TOP

Emize gy’abazimbi egiremesa abantu okuzimba ennyumba ne ziggwa

By Musasi wa Bukedde

Added 12th August 2017

Saudah Lukwaya omutuuze w’omu Kitunzi bwe yali azimba ennyumba ye alina abazimbi be yeesiganga n’abawa ssente okugula ebizimbisibwa.

Kasala 703x422

Yabeesiga nnyo nga takirowooza nti bayinza okumubala omufuulo n’okumukuba bbiiru esukka mu bye baabalirira era ennyumba yagenda okuggwa okukomerera nga ssente zaakozesezza nnyingi nnyo okusinziira ku ze yali asuubira.

Agamba nti bwe yatuuka okusereka baamusaba bbuliti nga 150 n’azibawa kyokka waayitawo ennaku ntono ne bamutegeeza nga bwe beetaagayo endala 100. Byamusobera n’atandika okubeekengera.

Yeebuuza ku mukwano gwe omuzimbi n’amutegeeza ng’ekika ky’akasolya k’ennyumba ye bwe keetaagisa bbuliti nga 80 zokka ng’era mu kubalirira ze yali alowooza.

Okuva olunaku olwo yakoma okwesiga abazimbi n’atandika okwekwatiramu n’okwegulira ebintu nga ne ku sayiti kuliko omuntu wange alondoola ebigenda mu maaso we nakizuulira nti abasajja baali banziba dda era kati nakendeeza ku nsaasaanya.

Emize gy’abazimbi egiremesa aba ntu okuzimba

l Okubba ebintu Abazimbi bw’obawa omulimu n’obawa omwagaanya okukola bye baagala nga tobalondoola oba okubateekako omuntu alaba ebigenda mu maaso, ojja kwesanga ng’ebintu ebisinga babibbye ekintu ekirinnyisa omuwendo gwa ssente gwe wali asuubira okukozesa. Ebintu bye babba mulimu seminti, embaawo, bbuliti, amabaati n’ebirala.

Kyokka mulimu n’ababba bbulooka n’omusenyu naddala abagugula mu bungi.

Balaba toliiwo nga battikako akamotoka nga bagutunda. Okwewala bino olina okubeerawo oba okufuna omuntu alondoola bye bazimba.

Balina enkola nti bw’obagwamu ng’omulimu bagusuulawo nga badduka ng’ate onoonya bakozi balala.

l Okugula ebintu ebitawera Abantu abasinga bwe baba batandika okuzimba basooka kufuna baffundi ne bababalira ebintu ebyetaagisa ne ssente. Bw’omuwa ssente okukuleetera ebintu bino, batikka ebitawera okugeza omusenyu, bbulooka, amayinja, emisumaali n’ebirala olw’ensonga nti si kyangu kubibala naddala nga bamaze okubiyiwa.

Bano bakwatagana ne bannannyini mmotoka n’abalombe ne batikka ebintu ebitawera ne babawa enjawulo.

Oluusi bakugamba ssente enkyamu nga loole y’omusenyu bw’eba ya 500,000/- bakugamba 700,000/-.

Abamu balina omuze gw’okubalirira ssente ennyingi ennyo basobole okuffissaako oba entono nga baagala okubawa emirimu kyokka ate bwe batuula mu makkati nga bakusaba ssente n’ebintu ebirala.

l Okugaba emirimu Ying. Fred JJuuko Wavamunno owa Jjuuko Consultants Uganda Limited agamba nti bangi ku bazimbi balina omuze gw’okukwata emirimu emingi ne bagigabira abazimbi abalala. Ate batera kunoonya abakolera ssente entono nga n’oluusi bye bakola tebabitegeera bulungi. Ono olw’okuba bamunyigirizza ng’ate omulimu tayagala kugufiirwa, yeesanga abbye ebizimbisibwa okubeerawo oba okukola gadibeng’alye n’okwanguyiriza okukendeeza ku nnaku z’alina okukolerawo.

l Okuyosayosa Jjuuko agamba nti abazimbi bangi basaba emirimu nga balina emirala era nga bbo babala kimu ssente. Bw’omala okuzimuwa ng’atandika okukutawaanya ng’ewuwo ayinza okukolayo ennaku bbiri n’abula n’agenda okukola awalala ate bwe wayitawo nga ssatu n’akomawo. Embeera eno ekulemesa okutuukiriza ekibalo kyo n’obudde okuwanvuwa n’oluusi okugwa mu sizoni y’enkuba gye wali weewala. Mu mbeera eno kyandibadde kirungi n’ofuna omuzimbi alina obuvunaanyizibwa.

l Okuwemula Kano kakodyo k’abazimbi akakusike ng’era batono abakategeera. Bano bwe balaba ng’obalemeddeko okubalondoola, bamanyi okuleeta ekiboozi ekirimu okuwemula n’okwesittaza n’obaviira. Balaba weemu ludde nga bakweka ebimu ku bintu bye bagenda nabyo olweggulo ne babitunda.

l Basaba okubongera ssente “Mukama awange omulimu guno nali nagubuusa amaaso naye gwa maanyi nnyo. Mpulira guntuddemu era njagala onyongereyo ku ssente”. Bino bye bimu ku bigambo bye batera okukozesa nga bayiiya amagezi obongereyo ssente. Kino kiva ku bayinginiya kusaba ssente ntono, okuleeta abakozi abatono oba ssente okuziggyayo ng’omulimu tonnaba kugukola. Okwewala embeera eno kyandibadde kirungi omuntu gw’owadde omulimu okumukozesa endagaano nga bw’agezaako okwefuula obeera osobola okumukuba mu mbuga z’amateeka.

l Okusuza emirimu Kino kyonoona ebizimbisibwa ng’omusenyu n’enkokoto entabule nga n’ebirala nga seminti, emisumaali babireka wabweru mu mpewo olw’obukoowu ekiviirako okufiirwa ssente eziwera. Ebivaako emize gino Vincent Katende owa Treasure Consults Investment and Contractors agamba nti ensonga nnyingi ezivaako obubbi buno ng’okukozesa abantu abatali batendeke. Bano tebalina kifo kya nkalakkalira w’oyinza kubasanga bwatyo bw’azza wano emisango ng’adduka agenda mu kitundu ekirala.

l Okusasulirawo Katende agamba nti abagagga balina omuze gw’okusasulirawo abazimbi ssente z’obukozi. Bangi olufuna ssente zino balowooza kumaliriza bizibu byabwe ne batuuka okukola emirimu gyo nga tebalina zigula bizimbisibwa n’okusasula abakozi.

l Okubawa ssente entono Abagagga balina emize gy’okunyigiriza abazimbi ku nsonga y’ebyensimbi nga muno mulimu okubawa ssente entono. Bafuna ebikemo ne batandika okukubba. Kyokka abamu balina engeri gye babazzaamu amaanyi nga babawa emmere, entambula n’ebirala. Bano buli lwe beesanga ng’omulimu gw’obawadde tekuli magoba gawera batandika okuyiiya engeri gye babbamu ebintu byo okufuna ssente.

l Okukwata emirimu emingi Omuzimbi bamuwa omulimu kyokka abeera alyayo ne bamuyitira omulimu omulala. Ggwe akwerabira n’agenda gye bamuwa ssente ennyingi ng’ate ne ze wamusasulako tazikuddizza. Kino kivaako emirimu okuzing’ama ate n’odda mu kunoonya muzimbi mulala. By’olina okukola okwewala okubbibwa

l Ying. Katende agamba ssinga okozesa kkampuni eyewandiisa ekuyamba mu buli kimu omuli okukubalira ebyetaagisa, okukuwa abakugu okuzimba ate kizibu okukubba nga batya erinnya lyabwe okufa. Bw’okwata omuzimbi ng’akubba, kkampuni ebeera erina okukusasula.

l Okulambula abazimbi Ying. Jjuuko akulabula nti omuzimbi bw’omuwa ebbeetu nga tomulambula kimuwa omukisa oba okukemebwa okutandika okubba ebizimbisibwa kuba abeera akimanyi nti tojja kumukwata. Wabula bw’omulambula ng’ogwabygwi afuna okutya nga tamanyi ssaawa ntuufu z’ogenderako okulambula sayiti.

l Okukolagana n’omuntu ali okumpi ne w’ozimba: Kiba kirungi n’okola omukwano ku bantu b’omu kitundu w’ozimba bw’oba tojja kubeerayo buli lunaku. Bano bakuyambako okukuwa olugambo abazimbi bwe baba bakubba.

l Okuteekawo omuntu gwe weesiga: Kibeera kirungi bw’obeera ozimba wadde tolina budde n’oteekawo omuntu gwe weesiga ng’alondoola abazimbi ate nga omwesiga tajja kukulyamu lukwe.

l Okwegulira ebintu: Omuntu bw’obeera ogenda okuzimba kibeera kirungi ne weetuukira ku dduuka gy’ogula ebintu ne kikuyambako okumanya ebbeeyi n’okubalirira ssente z’osaasaanya. Bw’otuma bajja kukubako enjawulo.

l Okubaaza nga bagenda: Ying. Jjuuko akuwa amagezi gwe azimba okwazanga abazimbi nga baddayo awaka buli lwaggulo n’ekitundu ekiriraanyewo si kulwa nga waliwo ebintu bye bakwese mu nsiko.

l Gw’owadde omulimu bwagugaba mugobe: Bangi bapatana emirimu kyokka ogenda okulambula sayiti osangayo bantu balala. Kino kikyamu era bw’oyitayo emirundi egisukka mu esatu nga tomulabako muyimirize ofune abapya.

l Musasuleko kitundu: Jjuuko agamba nti bw’oba olina gw’owadde omulimu si kirungi kumusasula ssente zonna. Muweeko ekitundu oba n’ogenda ng’obongera okusinziira ku nkola yaabwe. Ofuna otya omuzimbi omulungi

l Kozesa alina obumanyirivu: Jjuuko agamba nti bw’oba ozimba wandibadde onoonya omuntu alina obumanyirivu nga bw’aba asobola akulambuze ku mirimu gyakoze oba okubuuza baakoleddeko. Yawadde ekyokulabirako nti ensereka zirimu ebika bingi nga bayinza okukutendera omuseresi wa mwamba n’omuleeta ku nnyumba ya kyuyi kimu gy’atalinaako bumanyirivu bulungi n’agitta.

l Kozesa kkampuni: Wadde kkampuni zino ziseera, Katende agamba nti ziswala oba zitya okwonoona erinnya lyazo. Ate zikubuulira ssente entuufu z’ogenda okukozesa ng’ozimba. Zibeera n’abazimbi abalungi.

OMUZIMBI AYOGEDDE

Frank Mwesigwa: Nze mmaze mu buzimbi emyaka 10 naye sibufunyemu buzibu kuba abagagga be nkolera nkolagana nabo bulungi.

Naye waliwo omugagga akuwa omulimu nakusasulako ekitundu ate nalwawo okusasula ssente ezisigaddeyo ng’ate naawe olina ebyetaago. Kino kinyiiza era kyova olaba ng’abamu bababba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Yaga 220x290

Omusajja ayagala kunzigyako mwana...

NZE Uwineza Adiah nnina emyaka 26 nga mbeera Lubaga. Okuva lwe nafuna olubuto, baze yagaana okuddamu okundabirira...

Ssenga1 220x290

Nina bulwadde ki?

NINA emyaka 25 naye seegattangako na mukazi yenna kuba buli lwe ngezaako okwegatta nkoma ku mulyango ne njiwa....

Leka 220x290

Owapoliisi yesse lwa bwavu

OMUSERIKALE wa poliisi eyawummula, Robert Mugume asangiddwa nga yeetuze.

Kadi2 220x290

Kadaga awabudde ku bbula ly'emirimu...

SIPIIKA Rebecca Kadaga ategeezezza nti ebbula ly’emirimu mu bavubuka ky’ekimu ku bisinze bikwatagana butereevu...

Dhyljrxcaaw1zm 220x290

Museveni asisinkanye minisita wa...

MINISITA wa German ow’ensonga z’ebweru asisinkanye Pulezidenti Museveni n’asaba amawanga g’ebweru okuyamba Uganda...