TOP

Engeri amasannyalaze agongezeddwa gye gakosezza bizinensi

By Herbert Musoke

Added 11th January 2017

Bbeeyi y’amasannyalaze yalinnyisiddwa okuva nga January, 01, 2017. ERA egamba nti bbeeyi erinnya olw’okupaala kwa doola.

Power1 703x422

Kir abira akozesa maasannyalaze okukuba emmere y’enkoko ze.

Bya HERBERT MUSOKE

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku kugereka ebisale by’amasannyalaze mu Uganda ekya Electricity Regulatory Authority (ERA) kyayongezza bbeeyi y’amasannyalaze okuviira ddala ku gakozesebwa mu maka okutuuka ku g’amakolero ebitundu 11 ku 100.

Bbeeyi y’amasannyalaze yalinnyisiddwa okuva nga January, 01, 2017. ERA egamba nti bbeeyi erinnya olw’okupaala kwa doola.

Bagamba nti mu September, 2016 kyali kibeetaagisa 3,375.45/- okufuna doola emu kyokka we gwatuukira November, nga kyetaagisa 3,630.22 okufuna doola emu. Bano bagamba nti ebintu ebisinga ebikozesebwa omuli tulansifooma, kkebo, n’amafuta ga dizero bigulibwa mu ddoola.

Okusinziira ku miwendo emiggya, abamasannyalaze g’awaka n’obuduuka obutono baakusasula 696.9/- okuva ku 623.6 buli yuniti okutandikira ku yuniti eya 16 nga 15 ezisooka zaasigaddeyo ku 150/-.

 ba suubula obuwunga bakaaba lwa masannyalaze Aba suubula obuwunga bakaaba lwa masannyalaze.

 

Emiwendo emiggya gigenda kusasulwa bakasitoma ba UMEME 900,000 ate ng’abo abafuna amasannyalaze okuva ku kkampuni endala omusanvu tebakwatibwako miwendo gino.

Okusinziira ku miwendo emiggya, KCCA etwala ekibuga Kampala, ebibuga ebirala ne munisipaali, byayongezeddwa ssente z’okwakisa amataala g’oku nguudo okuva ku 606.2/- okutuuka ku 679.7/- buli yuniti.

Loodi Meeya wa Kampala Erias Lukwago yagambye nti kino kyakwongera okukalubya enzirukanya y’emirimu mu Kampala mu mbeera y’ebyensimbi eriwo nga n’embalirira yasaliddwa okuva ku buwumbi 563 n’edda ku buwumbi 314.

“Amasannyalaze ge tukozesa ng’ebibuga tubeera tulina okuyambibwako Gavumenti ng’etusasulirako ekitundu kubanga gabeera mangi nga bwe tugamba okugeesasulira tuyinza okumaliriza nga tetulina birala bye tukoze”, Loodi meeya Lukwago bw’agamba.

Abalala abakola emirimu gya ssente omuli abookya ebyuma, abakuba amazzi n’abalala baayongezeddwaako 63/- ku ze babadde basasula wakati w’essaawa 12:00 ez’oku makya okutuuka ku 12:00 ez’akawungeezi.

Mu ngeri y’emu abalina ebyuma ebitonotono ebikozesa amasannyalaze okutuuka ku 500 KVA baayongezeddwa 575.1/- okuva ku 523/- ze babadde basasula.

Ssentebe wa kkampuni ezikuba obuwunga mu Kisenyi abeegattira mu kibiina kya Kisenyi Millers Association, Hajji Badru Kaweesa agamba nti embeera eno eringa egenderera okubagoba mu bizinensi.

 m usuubuzi ngakuba emmere yenkoko Om usuubuzi ng’akuba emmere y’enkoko

 

“Tugenda kuva mu buzinensi kubanga tubadde tukaaba nga tebannayongeza kati bwe babeera nga bongezza kitegeeza nti embeera egenda kwongera kukaluba n’ekiddako kuva mu bizinensi kubanga tujja kuba nga tetukyasobola kuddukanya bizinensi zaffe,” Hajji Kaweesa bw’agamba.

Ye ssentebe w’abeebyuma ebikuba kasooli mu Lubaga, Richard Sserwadda agamba nti okwongezebwa kw’amasanyalaze kuno kutegeeza nti gavumenti si nnesimbu ne by’eyogera nti egenda kukendeeza bbeeyi y’amasannyalaze.

“Pulezidenti Museveni bulijjo asiiba ategeeza nga Gavumenti bw’engenda okusala ku bbeeyi y’amasannyalaze kyokka kyewuunyisa nti buli lukya tulaba gapaazibwa bbeeyi.

Kino kigenda kulinnyisa bbeeyi y’ebyamaguzi ne kampeyini ya ‘Gula Uganda, zimba Uganda egwe butaka”, Sserwadda bw’agamba.

Abamakolero amanene abakozesa amasannyalaze wakati wa 500 KVA ne 1,500KVA, baayongezeddwa okuva ku 347.2/- okutuuka ku 383.5/- buli yuniti wakati w’essaawa 12:00 ez’oku makya ne 12:00 ez’akawungezi kyokka nga bulijjo abamakolero babadde balwana n’okusaba amasannyalaze gasalibwe okutuuka ku 178.1/-.

Ssebaggala Kigozi akulira ekibiina ekigatta bannamakolero mu ggwanga ekya Uganda Manufacturers’ Association (UMA) yagambye nti okwongeza amasannyalaze kuno kwakukosa ebyenfuna byonna okutwaliza awamu kubanga ebbeeyi ebeera ya kulinnyisibwa.

“Wabula ffe nga bannamakolero tumaze ebbanga nga twogerezeganya ne Gavumenti n’ekitongole kya UMEME okulaba nga tuweebwa amasannyalaze ku bbeeyi entonotono”, Ssebaggala bw’agamba.

Agamba nti bagenda kubeera n’olukiiko okusisinkana abakwatibwako ku by’amasannyalaze okulaba engeri gye bayambibwako okukendeeza bbeeyi yaago kubanga buli lw’ebeera waggulu kitta bizinensi.

Ssentebe w’ekibiina ky’abasuubuzi mu Kampala ekya KACITA, Everest Kayondo agamba nti Gavumenti yakola bubi okweggyako obuvunaanyizibwa bw’amasannyalaze kubanga yandibadde terina kusooka kukuba maviivi ku ttaka obutayongeza masannyalaze.

 harles wanga ngalaga invata ezikekkereza amasannyalaze Charles Lwanga ng’alaga Yinvata ezikekkereza amasannyalaze.

 

Agamba nti waliwo ebintu eby’enkizo mu bulamu n’enzirukanya y’emirimu n’obulamu bw’abantu obwa bulijjo nga Gavumenti y’erina okubiddukanya ng’amazzi, amasannyalaze, bbanka n’ebirala kubanga buli lw’obirekera abantu, abalina endowooza za bizinensi bo banoonya magoba.

“Embeera eno egenda kwongera okukalubya ebyobusuubuzi mu ggwanga kubanga bbeeyi y’ebikolebwa egenda kwongera okupaala kwa masannyalaze,” Kayondo bw’agamba.

Ayongerako nti kino era kyakukosa ennyingiza ya Uganda okuva mu kusuubulagana n’amawanga amalala naddala mu mukago gw’amawanga g’obuvanjuba bwa Afrika kubanga Kenya erina amasannyalaze ga Geothermal agali ku bbeeyi entono, Ethiopia nayo ezimbye agaayo ku bbeeyi entono, ekitegeeza nti bagenda kukolera ku bbeeyi ya wansi okusinga Uganda n’ebyamaguzi byabwe bibeera bya bbeeyi ya wansi tumalirize nga tufuuse katale ka bannaffe!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mazzi1 220x290

Omukozi atuuse okwezza omwami wo...

Ky‛olina okumanya, abaana abo be muleeta ng‛abakozi abamu babeera n‛ebigendererwa eby‛okufumbirwa naye ng‛abasajja...

Liz1 220x290

Abanoonya; Njagala musajja Muzungu...

Obutabeera na musajja kye kisinze okumalako emirembe

Baagalana1 220x290

Munno muyambeko ku mirimu gy’awaka...

Omulundi oguwedde nnabalaga nga bwe mwesuuliddeyo ogwannaggamba ku buvunaanyizibwa bwammwe.

Ova1 220x290

Okulwawo okwegatta kigumbawaza...

Baazudde nti buli musajja bw’alwawo okwegatta waliwo embeera y’omubiri mu kisawo ekitereka enkwaso ze gye kizaala...

Ho1 220x290

Omubaka Ssempala akyalimu endasi......

Omubaka Ssempala akyalimu endasi...