TOP

Engeri gy’oyambala olugoye olumasamasa n’onyumira omukolo

By Musasi wa Bukedde

Added 13th March 2017

ENGOYE ezimasamasa ziruddewo. Zaacaaka nnyo mu myaka gya 1980, era Omugenzi Michael Jackson y’omu ku baazambalanga naddala ng’ali ku siteegi olwo n’alyoka assa abawagizi be ebimyanso, anti ng’ettaala bwe zirukubamu ne lweyongera okumasamasa.

Pala 703x422

Anita Fabiola ku mukolo ogumu ku Serena mu kiteeteeyi ekya bbulu ekimasamasa. Ku ddyo, Winnie Nwagi ng’ayambadde sikaati emasamasa ne ‘bra blouse’. Yali ku Space Lounge ku Jinja Road gye buvuddeko.

Engoye zino zikomyewo ensangi zino. Ziri mu langi zonna era nga zitungibwa mu misono egy’enjawulo. Waliwo ezikolebwa nga ziriko amayinja agamasamasa, mu byuma ne mu pulasitiika.

Zambalwa ku mikolo eminene okuli embaga ennene, obubaga, okucakala n’emikolo emirala.

Gloria Baguma ow’edduuka eritunda ebiteeteeyi bino mu Kampala agamba nti ebiteeteeyi bino ebweru mu kusooka byakolebwa nga byambalwa mu biseera bya nnaku enkulu naddala mu kumalako omwaka.

Agamba nti bw’oyambala olugoye luno tekikwetaagisa kwewunda nnyo. Okugeza tewali nsonga lwaki oyambalirako omukuufu, obukomo ne kalonda omulala.

Bw’oba waakwambalirako eby’oku matu teekako ebitono ddala kubanga era abakulaba amaaso gajja kubeera ku lugoye lw’oyambadde so si kintu kirala kyonna.

Buli lw’oteetonaatona nnyo kikuyamba obutayaka nnyo ekiyinza ate okukulabisa obulala. Obulago bw’olugoye luno bulina okubeera nga bwa waggulu nga kino atayagadde kwambaliramu mukuufu obeera osigala onyuma.

Agulina ng’oyambadde ekiteeteeyi ekirina ekitogi, okunyuma obulungi, olina okugwambalira ku ngulu w’ekiteeteeyi kino. Omukuufu ogusinga okunyumira ku lugoye luno gwegwo ogukoleddwa mu langi ya zaabu oba siriva era nga bino bisinga kugendera ku lugoye oluddugavu.

Agamba nti akasawo akatono(clutch)nga kamasamasa k’osobola okukwata ng’oyambadde olugoye nga luno. Oba osobola okukwatirako akasawo akatono nga kaddugavu ssinga obeera oyagadde obutayaka nnyo.

Bw’oba olwambadde mu budde bw’empewo, gamba nga mu sizoni eno ng’enkuba etera okutonnya, oyinza okwambalirako akakooti akamasamasa mu langi engendera ku kiteeteeyi ky’oba oyambadde.

ENDABIRIRA YAAZO:

Bw’oba oyoza olugoye luno, olina okwegendereza olwensonga nti bw’olwoza ennyo lumanyi okuvaako obumasamasa buno. Bw’oba osobola lwoze n’amazzi agabuguma era tolwambala nnyo okwewala okukaddiwa n’okwonooneka amangu.

ENGATTO Z’OYAMBALIRAKO:

Okusinziira ku mukutu ogwa www.shoe-tease. com, engatto ezambalwa ku biteeteeyi bino za njawulo nnyo ku ngoye endala.

Zino zirina okuba nga tezivuganya na lugoye mu kumasamasa, wabula nga bw’ozambala teziruboola oba okutta ekifaananyi ky’obeera oyagadde okuggyayo.

Engatto empanvu (boot) n’ezekisaazisaazi zisobola okunyumira ku lugoye luno wabula zino zambale ng’ogenda ku mukolo ogutali gwa maanyi okugeza ng’akabaga k’amazaalibwa oba okwewaamu.

Engatto ezisinga okunmyumirako ky’ekika kya ‘Pump’eziriko enkondo enzirugavu ezikoleddwa ez’ekika kya ‘Suede’.

Zino ezimu zibeera n’ebikoba ebikuyamba okunywera okwewala okuvaavaamu naddala eri abo abagenda ku mikolo gya ‘red carpet’.

Engoye zino zirina ebbeeyi ey’enjawulo okusinziira ku kika ky’oyagala, w’obeera oluguze wabula zigula okuva ku 30,000/- n’okudda waggulu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Yaga 220x290

Omusajja ayagala kunzigyako mwana...

NZE Uwineza Adiah nnina emyaka 26 nga mbeera Lubaga. Okuva lwe nafuna olubuto, baze yagaana okuddamu okundabirira...

Ssenga1 220x290

Nina bulwadde ki?

NINA emyaka 25 naye seegattangako na mukazi yenna kuba buli lwe ngezaako okwegatta nkoma ku mulyango ne njiwa....

Leka 220x290

Owapoliisi yesse lwa bwavu

OMUSERIKALE wa poliisi eyawummula, Robert Mugume asangiddwa nga yeetuze.

Kadi2 220x290

Kadaga awabudde ku bbula ly'emirimu...

SIPIIKA Rebecca Kadaga ategeezezza nti ebbula ly’emirimu mu bavubuka ky’ekimu ku bisinze bikwatagana butereevu...

Dhyljrxcaaw1zm 220x290

Museveni asisinkanye minisita wa...

MINISITA wa German ow’ensonga z’ebweru asisinkanye Pulezidenti Museveni n’asaba amawanga g’ebweru okuyamba Uganda...