TOP

Omuwala yansuulira bbebi wa myezi 8

By Musasi wa Bukedde

Added 21st April 2017

Okuva omuwala lwe yansuulira omwana sikyalina mirembe. Nze Shafik Muwansena, sirina watuufu we nsula kuba kati essaawa eno nsula ku poliisi kuba mu nnyumba mwe nnali nsula bangobamu nga sisobola kusasula, kuba sikyakola okuva omuwala gwe nnazaalamu bwe yandekera omwana.

Pada1 703x422

Okuva omuwala lwe yansuulira omwana sikyalina mirembe. Nze Shafik Muwansena, sirina watuufu we nsula kuba kati essaawa eno nsula ku poliisi kuba mu nnyumba mwe nnali nsula bangobamu nga sisobola kusasula, kuba sikyakola okuva omuwala gwe nnazaalamu bwe yandekera omwana.

Omuwala ono namufuna emyaka 3 egiyise. Ng’abavubuka bwe basiimagana, twakkiriziganya ne mutwala ewange, era ebiseera ebyo nnali mpangisa Seguku.

Teyampa buzibu nga mmukwana kubanga nnalinawo ku kasente. Ebbanga lye nnamala naye yantegeeza nti yali tamanyi waabwe kuba era namusanga mu kkubo ne tusiimagana nange ne mutegeeza nti kyenkana tufaanagana kubanga nange sirina taata.

Namugamba nti maama we yanzaalira, yalinako Hajji omu gwe yafumbirwa e Kyotera naye nze yanzaala bbali ate yagenda okufa nga tandaze gye yanzaala.

Ebyo bwe twamala okubikkaanyaako, omukwano gwaffe gwagenda mu maaso okutuusa bwe yafuna olubuto n’azaala omwana omulenzi era ne nsanyuka nnyo ne tubeera ffenna nga nninako we bankozesa era nga ssente awaka nzirekawo ng’omusajja omulala.

Wabula lumu ηηenda okukomawo awaka nasanga omwana wange ali awo maama we taliiwo ne ndowooza nti aliko gy’agenze. Nnakanda kulinda nga simulabako, era enkeera saakola nga nnina okukuuma omwana.

Nnagenda okulaba nga sirina muntu gwe ndekera mwana era bakama bange bwe baalaba sikyakola ne bateekawo omuntu omulala.

Nnatandika okunoonya mukyala wange gye yadda, naye okuva olwo siddangamu kumuwuliriza kati mwaka mulamba nga ntoba n’omwana bwomu.

Sikyasobola kukola kuba sirina gwe nnyinza kulekera mwana wange. Kati ekizibu kye nnina kya butaba na ssente engeri gye sikyakola. Era bangoba mu nnyumba gye mbadde mpangisa.

Nnasooka kusengukira mu kayumba aka layisi e Nakulabye okutuusa nako lwe kannema kati bangoba ne ntandika okusula ku luguudo n’omwana wange.

Ekizibu kyennina mu budde buno kwe kuba nga sisobola kukola kuba nze nnina okulabirira omwana wange.

Nsaba okufuna anannyamba mu bizibu buno bwe ntubiddemu kuba sirina waakuddukira.

SSENGA: Muwansena, mmanyi obuzibu oyita mu bungi, naye olina okuyiiya ng’omusajja.

Bw’oba tolina bantu bo nga bw’ogamba, osobola okufuna omukozi n’omusasula n’alabirira omwana nga bw’okola.

Okutuula n’olinda bakuyambe nze ndaba kikolwa kya bugayaavu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Commonwealth1 220x290

Uganda bagisudde ku New Zealand...

OBULULU bw’ebibinja bya ttiimu ezigenda okuguvanya mu mpaka z’okubaka mu mizannyo gy’amawanga agli mu luse olumu...

Mu1 220x290

Endaga muntu 45000 zibuliddwaako...

Endaga muntu 45000 zibuliddwaako abatwala e Mukono

Po1 220x290

KCCA ezzeemu okugobagana n'abatembeyi...

KCCA ezzeemu okugobagana n'abatembeyi mu Kampala

Nsimbi1 220x290

Kasirye Ggwanga alaze ekyapa ky’ettaka...

BRIG. Kasirye Ggwanga avuddeyo n’alaga ekyapa ky’ettaka eryavuddeko okwokya tulakita e Lubowa ku lw’e Ntebbe eyabadde...

Paba 220x290

Maama ayiiridde abaana be babiri...

OMUKAZI ayiiridde abaana be babiri amafuta n’abakumako omuliro ne batwalibwa mu ddwaaliro nga bataaawa, olwa bba...