TOP

Engeri meekaapu ne tekinologiya gye bikyusa endabika y’abakazi

By Musasi wa Bukedde

Added 24th June 2017

OMUSAJJA bw’akukwananga n’atandikira ku kya kukusaba kugenda ku bbiici muwuge oba ekidiba ekiwugirwamu, guma.

Mu1 703x422

Juliana ng'alina Makeup

Bya JOSEPHAT SSEGUYA NE MARTIN NDIJJO

OMUSAJJA bw’akukwananga n’atandikira ku kya kukusaba kugenda ku bbiici muwuge oba ekidiba ekiwugirwamu, guma.

Aba tayagala kukusobyako nandiki okulaba ku bwereere bwo wabula aba ayagala ‘meekaapu’ yenna gwe weekubye nga weewunda, asangukireko mu mazzi akulabe nga teweekyusizzakyusizza asalewo mangu.

Eno kati efuuse enkwana empya wadde ng’abalala baba na bigendererwa birala omuli okubeeyambulirako naye ng’ekigendererwa ekisinga eri abantu abanoonya ababeezi abokuwasa kwe kusalawo ng’asoose kukulabako.

 ulina nga talina makeup Julina nga talina makeup

 

Naye no munnange tobanenya nnyo, ggwe ate abakyala b’ennaku zino bangi ekintu bakitadde ku mutendera mulala, ogw’okwekolako ne beebyula n’olaba omuntu omweru ate nga si bwe kiri ggwe ate abalala baafuuse na ba pinki!

Mu bufunze omukazi w’ennaku zino bw’abeera omulungi nga si wa ‘meekaapu’, oyo aba mulungi ddala.

Ate no tebakyali ku kwewunda kwokka wabula singa omukyala akuweereza ekifaananyi n’akugamba nti bw’atyo bw’alabika, teweeyibaala nti onoomusanga maaso ku maaso n’omutegeera, nedda ssebo.

Waliwo tekinologiya eyaggyiddwaako engalo ng’atukuza ekifaananyi ky’omuntu mu lukuba lumu n’amuggyamu embalabe, obusundosundo, omuddugavu n’amunyungukamu ate omweru n’akirako omucootala.

rene amatovu nga teyeekozeeko ate ku ddyo ngawedde okuyooyootebwaIrene Namatovu nga teyeekozeeko, ate ku ddyo ng’awedde okuyooyootebwa.

 

Essimu ez’omulembe eza ‘smart phone’ ennaku zino nnyingi zikikola, kkamera ez’ebbeeyi era ky’ova olaba ng’osanga omukozi wa ttivvi ng’alabika bulungi okusinga bw’omulaba maaso ku maaso.

Abamu tekinologiya ono abazza na buto.

Bw’eba si kkamera, agenda mu situdiyo ez’omulembe mu Kampala ne bakola kye bayita ‘brushing’ oba okukiyisaako bulaasi ne kitemagana ne bamuggyamu awaakyama wonna n’olaba amata ag’e Kenya agatafa!

Abamu ku bakyasinze okwettanira enkola y’okwebyuma ne balabika bulungi okusukka bwe balabika be bayimbi abakyala.

Omuyimbi bw’alabika mu vidiyo y’oluyimba, aba ayawukana emirundi nga 90 ku 100 bw’alabika maaso ku maaso.

 ngella alule nga teyeekubye meekaapu ku kkono ate ku ddyo ngayaka Angella Kalule nga teyeekubye meekaapu (ku kkono), ate ku ddyo ng’ayaka

 

Ky’ova olaba nga kizibu nnyo oba tekisoboka, kukukkiriza omukube ekifaananyi nga teyeekozeeko ate ne bw’okikuba, tomuviira nga tasoose kukiraba akakase nti ekizigo kye oba kiyite ekiwaani nti kivuddeyo bulungi.

Leero tukuleetedde abamu ku bayimbi bwe babeera bafaanana nga tebanneekubako kizigo ne bwe baba balabika nga bamaze okukyekuba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mail 220x290

Muganda w’omubaka eyafa e Iganga...

ABAKYALA munaana be beesoweddeyo okuvuganya ku kifo ky’omubaka omukazi owa Iganga.

Nrmnabiserejenniferlynn 220x290

Aba NRM ababeera ebweru bakoze...

ABA NRM ababeera mu mawanga g’ebweru bakyusizza mu bakulembeze baabwe ne balonda ssentebe w’ettabi lyabwe e Misiri...

Unit 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO YAFULUMYE...

Mulindwa Muwonge alese ebiragiro 6 ebikakali ebitabudde abakungubazi n’abooluganda. Bato ba Zari boogedde ekisse...

Ziika9 220x290

Mulindwa Muwonge aziikiddwa wakati...

Mulindwa Muwonge aziikiddwa wakati mu biwoobe n'okwazirana okuva mu bannamwandu, abaana n'abooluganda.

Zika3 220x290

Nnyina wa Mulindwa Muwonge ayogedde:...

Nnyina wa Mulindwa Muwonge, Maria Namagembe akungubagidde mutabani we era akumye olumbe mu makaage agasangibwa...