TOP

Ssente nziyiiya mu bibaawo mwe nkola eby’okuzannyisa

By Musasi wa Bukedde

Added 9th August 2017

EBBULA ly’emirimu bwe lyeyongedde mu ggwanga n’abantu ne bongera okuyiiya nga bakozesa ebintu ebibeetoolodde bangi bye balaba nga kasasiro.

Bimotoka1 703x422

Ekimu ku bimotoka Kiyingi (mu katono ku ddyo) by’akola.

Bya STEVEN KIRAGGA

EBBULA ly’emirimu bwe lyeyongedde mu ggwanga n’abantu ne bongera okuyiiya nga bakozesa ebintu ebibeetoolodde bangi bye balaba nga kasasiro.

Victor Kiyingi ayitibwa ‘Mr. Toys’ ow’e Kawempe - Lugoba yasalawo kubajja bimotoka by’abaana eby’okuzannyisa okuva mu bibaawo by’agula mu Owino ku ssente entono.

Agamba, yasooka kugobwa ku mulimu gye yali alabirira abaana mu 2013 n’asigala nga n’eky’okulya takirina.

“Nanoonya emirimu ne gimbula, lumu nagenda mu katale ne nsanga omuzadde eyali agenze okugulira omwana ekimotoka kyokka omukyala eyali akitunda n’amucunga olw’okulemwa okumuwa ssente ze yali amuguza.

kimu ku bimotoka iyingi mu katono ku ddyo byakolaEkimu ku bimotoka Kiyingi (mu katono ku ddyo) by’akola.

 

Bwe natuuka eka nafuna ekirowoozo ky’okutandika okukola eby’okuzannyisa by’abaana nga nkozesa ebibaawo kuba ebintu byonna ebyatundibwanga mu butale byali nga bya pulasitiika.

Natandika okukuba obufaananyi bw’obumotoka ku bupapula oluvannyuma ne nfuna ebibaawo okugezessa okulaba byali bisoboka.

Bwe nagendako mu Owino, nasanga ebibaawo ebifisse ku babazzi ba bookisi ezipakirwamu ennyaanya ne ngulayo ku ssente ezaali wakati wa 200/- ne 2,000/-.

Ngulayo gaamu akwata ku miti mwe nakola akamotoka akaakaayanirwa era guno nagufuula omulimu kuba nalaba obwetaavu nga weebuli.

EBIKOZESEBWA

Embaawo, ekyuma ekiwawula olubaawo, emisumaali, gaamu, langi n’akaguwa ka goozi. Akatale weekali mu ggwanga n’ebweru waako naddala ku balambuzi.

Abaamasomero babugula n’abantu ssekinnoomu.

 r oys iyingi ngalaga akamu ku bumotoka bwakola Mr. Toys Kiyingi ng'alaga akamu ku bumotoka bwakola

 

Byenfunye

  1. Okwetandikirawo omulimu ne nsobolaokuweerera abaana n’okulabirira ab’omu maka gange.
  2. Ntandikiddewo n’abantu abalala emirimu kuba nkozesa abantu abasoba mu bataano be nsasula wakati wa 5,000/- ne 8,000/- olunaku okusinziira ku mulimu ogukoleddwa.
  3. Abamu batandikawo amatabi mu bitundu byabwe n’okuwa abalala emirimu. Ekibaawo kye nguze 2,000/- nsobo okukikolamu obumotoka munaana bwe ntunda ku 3,000/- ne nfunamu 24,000/-.

OKUSOMOOZEBWA

  • Bbanka tezaagala kutuwola okwongera mu kapito waffe nga banyooma omulimu gwaffe.
  •  Obutasobola kumatiza katale akaliwo.
  • Ebyuma ebikozesebwa biseerebwa ate n’amasannyalaze gagenda mangi ate nga ga buseere.
  •  bimu ku bimotoka r oys byakola Ebimu ku bimotoka Mr. Toys byakola

     

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Yaga 220x290

Omusajja ayagala kunzigyako mwana...

NZE Uwineza Adiah nnina emyaka 26 nga mbeera Lubaga. Okuva lwe nafuna olubuto, baze yagaana okuddamu okundabirira...

Ssenga1 220x290

Nina bulwadde ki?

NINA emyaka 25 naye seegattangako na mukazi yenna kuba buli lwe ngezaako okwegatta nkoma ku mulyango ne njiwa....

Leka 220x290

Owapoliisi yesse lwa bwavu

OMUSERIKALE wa poliisi eyawummula, Robert Mugume asangiddwa nga yeetuze.

Kadi2 220x290

Kadaga awabudde ku bbula ly'emirimu...

SIPIIKA Rebecca Kadaga ategeezezza nti ebbula ly’emirimu mu bavubuka ky’ekimu ku bisinze bikwatagana butereevu...

Dhyljrxcaaw1zm 220x290

Museveni asisinkanye minisita wa...

MINISITA wa German ow’ensonga z’ebweru asisinkanye Pulezidenti Museveni n’asaba amawanga g’ebweru okuyamba Uganda...