TOP

Nfuna obukadde 3 omwezi lwa kwongera mutindo ku butiko

By Musasi wa Bukedde

Added 8th March 2017

Atwiine atunda obutiko okutandikira ku baliraanwa be, mu maduuka amanene, ebweru w’eggwanga naddala Bungereza nga bakasitoma be eno baamulabira ku ttiivi ya Al-Jazeera nga balaga abantu abongedde omutindo ku butiko.

Atwine1 703x422

atwiine ng’alaga ddulaaya mw’akaliza obutiko.

Bya CHRISTINE NAMUBIRU

ABAKYALA gye bakomye okunyigirizibwa mu mbeera ez’enjawulo gye bakomye n’okufuna amaanyi agakola era beenyigidde mu mirimu mingi egibatuusizza ku buwanguzi.

Nga tukuza olunaku lw’abakyala, tukuleetedde abamu ku bakyala abaliko bye bakola okwekulaakulanya n’amaka gaabwe.

Abalala baliko bye bakoledde ebitundu mu ngeri ez’enjawulo n’abandi ne balaga engeri gye balinnye amadaala okutuuka mu bifo eby’obuvunaanyizibwa mu buweereza bw’eggwanga.

Omu ku bakyala abaliko bye bakoze ye Lt. Night Atwiine, omutuuze w’e Kanyanya nga mulimi wa butiko era abunoonyerezzaako naddala ku ngeri y’okubwongerako omutindo.

Alaga by’akola mu butiko n’afuna ssente.

EBIZIGO NE SABBUUNI

Akola ebizigo ne sabbuuni ebirongoosa olususu n’okugoba endwadde naddala mu baana. Obuugi

Akola obuwunga bw’obuugi obw’abantu abakulu n’abaana obuzimba omubiri.

Ensaano y’obutiko Ensaano y’obutiko ekolebwamu osobola okuginywera ku caayi oba ku mazzi agookya.

Sirapu Mu butiko tukolamu sirapu eziyamba okuwonya ebifuba by’abaana n’abantu abakulu.

Omubisi Muvaamu n’omubisi oguwooma ate nga gulimu akawoowo. Lt. Atwiine agamba nti, ebintu bingi ebikolebwa mu butiko by’akolako okunoonyereza alabe nga nabyo abikola.

Amanda

Ebirimiro by’obutiko abikolamu amanda agafumba.

 atwiine ngalaga ebimu ku bintu byakola mu butiko atwiine ng’alaga ebimu ku bintu by’akola mu butiko.

 

AKOLAGANA NE YUNIVASITE

Okusobola okukola bino, Lt. Atwiine akolagana n’aba yunivasite y’e Makerere abanoonyereza ku mmere n’ebitongole ebirala eby’obwannakyewa okusobola okukakasa ebyo byonna by’abeera anoonyerezzaako.

Ekikulu mu kufuna mu butiko ng’oyongerako omutindo olina okumanya ekika ky’olimye ne ky’oyagala okukolamu.

Ekirala, obutiko bwetaaga okwegendereza mu kiseera ky’amakungula obutayonooneka.

Osobola okubukuumira awannyogovu nga mu firiigi. Oyinza okukozesa dulaaya (Tunnel dryer) ng’eno ekolera ku musana osobola okugikyusa n’ogikozesa ne ku muliro.

Eno dulaaya bw’ogenda e Katwe osobola okugifuna okuva ku 2,500,000/- ng’ebbeeyi ebeera ya kutegeeragana.

Eno eteekwa okubeerako oluveera olukwata amaanyi g’enjuba era nga lwe lutwala ssente ennyingi.

Omusana nga bwe gubadde gwaka, dulaaya bw’ogiteekamu obutiko ku ssaawa ssatu ez’oku makya ku 10 ez’akawungeezi buba bukaze.

Dulaaya eno ekuyamba okukaza obutiko bwo awatali kutuukibwako musana butereevu ate n’okukuuma obuyonjo ekitali ekyo bumyuka n’okuvunda n’ofiirwa.

Lt. Atwiine agamba nti, okuva lwe yawummula amagye teyejjusa kuba ayize ebintu bingi ate n’ayamba okusomesa abantu abalala okwetandikirawo emirimu.

Okulima obutiko yakutandika ng’asaaga mu 2007 ng’alima bwa kulya n’okutundako ekitono.

Annyonnyola nti ssinga obutiko obukaza bulungi n’obutereka mu kifo ekitaweweera, busobola okuwangaala okumala emyaka etaano.

Wabula okupakira obutiko kisinziira ku gy’ogenda okubutunda ne gw’ogenda okubuguza.

Waliwo ababutunda ebweru w’eggwanga era wano olina okubeera omwegendereza mu ngeri gy’obupakira.

Waliwo akaveera omupakirwa obutiko obugenda ebweru nga kano tekatta butiko era nga busobola okumalamu omwaka.

Buno daziini ebeera ya 62,000/- nga zibeera gulaamu 700.

Akatale

Atwiine atunda obutiko okutandikira ku baliraanwa be, mu maduuka amanene, ebweru w’eggwanga naddala Bungereza nga bakasitoma be eno baamulabira ku ttiivi ya Al-Jazeera nga balaga abantu abongedde omutindo ku butiko.

Bano abaweereza buli wiiki obutiko obukalu n’obubisi, kyokka baabuweereza tabamanyi naye tebamumanyi naye bamusasula bulungi.

Abalala b’agabira obutiko kuliko ab’eddwaaliro ly’e Nakasero n’eggye lya UPDF.

By’afunye mu kwongera omutindo ku butiko

  • Akoze ekkolero ettonotono, kuba alima obutiko, okubukaza n’okubusiba.
  • Busomesezza abaana be.
  • Ayambye abantu okwetandikirawo emirimu ne balinnyisa ebyenfuna mu maka gaabwe. Ayongerako nti, wadde obutiko tebuliimu nsimbi za nkalakkalira, ye amanyi nti buli mwezi ajja kufunayo ssente.
  • Waliwo lw’afuna obukadde obusoba mu busatu ng’ataddemu emitwalo ng’ataano, olwo n’asigala mu magoba ga bukadde nga bubiri ng’asasudde emisoso gyonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mazzi1 220x290

Omukozi atuuse okwezza omwami wo...

Ky‛olina okumanya, abaana abo be muleeta ng‛abakozi abamu babeera n‛ebigendererwa eby‛okufumbirwa naye ng‛abasajja...

Liz1 220x290

Abanoonya; Njagala musajja Muzungu...

Obutabeera na musajja kye kisinze okumalako emirembe

Baagalana1 220x290

Munno muyambeko ku mirimu gy’awaka...

Omulundi oguwedde nnabalaga nga bwe mwesuuliddeyo ogwannaggamba ku buvunaanyizibwa bwammwe.

Ova1 220x290

Okulwawo okwegatta kigumbawaza...

Baazudde nti buli musajja bw’alwawo okwegatta waliwo embeera y’omubiri mu kisawo ekitereka enkwaso ze gye kizaala...

Ho1 220x290

Omubaka Ssempala akyalimu endasi......

Omubaka Ssempala akyalimu endasi...