TOP
  • Home
  • Ssenga
  • ‘Omusajja yandekawo embaga n’agikuba mulala’

‘Omusajja yandekawo embaga n’agikuba mulala’

By Musasi wa Bukedde

Added 10th August 2017

Okusinziira ku ngeri omusajja gye yali andagamu omukwano n’okweyisaamu byanziba amaaso ne kindowoozesa nti nfunye omuntu omutuufu agenda okuwummuza obulamu bwange bwonna.

Dorothy1 703x422

Nantongo

OMUSAJJA eyali ambiita yantama lwa kummalira biseera bwe yansuulawo n’akuba omukazi omulala embaga makeke. Nze Dorothy Nantongo, mbeera Mpereerwe ku lw’e Gazaya.

Okulabagana n’omusajja twasisinkana mu kifo ekimu ekisanyukirwamu e Kajjansi ne tusiimagana.

Yali akola mu kibanda ekimu ekivungisa ssente mu Kampala ate nze nga mbeera waffe.

Ebiseera ebisinga nagendanga ewuwe ne mukyalira e Kajjansi gye yali abeera n’andaga omukwano wamu n’okumubeesabeesa oluvannyuma ne nzirayo ewaffe e Mpereerwe.

Omusajja yansuubiza ebintu bingi omuli; okugenda ewaffe, okunkuba embaga, okunkolera bizinensi n’ebirala.

Okusinziira ku ngeri omusajja gye yali andagamu omukwano n’okweyisaamu byanziba amaaso ne kindowoozesa nti nfunye omuntu omutuufu agenda okuwummuza obulamu bwange bwonna.

Kino kyampaliriza okumuwa omutima gwange gwonna kuba ye musajja gwe nnali ntunuulidde yekka okubeera naye mu biseera byange eby’omu maaso.

Wabula kyambuukako omusajja bwe yatandika okukyusa mu mbeera ze nga bwe mukubira essimu takyayagala kugikwata ate olumu ng’agifuula bbize.

Ebiseera ebimu nagendanga ewuwe okumulaba naye ng’ankomya ku mulyango takyayagala nnyingire ennyumba ye nga n’olumu ansibira bweru.

Okusinziira ku mbeera gye nalimu mu kaseera ako kyandowoozesa ebintu bingi omuli n’okubeera nti alina omukazi omulala gw’ayagala ne ntandika okumwekengera buli kadde nga ndaba buli ky’akola agenderera kuneggyako.

Waayita mbale, omusajja nakuba omukazi omulala embaga makeke ng’ebifaananyi bye yeekubisa ne bindeeterwa mikwano gyange bye byankakasa buli kimu ekyali kigenda mu maaso.

Eky’okukolera omusajja kyambula kuba nayisibwa bubi kuba kwe nnali nsibidde olukoba era nga mmanyi nti agenda kumpasa.

Ekyasinga okunnuma kwe kuba nti yammalira ebiseera byange bingi kumpi emyaka ena miramba ng’anzannyira ku bwongo n’andaga obuyaaye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Speaker703422 220x290

Kadaga ayambalidde Gavt' ku kwonoona...

SIPIIKA Rebecca Kadaga ayambalidde minisitule y’obutonde bw’ensi n’alumiriza nti tekoze kimala kussaawo kaweefube...

Gaana703422 220x290

Mutebile yeerwanyeeko ku kuggalawo...

GAVANA wa bbanka Enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti ssi kituufu nti Bank of Uganda yayanguyiriza okweddiza Crane...

Ge1 220x290

Abakima amazzi ku ddaamu ya Ssekabaka...

Abakima amazzi ku ddaamu ya Ssekabaka e Mawogola bibasobedde

Ha1 220x290

Omubaka wa Pulezidenti alabudde...

Omubaka wa Pulezidenti e Masaka alabudde abakola enguudo e Masaka

Hi1 220x290

Abatuuze bavudde mu mbeera ne balumba...

Abatuuze bavudde mu mbeera ne balumba Poliisi Y'e Mpigi