, namukolera bizinensi kubanga omulimu gwe yali akola nnali sigwagala era nga njagala abeere nga yeekozesa kuba yali mukyala mukozi ng’ate ebya bizinensi abitegeera.

Mu bbanga ttono, bizinensi yali ekulaakulanye era n’antegeeza nga bwe yali ayagala okufunayo omuntu omulala amuyambeko ekintu nange kye nakkiriza.

Yaleeta omuvubuka gwe yannyanjulira nga mwannyina. Twandika okubeera n’omuvubuka ono mu maka gange e Mutungo era nga mweyitira lya muko nga n’abaana awaka bamuyita kojja.

Nga wayise ebbanga, baliraanwa bange baatandika okuηηamba ku nkolagana y’ababiri bano naye ne mbawakanya.

Naye bwe nnalaba nga kiyitiridde kwe kutandika okubega abantu bano. Natega mukyala wange akatego nti ηηenze ssafaali era ndi waakumalayo wiiki era n’andaga ng’akisanyukidde.

Wabula bwe nagenda saasulayo kyokka ηηenda okudda awaka ng’ekiri mu nnyumba kissa kinegula era awo omukwano gwaffe we gwakoma.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Save1 220x290

Abasumba batadde akazito ku Paasita...

Paasita Aloysious Bujingo owa House of Prayer Ministries e Makerere Kikoni bamunoonyerezaako ku bya Bayibuli ezookebwa....

United1 220x290

Bano 13 abavunaaniddwa be batta...

KU basajja 13 abaaleeteddwa mu kkooti ne basomerwa omusango gw’okutta Kaweesi kuliko bana ababadde babeera ennyo...

Oty 220x290

Ssente ze yeekolera zimutunuzza...

ABASAWO ba poliisi kyabatwalidde akaseera okutaasa obulamu bw’omuvubuka eyanywedde omwenge n’aguyitiriza.

Sula 220x290

Abaamenye edduuka ly’omutuuze balula!...

IVAN Aine 23, ne Ronald Agaba 17, balula. Poliisi ebataasizza ku batuuze ababadde baagala okubamiza omusu.

Mba 220x290

Muwala wa Canon anywedde embwa...

GLORIA Mbabazi muwala muto ng’era bw’atandika okufuuwa Olungereza oyinza okumuyita polofeesa.