TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omuwala yaganza mukulu wange ne mmwesonyiwa

Omuwala yaganza mukulu wange ne mmwesonyiwa

By Musasi wa Bukedde

Added 19th May 2017

NZE Asuman Muwanga mbeera Nateete, ndi musuubuzi mu Kampala, wabula nga byonna bye ntuuseeko mbyebaliza mukyala wange, Mariam Nalubega eyannyiga ebiwundu by’obufumbo bw’ekivubuka.

Kadaga1 703x422

Asuman Muwanga

Mu 2000 nasisinkana omuwala gwe nnayagala okuzaama.

Mu kiseera ekyo twali tubeera Lukenke Mukibinge e Masaka. Twamala ekiseera nga tuli mu mukwano, era lumu ne tukkiriziganya tuigendeko e Nabugabo ku bbiici.

Mu mboozi ennyingi ze twanyumya munnange we yantegeereza nti alinayo omwana.

Kyanneewunyisa naye saakiremerako kuba nnali mmwagala. Bwe twavaayo, buli omu yadda waabwe, wabula ye bazadde be ne bamugoba.

Ensonga nazitegeeza taata wabula n’andabula obutagenda mu maaso na muwala oyo, kyokka ne nnemerako.

Nnatandika okupakasa ne nfuna 35,000/- ze nagulamu amajaani pakiti ssatu, enkoko ne 20,000/- gye nateeka mu bbaasa ne mbitwalira abakadde ne tutandika obufumbo nga batumanyi.

Twamala emyaka ena mu bufumbo naye munnange n’alemwa okufuna olubuto, kwe kugezaako okunoonya eddagala.

Mu kiseera ekyo nafuna omulimu e Mbarara, era munnange ne mmuleka e Masaka.

Eno nnamalayo emyezi esatu wabula nga mmuwereza obuyambi. Bwe nnakomawo, omukyala yantegeeza nga bw’alina olubuto wabula tekyansanyusa kuba nnali seekakasa oba ng’olubuto olwo ddala lwange.

Namulabirira okutuusa bwe yazaala, era oluvannyuma lw’okuzaala nafuna omulimu omulala nga gwali gwa kukuuma mu paakingi emu mu Nyendo.

Eno gye nasisinkanira omuwala gwe naganza n’ekigendererwa ky’okuzuula oba ddala nzaala Bino nnabikola naye nga munnange mmuwa obuyambi, wabula ekyanzigya enviiri ku mutwe ate kwe kukizula nti mukyala wange ate yaganza mukulu wange, ne batuuka n’okuzaala omwana.

Nasalawo okumwesonyiwa ne nzija mu Kampala njiiye obulamu nga njokya kasooli.

Nnaddayo mu kyalo oluvannyuma lw’omwezi wabula awaka saamusangawo kwe kukkirira mu nnimiro ne mbasanga mu mimwanyi ne mukulu wange nga basinda omukwano.

Kyampitirirako ne nsalawo okubeesonyiwa ne nkomawo e Kampala. Oluvannyuma yankubira essimu n’ansaba tusisinkane ambuulire ensonga lwaki yali anobye.

Namusaba byonna abintegeereza ku ssimu era n’ahhamba nti bwemba njagala tuddemu okwagalana, mmuleete e Kampala kye nnagaana nga ndaba tetukyasobola kukwatagana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kaaba1 220x290

Zari atulise n'akaaba bw'akubye...

Zari atulise n'akaaba bw'akubye ku mulambo gwa Ssemwanga eriiso: Abaana bamuwooyawooyezza

Lwana1 220x290

Balwanidde emmere ku mukolo gw'okuziika...

Balwanidde emmere ku mukolo gw'okuziika Ivana Ssemwanga e Kayunga

Koz1 220x290

Kintu Nnyago awadde ab'e Kyaddondo...

Kintu Nnyago awadde ab'e Kyaddondo East amagezi

Ba7 220x290

Ebyokwerinda binywezeddwa mu kuziika...

Ebyokwerinda binywezeddwa mu kuziika Ivan Ssemwanga: Aba 'Rich Gang' batudde mu tenti yaabwe bokka

Zari1 220x290

Zari n'abaana batuukidde mu byokwerinda...

Zari n'abaana batuukidde mu byokwerinda ebyamaanyi: Beebulunguddwa bakanyama