TOP

Engeri gy’oyambala olugoye olw'amayinja n’onyuma

By Musasi wa Bukedde

Added 1st July 2017

AMAYINJA kye kimu ku bisinga okulabisa obulungi ebiteeteeyi naddala ebyobubaga n’embaga. Eno y’ensonga lwaki abakyala bangi bwe baba balonda ebiteeteeyi by’emikolo balonda ebiriko amayinja.

Mayinja1 703x422

Ebiteteeyi eby'amayinja

Bya ALI KIZZA NE FORTUNATE NAGAWA

AMAYINJA kye kimu ku bisinga okulabisa obulungi ebiteeteeyi naddala ebyobubaga n’embaga.

Eno y’ensonga lwaki abakyala bangi bwe baba balonda ebiteeteeyi by’emikolo balonda ebiriko amayinja.

Wabula amayinja gano waliwo lwe gayinza okutta ennyambala yo ssinga oba teweegenderezza.

Ssanyu Katende omutunzi w’engoye z’abakyala ez’emikolo mu Kampala agamba nti omulembe oguliko gwa mayinja ag’ekigero, kubanga amayinja amangi gagenze gadibizibwa.

 kimu ku biteeteeyi byamayinja ebyayoleseddwa mu mwoleso gwa ride nd room e ugogo ku wiikendi uno omugole asobola okulukyusizaamu Ekimu ku biteeteeyi by’amayinja ebyayoleseddwa mu mwoleso gwa ‘Bride And Groom e Lugogo ku wiikendi. Luno omugole asobola okulukyusizaamu.

 

EBIKA BY’AMAYINJA

Gasinga kuba mu bika bya mirundi ebiri okuli agakolebwa mu kika kya zaabu n’aga feeza.

Engoye ezimu zijja nga ntungireko amayinja ate endala ne gatungibwako n’engalo nga kino bakikola okusinziira ku muntu bw’ayagala.

Wabula amayinja agasinga okuba amalungi geego agaba gajjidde ku ngoye kuba gaba gatungiddwa nga gateredde bulungi okusinziira ku dizayini gye baba baagala okuteeka ku lugoye olwo, kyokka amakookereko ebiseera ebisinga gatera okutuuka ekiseera ne gavaayo olwo dizayini n’efa naddala agaba gatungiddwa ne wuzi era gano gatuuka ekiseera ne galebera.

Waliwo agasibwa ne gaamu. Ono bwaba akozeseddwa akwatira ddala era asinga ku wuzi kuba tatera kulagaya.

BYOLINA OKUGENDERERA

Abagole be batera okwettanira engoye z’amayinja wabula amayinja g’osaanye okusinga okugenderera geego ag’oku gomesi.

Olwokuba gomesi ezisinga okwambalwa abagole zitera kuba mu langi ezaaka ssinga okola ensobi n’olonda olugoye lw’amayinja amangi kiyinza okuyitirira n’otonyuma.

Wabula ebiteeteeyi eby’okukyusizaamu, binyuma mu mayinja amatono mu sayizi ate mu langi enjeru.

 omesi yamayinja amangi agakuba ebimyanso oluusi gatta ebifaananyi Gomesi y’amayinja amangi agakuba ebimyanso oluusi gatta ebifaananyi.

 

Ekimu ku bibi ebiri mu kwambala engoye ez’amayinja amangi naddala ng’ojja kwekubya ebifaananyi mu ngoye ezo bye bimyanso bye gakola ne bitta ebifaananyi.

Ekirala, bw’oyambala amayinja tossaako majolobera ga maanyi ojja kuyitirira oleme kunyuma.

Ezimu ku ngoye ezinyuma ennyo ate nga za mayinja ze ngoye z’Ekiyindi kuba zibaako amayinja nga matono mu sayizi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mail 220x290

Muganda w’omubaka eyafa e Iganga...

ABAKYALA munaana be beesoweddeyo okuvuganya ku kifo ky’omubaka omukazi owa Iganga.

Nrmnabiserejenniferlynn 220x290

Aba NRM ababeera ebweru bakoze...

ABA NRM ababeera mu mawanga g’ebweru bakyusizza mu bakulembeze baabwe ne balonda ssentebe w’ettabi lyabwe e Misiri...

Unit 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO YAFULUMYE...

Mulindwa Muwonge alese ebiragiro 6 ebikakali ebitabudde abakungubazi n’abooluganda. Bato ba Zari boogedde ekisse...

Ziika9 220x290

Mulindwa Muwonge aziikiddwa wakati...

Mulindwa Muwonge aziikiddwa wakati mu biwoobe n'okwazirana okuva mu bannamwandu, abaana n'abooluganda.

Zika3 220x290

Nnyina wa Mulindwa Muwonge ayogedde:...

Nnyina wa Mulindwa Muwonge, Maria Namagembe akungubagidde mutabani we era akumye olumbe mu makaage agasangibwa...