TOP

Jennifer Lopez ayambadde emisono lubalala

By Musasi wa Bukedde

Added 30th April 2017

OMUYIMBI Jennifer Lopez ayambadde ebiteeteeyi ebiraga nga bwe yazaalibwa, nga munda tataddeemu wadde akawale oba akaleega.

Jeni1 703x422

Jennifer Lopez mu kiteeteeyi ekiddugavu ekiraga omubiri. Jennifer Lopez mu kiteeteeyi kye yayimbiddemu ku mukolo gwa Billboard Latin Music Awards, era yawangudde engule bbiri.

Yabadde ku mukolo gwa Billboard Latin Music Awards mu kibuga Florida ekya Amerika ku Lwokuna ekiro.

Ebiteeteeyi bino ng’ekimu kiddugavu ate ekirala kya kitaka ow’amazzi yabyambadde ku mukolo guno, era abaabaddewo baasigadde bamunyeenyeza mutwe.

Guno si gwe gusoose nnakyala ono okwambala engoye eziraga ebitundu by’omubiri gwe bye wandiyise eby’ensonyi.

Yatandika mu 2000 bwe yayambala ekiteeteeyi ekitangaala bwe yali ku mukolo gwa Grammys Awards.

Wadde nnakyala ono akunukkiriza okuweza emyaka 50 (alina 47), omubiri gwe oyinza okugugeraageranya ku gw’omuwala omuto, era bwe yasuddeemu engoye zino bakira abamulaba tebaagala kumuggyako maaso.

Ekiteeteeyi ekiddugavu kye yasoose okwambala kyabadde kiraga amabeere we gaawulira, mu kiwato ne hipusi nga byonna biri bweru.

Ate mu maaso lwabaddeko siriiti empanvu ddala okukoma ebisambi we bitandikira.

Kuno yakwatiddeko akasawo akaddugavu n’engatto ey’akakondo akawanvu ddala ng’eraga obugere bw’omu maaso mu langi enzirugavu, n’alyoka akaga.

Enviiri ze empanvu ze yabadde akwatidde emabega nga zikoona ku kabina zaayongedde okunyumisa bye yabadde ayambadde.

Eby’oku matu ebyabadde birengejjamu akano nabyo byagendedde bulungi ku bye yayambadde wamma n’abeera wanjawulo ku balala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

No Matching Document

Emboozi endala

Mail 220x290

Muganda w’omubaka eyafa e Iganga...

ABAKYALA munaana be beesoweddeyo okuvuganya ku kifo ky’omubaka omukazi owa Iganga.

Nrmnabiserejenniferlynn 220x290

Aba NRM ababeera ebweru bakoze...

ABA NRM ababeera mu mawanga g’ebweru bakyusizza mu bakulembeze baabwe ne balonda ssentebe w’ettabi lyabwe e Misiri...

Unit 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO YAFULUMYE...

Mulindwa Muwonge alese ebiragiro 6 ebikakali ebitabudde abakungubazi n’abooluganda. Bato ba Zari boogedde ekisse...

Ziika9 220x290

Mulindwa Muwonge aziikiddwa wakati...

Mulindwa Muwonge aziikiddwa wakati mu biwoobe n'okwazirana okuva mu bannamwandu, abaana n'abooluganda.

Zika3 220x290

Nnyina wa Mulindwa Muwonge ayogedde:...

Nnyina wa Mulindwa Muwonge, Maria Namagembe akungubagidde mutabani we era akumye olumbe mu makaage agasangibwa...