TOP

Cipusi ze nsiika ku kkubo nzimbyemu enju 2

By Musasi wa Bukedde

Added 19th July 2017

ABAVUBUKA bangi banyooma emirimu ate bwe bamala ne bakaaba ebbula ly’emirimu ekivaako n’abamu okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka.

Chips1 703x422

Gerald Bainomugisha ng’ali ku kkubo w’akolera.

Bya MARY NAMBWAYO  

ABAVUBUKA bangi banyooma  emirimu ate bwe bamala ne  bakaaba ebbula ly’emirimu  ekivaako n’abamu okwenyigira  mu bumenyi bw’amateeka.  

Gerald Bainomugisha, 28,  omutuuze w’e Namasuba Central  ye embeera eno teyagirinda  n’asalawo okukola omulimu ogumuyamba  okuyingiza ssente buli  lunaku.

Annyonnyola engeri  gy’addukanyaamu bizinensi  ye ey’okusiika cipusi n’enkoko  n’alaga n’okusoomoozebwa  kw’ayitamu.  “Nasomako wabula emisomo  ne gigootaana nga ntuuse mu  P.7 ku Butale Primary School mu  2006.

Olwo natandika okuvuga  bodaboda y’akagaali mu kibuga  ky’e Ntungamo, naye akagaali  kano nali nkapangisa 1,000/- buli  lunaku.  

Oluvannyuma nafuna omulimu  gw’okutambuza sooda wa bakasitoma  gwe baba baguze ku dipo  emu era e Ntungamo okutuusa  lwe nalwala ekifuba eky’omunda  olw’okusitula.

 ainomugisha ngasiika cipusi Bainomugisha ng’asiika cipusi

 

 

NTANDIKA OKWO KYA ENKOKO

 Lumu nafuna ekirowoozo  eky’okujja okukolera e Kampala  awaali muganda wange Richard  Atwire omutuuze w’e Seguku eyali  ayokya enkoko kuba ssente ze  nakoleranga mu kusomba sooda  zaali ntono ekyampaliriza okuva  ku mulimu.  

Namukubira essimu ne mmuyitiramu  ku kye nali ndowooza  era naye n’akkiriza n’ansuubiza  n’okunnyamba okutandika bizinensi  y’okwokya enkoko.  

Olwatuuka saalindiriza, yantwalirawo  mu katale ne tugula ebikozesebwa  nga guno gwali mwaka  gwa 2008.  

Natandika n’enkoko bbiri  okwokya nga twazigula 12,000/-  , ne ngula essigiri ku 25,000/-,  akatimba ka 8,000/- ne ngattako  ne sosegi za 14,000/-. Byonna nga  muganda wange yabingulidde.  

Yali anfunidde ekifo e Seguku  nga kiri ku kkubo ne ntandika  okukola. Olunaku olwasooka  Mukama yannyamba ne ntunda  ebintu bino ne biggwaawo kuba  tewaali muntu mulala yali atundirawo.  

Ebintu tebyali byangu mu  kusooka naye mukulu wange  yannyambangako kuba yali  akola omulimu gwe gumu ate  ng’aguluddemu.  

Olumu nakolanga ebyokulya  ne bisigalawo naye nga wano nali  nkola ku magoba era nga nterekako  kuba nali sirina buvunaanyizizbwa  bunkakatako mu kiseera.  

Wabula natuuka ekiseera nga  ndaba sikyasobola kubera ne  muganda wange olwo ne mpangisa  ennyumba ku 25,000/- era e  Seguku.  

NGATTA CIPUSI KU NKOKO  

Muganda wange yateranga okugenda  mu kyalo, era mu kiseera  ekyo nakoleranga mu kifo kye  kuba kyali kikola nnyo.

Wano we  waali omukyala eyasiikanga cipusi  gwe nayambangako okusalaasala  obummonde bwentyo nange ne  njiga okuzisiika.

Mu 2009 nawasa olwo nga  ssente ze nfuna mu nkoko yokka  tezimmala.

Kye nakola kwe kutandika  okusiika cipusi era nasenguka  e Seguku ne nzira e Namasuba  gye nafuna ennyumba engazi ko  ku 50,000/- buli mwezi.  

Nayambibwa ne nfuna ekifo we  nkolera nga kiri ku kkubo ate nga  sisasula kuba waali wa mukwano  gwange.

Twatandika okukola ne mukyala  wange era natandika n’obumonde  bwa 6,000/- ne nzigyamu 18,000/-  naye kw’olwo zonna zaggwawo.

 Nakola bwentyo okutuuka lwe  namanyiiza bakasitoma bange  era ne ntuuka n’okugula ensawo  y’obummonde ennamba eyalinga  ku 70,000/-.

Eby’okugula ensawo  nakizuula nga tebyali birungi kuba  mwabangamu obummonde obufu  bungi ne nfiirizibwa.  

Ssaakoma awo bizinensi nayongera  okugigaziya ne nyongerako  n’okwokya ennyama y’embuzi  kuba bakasitoma bange bagimbuuzanga.  

Mu 2016 bwe nalaba okugula  ensawo y’obummonde kinfiiriza natandika okugula obw’emirengo.  

Nagulanga obummonde obuli  wakati wa 40,000/- ne 50,000/-  okusinziira ku bwe mbeera natunze  eggulo limu.

Buno nabufunangako  amagoba agali wakati wa  40,000/- ne 50,000/- okusinziira  ku bungi bwe nabanga nguze.

WE NTUUSE  

  • Buli lunaku nneesalira enkoko  ze nsiika 7 ze ngula ku  10,000/- buli emu nga nzigyamu  ebifi 5 bye ntunda ku  3,500/- ekimu.
  • Ngula obummonde bwa  50,000/- buli lunaku ne  nzigyamu 100,000/-.
  • Naggulawo omudaala  omulala okumpi n’ogwasooka nga  mukyala wange waakolera. Eno  ngulirayo enkoko 2 n’obummonde  bwa 15,000/-. Ekinnyamba eno  ebimu bwe binzigwako mbeera  nnina we mbiggya amangu ne  mpeereza kasitoma obutasubwa  ssente ezo.  
  • Essaawa eno nsula mu nny  umba ya 150,000/- era  sibanjibwa.  
  • Mbala ebitabo buli nkomer  ero ya mwezi nga mmaze  okusasula buli kimu naffe  okwesasulako omusaala,  olwo ne nfuna amagoba  ekitono ennyo ga 300,000/-.  

OKUSOOMOOZA  

1 Olw’okuba tukolera ku kkubo  tugobaganyizibwa buli kiseera  era tukolera ku bunkenke.

2 Ebintu bye nkozesa birinnya  ebbeeyi buli kiseera kyokka  bw’oyongeza nga bakasitoma  badduka.

3 Olumu abaguzi bange bagenda  ne ssente ne batasasula.  

 ainomugisha ngayokya ennyama nenkoko Bainomugisha ng’ayokya ennyama n’enkoko.

 

OBUKODYO BW E NKOZESA  

1 Okufaayo ku bakasitoma bange  nga njogera bulungi nabo.

2 Buli ssente nzikwata era nfuna  ebipimo by’ebyokulya bye  mmuguza.  

3 Okukuuma obuyonjo kuba  nkola ku byakulya.  

4 Obutawalana bantu era siwakula  ntalo kuba bimala obudde.  

BYE NFUNYE  

1 Ndabirira famire yange  

2 Nziguddewo ettabi lya bizinensi eddala.  

3 Nzimbiddemu maama ennyumba  mu kyalo era egenda  kuggwa n’okumulabirira.  Nange neezimbira eyange mu  kyalo.  

4 Nsasulirako omwana wange  fiizi.  

5 Landiroodi tammanja kuba  nsasula mu budde.  

6 Nagulayo n’ebisolo bye  nnunda.  

AMAGEZI  

Abavubuka mubeere bayiiya.

Abantu bajjumbire enkulaakulana.  

Okwekwasa Mukama kuba  talemererwa.  

Obutanyooma mirimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ji1 220x290

Poliisi eggalidde abasirikale baayo...

Poliisi eggalidde abasirikale baayo 10 ku misango egy'enjawulo

C111a580e9174d5997f3a6a40439e2b818 220x290

Raila Odinga addukidde mu kkooti...

RAILA Odinga yeefukuludde n’addukira mu kkooti ensukkulumu okuwakanya obuwanguzi bwa Uhuru Kenyatta ku bwapulezidenti...

Yaga 220x290

Omusajja ayagala kunzigyako mwana...

NZE Uwineza Adiah nnina emyaka 26 nga mbeera Lubaga. Okuva lwe nafuna olubuto, baze yagaana okuddamu okundabirira...

Ssenga1 220x290

Nina bulwadde ki?

NINA emyaka 25 naye seegattangako na mukazi yenna kuba buli lwe ngezaako okwegatta nkoma ku mulyango ne njiwa....

Leka 220x290

Owapoliisi yesse lwa bwavu

OMUSERIKALE wa poliisi eyawummula, Robert Mugume asangiddwa nga yeetuze.