TOP

Bwe nakaddiwa baze n’anzirukako

By Musasi wa Bukedde

Added 15th July 2017

NZE Lilian Nabukeera 64. Mbeera Kasanje. Nnina abaana 8 n’abazzukulu 10.

Wanga 703x422

Nabukeera ng’ali ne muzzukulu we.

Taata w’abaana bange yankwana nkyali muto nnyo nga naakamaliriza emisomo gyange mu kibiina ekyomusanvu.

Nali ηηenzeeko mu luwummula ewa mukulu wange e Masaka gye yali yafumbirwa.

Mukulu wange bbaawe yali yamukolera edduuka kati olwawummula yali yaakazaala omwana we asooka kwe kugenda muyambeko ku mirimu n’okumutundirangako mu dduuka, eno omwami wange gye yandabira kubanga yali atugulangako nnyo ebintu.

Omusajja ono olwaneegomba yantuukirira n’antegeeza nga bwe yali anjagala ennyo, alina n’enteekateeka ez’okumpasa.

Yampaana nga bwe ndi omuwala omulungi, owempisa era asaana amaka ge.

Omusajja ono yali mukulu ku nze naye engeri gye nnali omuto nasooka kugaana nga sinnalowooza ku bya bufumbo kyokka nannemerako n’abigamba ne mukulu wange.

Mukulu wange olwabiwulira n’asanyuka kubanga omusajja ono yali mukwano gwe ng’amugulako ebintu ngate mukwano gwa bba. Era olwalaba nga ηηaanye yagenda butereevu awaka n’abigamba taata ne maama.

Yabagamba ng’omusajja bw’alina ssente ezisobola okundabirira wamu ne bazadde baffe ate mbu mukulu bulungi ajja kusobola okunkuuma.

Olwo bazadde bange beegatta ku mukulu wange ne bansaba nfumbirwe omusajja oyo era n’anyanjula ne tutandika obufumbo.

Ekyomukisa omulungi olwazaala omwana waffe asooka ssente ne zeeyongera. Twasobola okugula ettaka eddene e Kasanje nga tuliggya mu kulima.

Nga tusenguse tuzze wano we tubeera, omwami wange yatandika okukola ennyo ng’alwayo nnyo mu nnimiro ng’oluusi tadda waka ng’agamba nti atutte mmaali mu katale.

Twayongera okuzaalira ddala mu mbeera eyo bwe tutyo ne tuweza abaana kkumi naye olw’okukola n’okukakaalukana nakaddiwa yadde nnali sinnaba kuweza myaka ming naye nga manyi nti omwami wange ajja kubeerawo mu buli mbeera.

Yatandika okumboggolera, nga bwe nfumba emmere tagirya agamba akomawo akkuse.

Yalekera awo n’okutuwa obuyambi n’abaana bange kyokka nga baali balina okusoma wamu n’okulya ate nga nze sikola kubanga yali tayagala mukazi akola era emyaka gyonna nnali nkola gwa kumufumbira na kulabirira baana.

Embeera yakyukira ddala era abaana bange ne batandika n’okubagoba ku massomero olwa fi izi naye nga tafaayo kyokka nga tewali na kyakulya.

Nasalawo abaana bange batandike okulima emmere gye banaalya n’okukola emirimu emirala.

Omusajja ono teyakwatibwa nsonyi kwekuba mu mutima kutulabirira kubanga ssente zo yali azirina wabula yasalawo naava n’awaka n’agenda nga bw’annangira obukadde era olwagenda naddamu okuwulira nti yafuna akawala akato.

Ennaku ennuma nti abaana bange sisobodde kubawa kye beetaaga ng’ abaana era abasinga kati bagenze bafumbirwate abalenzi baagenda mu kibuga kuyiiya ssente.

Kati nze nfa nzekka n’abazzukulu kubanga abaana bange abamu tebannafuna bufumbo bulungi nga kati n’omuto abadde akyasoma naye yazaala ate akavubuka tekalabirira mwana. Nejjusa lwaki nafumbirwa omusajja ono.

Ne bye namusuubiramu ng’okulabirira ab’ewaffe teyakikola ate nga yali mugagga kubanga nze abewaffe baakoma okulaba ku ssente ye emyaka 40 emabegaera ebbanga lye tubadde naye abadde akoma kumpa zaakugenda kuziika kwokka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mail 220x290

Muganda w’omubaka eyafa e Iganga...

ABAKYALA munaana be beesoweddeyo okuvuganya ku kifo ky’omubaka omukazi owa Iganga.

Nrmnabiserejenniferlynn 220x290

Aba NRM ababeera ebweru bakoze...

ABA NRM ababeera mu mawanga g’ebweru bakyusizza mu bakulembeze baabwe ne balonda ssentebe w’ettabi lyabwe e Misiri...

Unit 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO YAFULUMYE...

Mulindwa Muwonge alese ebiragiro 6 ebikakali ebitabudde abakungubazi n’abooluganda. Bato ba Zari boogedde ekisse...

Ziika9 220x290

Mulindwa Muwonge aziikiddwa wakati...

Mulindwa Muwonge aziikiddwa wakati mu biwoobe n'okwazirana okuva mu bannamwandu, abaana n'abooluganda.

Zika3 220x290

Nnyina wa Mulindwa Muwonge ayogedde:...

Nnyina wa Mulindwa Muwonge, Maria Namagembe akungubagidde mutabani we era akumye olumbe mu makaage agasangibwa...