TOP

Ensiiga ya langi ebbiri ku mimwa y’eriwo

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd July 2017

ABAKYALA n’abawala abamanyi ebiriwo ennaku zino tebakyesiiga langi ya lipusitiiki emu.

Lippies 703x422

Emimwa egisiigiddwa langi ebbiri, kakobe ne ppinka.

ABAKYALA n’abawala abamanyi ebiriwo ennaku zino tebakyesiiga langi ya lipusitiiki emu.

Beesiiga bbiri oba ssatu, okusinziira ku ngeri gy’aba azitobeseemu. Jordana Kongai omukugu mu kuwunda ffeesi z’abakyala ng’akolera mu Kampala agamba nti buli mukyala atambula n’omulembe yandibadde ayiga okusiiga emimwa ng’akozesa langi za liipusitiiki bbiri ekiyitibwa ‘Ombre lips’ .

Osobola okukozesa langi bbiri n’okweyongerayo ng’ozikwataganyizza bulungi. Bw’oba waakukikola, kakasa nti langi z’okozesezza buli emu eyingira mu ginnewaayo bulungi okusobola okukwatagana n’onyuma.

Bw’oba okozesa omusono guno, sooka osiigeko ku bizigo gisobole okuweweera.

Oluvannyuma, kozesa langi enkwafu okusiiga ku mabbali g’omumwa n’oluvannyuma ofune langi etali nkwafu gy’oba osiiga mu makkati g’omumwa.

Omusono guno teguboola ba mimwa minene na mitono, wabula guyambako okuwumba emimwa eminene.

Osobola okwesiiga buli lunaku ng’ogenda ku mulimu, ku mikolo ne bw’oba ogendako mu bifo ebisanyukirwamu era ojja kulabika bulungi.

Ezimu ku langi enkwafu mulimu maluuni, kitaka, kakobe, kikuusikuusi n’endala ate langi ezaaka mulimu ppinka, emmyufu n’endala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Leka 220x290

Owapoliisi yesse lwa bwavu

OMUSERIKALE wa poliisi eyawummula, Robert Mugume asangiddwa nga yeetuze.

Kadi2 220x290

Kadaga awabudde ku bbula ly'emirimu...

SIPIIKA Rebecca Kadaga ategeezezza nti ebbula ly’emirimu mu bavubuka ky’ekimu ku bisinze bikwatagana butereevu...

Dhyljrxcaaw1zm 220x290

Museveni asisinkanye minisita wa...

MINISITA wa German ow’ensonga z’ebweru asisinkanye Pulezidenti Museveni n’asaba amawanga g’ebweru okuyamba Uganda...

Speaker703422 220x290

Kadaga ayambalidde Gavt' ku kwonoona...

SIPIIKA Rebecca Kadaga ayambalidde minisitule y’obutonde bw’ensi n’alumiriza nti tekoze kimala kussaawo kaweefube...

Gaana703422 220x290

Mutebile yeerwanyeeko ku kuggalawo...

GAVANA wa bbanka Enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti ssi kituufu nti Bank of Uganda yayanguyiriza okweddiza Crane...