TOP

Aba famire okwambala ebifaanagana kukutte akati

By Musasi wa Bukedde

Added 18th February 2017

ENKOLA ya aba famire okwambala ebifaanagana yettaniddwa ensangi zino.

Same1 703x422

Yudaaya Lulagala Ntambi n’abaana be nga bambadde ebitengi ebifaanagana.

Bya VICKY NABUKEERA

ENKOLA ya aba famire okwambala ebifaanagana yettaniddwa ensangi zino.

Mu biseera ebyayita enkola eno yali yakazibwako lya ‘maama yampa’ nga kiva ku kya kuba nti omukyala bwe baamuguliranga olugoye ng’ekiwero ekifikkako atungiramu abaana be obuteeteeyi, empale oba essaati.

 

 mukyala ne muwala we mu ngoye ezifaanagana Omukyala ne muwala we mu ngoye ezifaanagana.

 

Enkola eno yayambanga abazadde naddala mu byalo okukekkereza kuba engoye zaabanga za buseere, ate ng’engoye z’emivumba zaali tezinnayala mu ggwanga.

Wabula enkola eno yasanyusanga nnyo abaana kuba yabanga ayambadde ekifaanagana ne nnyina.

 baagalana mu bifaananagana Abaagalana mu bifaananagana

 

Ennyambala eno ennaku zino yettaniddwa, era tekikyewuunyisa okusanga aba famire nga bagenda ku mukolo nga bonna bambadde bifaanagana.

Claire Namuddu atunga engoye ng’akolera mu Kampala agamba nti ennyambala eno esinga mu bakyala bafumbo n’abaazaalako wadde nga si bafumbo.

 aata ne muwala we mu bifaanagana Taata ne muwala we mu bifaanagana

 

Agamba nti engoye ezifaanagana baasooka kuzitunga mu bitengi, wabula kati batunga mu matiiriyo yonna kasitoma gy’aba asiimye, omuli siriki, lineni, ppamba n’endala. Agamba nti omusono guno gwasooka kwettanira bakazi, nga bw’agula olugoye atungirako n’abaana be, wabula mu kiseera kino n’abasajja bagujjumbidde.

Agattako nti ennaku zino ennyambala eno tegendererwamu kukekkereza nga bwe kyali kubanga oluusi weesanga ng’olugoye lwe batunzeemu lwa bbeeyi nnyo era nga basasudde ssente eziwera okubatungira bonna nga famire.

 amire enekanekanye mu ngoye ezifaanagana Famire enekanekanye mu ngoye ezifaanagana

 

Namuddu agamba nti okutungira famire ey’abantu 8 kyetaagisa okugula olugoye olubamala n’okutunga mu misono egifaanagana oyinza okusaasaanya 600,000/-.

Agamba nti emirundi egisinga maama ayinza okutunga n’abawala ne batungisa mu musono gwe gumu, ate taata n’atunga omusono ogufaanana abalenzi.

Abettanidde omusono guno bagamba nti ennyambala eno eyongera obumu mu famire kubanga bwe bambala ebifaanagana bawulira nga ddala bali omuntu omu, ate nga kibaleetera n’okwegombebwa abalala.

 a utaaya nga banyumidde mu bifaanagana Ba Lutaaya nga banyumidde mu bifaanagana

 

Oluusi abaagalana nabo bambala engoye ezifaanagana okwongera okunyweza omukwano gwabwe.

Engoye zino zisinga kwambalwa ku bubaga n’embaga. Waliwo n’abazambala nga bagendako ‘awutu’ oba nga bagenda mu ssinzizo.

Ennyambala eno yasooka kwettanirwa mu Nigeria ng’omuzannyi w’Ebinigeria omututumufu Ini Edo ye yasooka okulabikako n’abalongo be nga bambadde ebitengi ebifaanagana.

muyimbi amatovu ne muwala we mu bifaananaganaOmuyimbi Namatovu ne muwala we mu bifaananagana

 

Wano mu Uganda bassereebu omuli Irene Namatovu ne bba Lutaaya, Ba Bobi Wine, Rema Namakula n’abalala balabiddwaako ne famire zaabwe nga bambadde ebifaanagana.

 obi ine ne mukyala we nga bali mu bifaanagana Bobi Wine ne mukyala we nga bali mu bifaanagana

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsimbi1 220x290

Kasirye Ggwanga alaze ekyapa ky’ettaka...

BRIG. Kasirye Ggwanga avuddeyo n’alaga ekyapa ky’ettaka eryavuddeko okwokya tulakita e Lubowa ku lw’e Ntebbe eyabadde...

Paba 220x290

Maama ayiiridde abaana be babiri...

OMUKAZI ayiiridde abaana be babiri amafuta n’abakumako omuliro ne batwalibwa mu ddwaaliro nga bataaawa, olwa bba...

Mangu1 220x290

Stecia agenze Mecca okusabira bba...

Stecia Mayanja owa Golden Band, y’omu ku Basiraamu, 800 abasitula leero ( Lwakusatu) okulamaga e Mecca ne Madiina...

Paba 220x290

KCCA efuumudde abatembeeyi ku nguudo...

KCCA etadde ekifuba ku babadde balejjesa ebyamaguzi ku nguudo n’okubitambuza mu kibuga wakati bonna n’ebagobako....

Pala 220x290

Museveni alamaze e Kiwamirembe...

PULEZIDENTI Yoweri Kaguta Museveni alamaze e Kiwamirembe ne yeetondera Abafaaza n’ababiikira b’ekigo ky’e Lweza...