TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Engeri gy’otema munno sipeeya ne munyumirwa akaboozi

Engeri gy’otema munno sipeeya ne munyumirwa akaboozi

By Musasi wa Bukedde

Added 17th May 2017

ABAKAZI bangi bakitwala nti mu nsonga z’omukwano omusajja y'ateekeddwa okukwata enkasi.

Blackcoupleinbed 703x422

Abaagalana nga bali mu mukwano

Era y’ensonga lwaki emirundi mingi abaagalana bwe batuuka eyo mu byabwe, omukazi aba asuubira munne okumwambula.

Wadde kino abamu kibakolera, naye kyandibadde kirungi omukazi n’ayiga okweyambula, kubanga kano akakozesa ng’akakodyo k’okwongera okucamula munne emirimu ne gigenda bukwakku.

Edith Mukisa abuulirira abafumbo n’abaagalana agamba nti omukyala n’omasajja bavunaanyizibwa kyenkanyi okweyambula n’okwambula kubanga gwe gumu ku mitendera gy’akaboozi era ssinga mugukwata bulungi kizibu obutanyumirwa mukwano.

ENGERI GY’OYAMBULA MUKALAZI:

Tandika mpola okumuweeweeta ng’otandikira ku bitundu ebitaliimu nnyo bwagazi ng’amatu, mu bulago nga bw’okkiriza emikono mu bitundu ebimucamula. Kozesa ebitundu byo omuli amaaso, emimwa, olulimi, emikono, ebibegabega, ebigere, amagulu n’ebirala okumuteeka ku bunkenke.

Munywegere ku mimwa, mu bulago, amatu, n’ebitundu ebirala. Muggyeemu essaati.

Bw’aba mu ssaati erina amapeesa sumululako asatu agasooka oba abiri agasooka waggulu omuweeweete obubeere nga bw’obunywegera, oluvannyuma ogisumulule yonna ogisuule wansi.

Mutunuulire mu mmunye oseeseetule empale ng’omusemberedde. Tandikira ku zzipu ogireke egwe yokka. Sooka olindeko okumuggyamu akawale ak’omunda.

Bino byonna olina okubikola nga bw’omubuulira obugambo obuwooma naddala nga bumuwaana nga bwe yakula obulungi.

Bw’omaliriza mutuuze wansi ku ntebe oba ku buliri omutuuleko, ogatte amabeere go gombi ogamuyise ku mimwa ate omuveeko. Ojja kulaba ng’amameeme gatandise okumukuba.

Musemberere mpola nga bwe weenyola osonseke omukono gwo mu kawale ke akomunda okaleke kagwe wansi, w’onoomalirayo bino byonna nga yakulumbye dda gy’oli mwesanyuse.

ENGERI GY’OYAMBULA NAMIIRO:

Sooka omuggyemu bbulawuzi oba ekiteeteeyi. Bbulawuzi bw’eba ya mapeesa sooka osumululeko abiri agasooka oyise omukono gwo osooke oweeweete ennywanto z’amabeere.

Tandika okusumulula amapeesa gonna nga bw’omunywegera. Sumulula akaleega nga weegendereza obutakakutula, okamuggyemu mpolampola nga bw’omunywegera amabeere kijja kwongera okumussa ku bunkenke.

Muyiseeko engalo oggyemu sikaati oba empale otandike okumuweeweeta ebisambi, entumbwe, ebigere n’ebitundu byonna ebimusumulula.

Oluvannyuma muggyeemu akawale, ojja kulaba bw’ataakwesabire mutandike akazannyo.

Wabula bino bikole ng’okimanyi nti abantu abamu tebalina bugumiikiriza, ate abasajja bw’omulwisa ayinza okumalamu akagoba nga temunnatandika kazannyo ne bikusala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Zika3 220x290

Nnyina wa Mulindwa Muwonge ayogedde:...

Nnyina wa Mulindwa Muwonge, Maria Namagembe akungubagidde mutabani we era akumye olumbe mu makaage agasangibwa...

Si 220x290

Minisitule etongozza akuuma akakebera...

MU kaweefube wa Gavumenti ne minisitule y’ebyobulamu okulwanyisa obulwadde bwa mukenenya mu ggwanga, Gavumenti...

Mao1 220x290

Poliisi yezoobye n'aba DP: Mao...

Pulezidenti wa DP, Nobert Mao bamuggalidde.

Bre 220x290

Eyakubwa poliisi amasasi mu kwekalakaasa...

KYADDAAKI omukazi eyakubwa poliisi amasasi mu kwekalakaasa kwa ‘Walk to Work’ e Kajjansi afunye ku ssanyu kkooti...

Dfgkithwsaqxwrojpglarge 220x290

Aboogera ku by'ekkomo ku myaka...

PULEZIDENTI Museveni ayanukudde abagamba nti ayagala kukyusa Ssemateeka w’eggwanga aggye ekkomo ku myaka 75, n’ategeeza...