TOP

Simanyi oba anjagala

By Musasi wa Bukedde

Added 11th August 2017

Omukyala ono namusanga n’omusajja mu nju yange.

Newsengalogob 703x422

SSENGA nnina mukyala wange naye simanyi oba ddala anjagala. Omukyala ono namusanga n’omusajja mu nju yange. Nnali ηηenze safaali ne nkomawo nga tansuubira. Nasanga omusajja ali waka anywa kacaayi.

Bwe namubuuza yaηηamba nti mwannyina, kyokka omusajja oyo ku ‘whatsapp’ ndaba nga banyumya emboozi ey’omukwano.

Jjuuzi yaηηamba nti awulira akooye okufumba ayagala kuddayo waabwe. Namugaana naye yagenze. Essimu ye teriiko ate ab’ewaabwe baηηamba taliiyo. Nkole ntya?

Mwana wange oba omukyala ono yakugamba nti akooye okufumba, era ayagala kudda waabwe ekyo kye yakugamba ky’olina okugenderako. Omukyala ono abadde wa mazima n’akubuulira ekiri ku mutima gwe.

Nkimanyi omukyala ono okyamwagala naye mu butuufu omukyala ono takwagala. Kye ndowooza omusajja gwe wasanga ng’anywa kacaayi yali muganziwe.

Oba asobola okumuleeta mu makaago kiraga nti takutwala nga mwami we. Ate omukyala yenna bw’ajeemera omusajja omanya nti takyali mukyala gyoli era akuyisaamu amaaso.

Omukyala ono mwesonyiwe wadde obadde okyamwagala. Ekirungi abantu be obamanyi babuulire ekigenda mu maaso.

Oba basobola okutuula mu nsonga zammwe mukikole naye nze ndaba ng’atakuliiko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ji1 220x290

Poliisi eggalidde abasirikale baayo...

Poliisi eggalidde abasirikale baayo 10 ku misango egy'enjawulo

C111a580e9174d5997f3a6a40439e2b818 220x290

Raila Odinga addukidde mu kkooti...

RAILA Odinga yeefukuludde n’addukira mu kkooti ensukkulumu okuwakanya obuwanguzi bwa Uhuru Kenyatta ku bwapulezidenti...

Yaga 220x290

Omusajja ayagala kunzigyako mwana...

NZE Uwineza Adiah nnina emyaka 26 nga mbeera Lubaga. Okuva lwe nafuna olubuto, baze yagaana okuddamu okundabirira...

Ssenga1 220x290

Nina bulwadde ki?

NINA emyaka 25 naye seegattangako na mukazi yenna kuba buli lwe ngezaako okwegatta nkoma ku mulyango ne njiwa....

Leka 220x290

Owapoliisi yesse lwa bwavu

OMUSERIKALE wa poliisi eyawummula, Robert Mugume asangiddwa nga yeetuze.