TOP

Kozesa ssukaali n’omubisi gw’enjuki okuzigula olususu

By Ruth Nazziwa

Added 22nd July 2017

OKWEBAKA nga tosoose kunaaba meekaalu ku lususu oluusi kye kirwonoona.

Combo1 703x422

Omukugu ng’ayooyoota feesi ya kasitoma.

Bya RUTH NAZZIWA

OKWEBAKA nga tosoose kunaaba meekaalu ku lususu oluusi kye kirwonoona.

Luyinza okukalambala, okwatikayakika naddala ku mimwa, okuvaako evvu n’oluusi okubutuka.

Aida Namulwana omukugu mu kuwunda ffeesi z’abakyala okuva mu Paramour Cosmetics Ltd mu Kampala agamba nti osobola okubeerako ebintu by’otabula n’onaaba mu maaso okuggyamu meekaapu.

Agamba nti ssukaali bw’omugatta n’omubisi gw’enjuki bye bintu omuwala n’omukyala eyeesiiga meekaapu by’atasaanye kubulwa mu ffumbiro.

ENGERI GY’OBITABULAMU

Sena akagiiko ka ssukaali kamu n’akomubisi gw’enjuki kamu obitabule wamu mu kibatu kyo oba akabakuli akatonotono n’oluvannyuma weesiige mu maaso oba ku mimwa.

Masaaginga mpola mu maaso okutuusa bw’owulira ng’olususu luweweera oba ng’oluyinja lwa ssuukaali lukuweddemu era omubisi gw’enjuki guba gukwatidde mu maaso.

Oluvannyuma naabamu. Mu ngeri yemu, oyinza okunaaba meekaapu ng’okozesa woyiro w’ebinazi oba ‘olive oil’.

Ono muteeke mu kabakuli n’oluvannyuma omusiige mu maaso ng’okozesa ka ppamba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Yaga 220x290

Omusajja ayagala kunzigyako mwana...

NZE Uwineza Adiah nnina emyaka 26 nga mbeera Lubaga. Okuva lwe nafuna olubuto, baze yagaana okuddamu okundabirira...

Ssenga1 220x290

Nina bulwadde ki?

NINA emyaka 25 naye seegattangako na mukazi yenna kuba buli lwe ngezaako okwegatta nkoma ku mulyango ne njiwa....

Leka 220x290

Owapoliisi yesse lwa bwavu

OMUSERIKALE wa poliisi eyawummula, Robert Mugume asangiddwa nga yeetuze.

Kadi2 220x290

Kadaga awabudde ku bbula ly'emirimu...

SIPIIKA Rebecca Kadaga ategeezezza nti ebbula ly’emirimu mu bavubuka ky’ekimu ku bisinze bikwatagana butereevu...

Dhyljrxcaaw1zm 220x290

Museveni asisinkanye minisita wa...

MINISITA wa German ow’ensonga z’ebweru asisinkanye Pulezidenti Museveni n’asaba amawanga g’ebweru okuyamba Uganda...