TOP

Bizinensi ezitaweza 1,000,000/- z’okola n’obaawo

By Musasi wa Bukedde

Added 29th March 2017

ABANTU bangi baagala okutandika bizinensi kyokka nga beekwasa obutaba na kapito amala.

Biz1 703x422

Muganza atunda byamasannyalaze e Kamuli.

Bya OLIVE LWANGA, AMON MUKASA, ERIC KASIRYE NE TOM GWEBAYANGA

ABANTU bangi baagala okutandika bizinensi kyokka nga beekwasa obutaba na kapito amala.

Kyokka abalala batandika ne ssente entono ne bakola bizinensi ate ne zikula.

Sarah Kirabo ow’e Makindye yatandika ne 30,000/- naye kati alina kapito wa 500,000/-.

Alaga bw’akoze bizinensi eno: “Natandika okufumba caayi nga nnina kapito wa 30,000/- ne fulasika emu.

Okutandika okukola omulimu guno nasooka kugenda ku kyeyo, wabula okugenda okudda nga gwe naweerezanga ssente yazirya zonna.

  irabo ngatabula caayi wa kasitoma wakolera K irabo ng’atabula caayi wa kasitoma w’akolera.

 

Mu kifo ky’okwetuga n’okwekubagiza namanya nti nnina kutandika kukola mbeerewo.

Nga sinnagenda bweru natundako ebibala ku ofiisi za minisitule y’ensonga ezoomunda ne ku z’akakiiko k’ebyokulonda gye bangoba nga mukama wange agenze ebweru.

Nakolako obwayaaya e Bbunga mu Bazungu okumala emyezi musanvu ne nvaayo, ne nzirayo okusoma ne bigaana.

Nagendako e South Sudan ne nkola emyaka mitono ate ne ngenda Oman. Wano wonna nga nduubirira kukola kirabo kya mmere nga bizinensi yange.

Nagula ebintu nga ndi ku kyeyo nga bwe mpeereza okutuuka lwe nabimalayo ne nkomawo ntandike okukola.

Wabula ntuuka wano nga mukwano gwange bye naweereza byonna yabitunda kyokka nga ne ssente ze najja nazo zimpeddeko.

Najulirira okwetta kyokka nga ndaba tekijja kunnyamba ne nsalawo okutandika buto okukola.

Nafuna omulimu gw’okutunda ekikomando nga bampa 5,000/- olunaku nga kuno kwe nsasula enju ya 70,000/-.

Olumu mukwano gwange omu yansanga n’ambuuza nze omuyimbi kye nali nkola mu capati.

Abantu baatandika okumpita sereebu ne mukama wange n’atandika okukyusa embeera ze era omulimu ne nguleka.

Nga bikyansobedde nalowooza ku ky’okufumba caayi era nakwata fulasika yange ne 30,000/- ze nalinawo ne ntandika okutunda caayi. Nakola mangu ssente era buli wiiki nagulangayo fulasika emu.

Kati emyaka ebiri nga nkola era natandika okusiika ebindaazi ne capati byonna bye ntundira ku caayi. Nafunayo abavubuka babiri be nsasula 7,000/- buli omu buli lunaku.

ENKOLA YANGE MU LUNAKU

Nzuukuka ku ssaawa 10:30 ne nfumba caayi n’okusiika capati n’ebindaazi.

Zigenda okuwera ssaawa 2:00 nga tutuuse ku mulimu. Kati nnina fulasika 15 ez’ebikopo musanvu nga nfumba amata n’obusera.

Ebintu byange mbituusiza ku Kira House we tuva okuweereza bakasitoma abatwetaaga mu bizimbe ebyetooloddewo. Mu kiseera kino ndi mu kapito wa 500,000/-.

Ekikopo ky’amata nkitunda 1,500/-, obusera 1,000/-, capati 500/-, donati 500/- n’obugaati 500/-.

Ebintu nga ssukaali mbigulira mu kasawo era nga kamalawo wiiki bbiri. Butto ngula kidomola kye nkozesa omwezi, amanda ngula nsawo ekola wiiki ssatu.

Olunaku nsobola okukola wakati wa 70,000/- ne 80,000/- nga sinnaggyako ze nkozesezza.

Bakasitoma bange abamu bansasula lumu ku Lwokutaano. Mu kukola kuno nfunye ne ssente ne nkwata ennyimba zange ku butambi bubiri nga buli luyimba lwa 150,000/-.

Nkozeeyo ne Vidiyo emu ku 450,000/-. Bizinensi yange ekyakula naye nkyaluubirira okukola ekirabo ky’emmere eky’omulembe kuba ky’ekirooto kyange.

Ebinnyambye

Okukolagana n’abantu.

Obugumiikiriza.

Ndi mukozi.

Okutereka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bombersbrazeville2copy 220x290

Tikiti ezitwala ttiimu y'ebikonde...

Wade ng'ebula ennaku 4 empaka za Africa Boxing Championships ziggyibweeko akawuuwo e Congo Brazeville, ekibiina...

Musevenipik 220x290

Museveni alagidde layini z'amasimu...

Pulezidenti Museveni alagidde amasimu gazzibweko: Ayongezzaayo okwewandiisa okutuusa nga 30 August.

Africain01 220x290

Owa Tunisia kufiira ku KCCA FC...

Omutendesi wa Club Africain eya Tunisia Chiheb Ellili aweze nga bwe bazze n'ekigendererwa kimu kyokka kya kukuba...

Mwebe 220x290

Fayinolo ya Uganda Cup eyongeddwaayo...

AKAKIIKO ka FUFA akategeka empaka kajjuludde olunaku olubadde olw’okuzannyibwako fayinolo y’empaka za Uganda Cup...

Duka1 220x290

Ssebatta awonye ddukadduka w’amabanja:...

FRED Ssebatta awonye ddukadduka w’amabanja, Gen. Salim Saleh bw’amuwadde kavvu oluvannyuma lw’okumusindira ennaku...