TOP

Omwana omulonde amwasimula bugolo

By Musasi Wa

Added 11th November 2013

ABASERIKALE abana abaayingira mu nsonga z’omwana okutuuka okukola endagaano buli omu ayagala mutwalo olw’omulimu gwe baakola balyoke bagende.

2013 11largeimg211 nov 2013 104209247 703x422


ABASERIKALE abana abaayingira mu nsonga z’omwana okutuuka okukola endagaano buli omu ayagala mutwalo olw’omulimu gwe baakola balyoke bagende.

Kitaawe w’omwana aggyeeyo omutwalo n’agubawa bonna wamu mbu nga gwa ntambula wabula baguzize nti ezo ssente ntono nnyo.

 “Ssebo ggwe tamalira ffe biseera, ayagala kugenda mangu,” akulira abaserikale alidde mu ttama.

“Kambongere omutwalo gibe ebiri  tugendere awo,” omuzadde ayogedde ky’alina.

KO OMUSERIKALE: Ggwe azannya buzannyi naffe, ate ggwe tamanyi nti alina musango ya kuwa poliisi mawulire ya bulimba nti babbye ku ggwe mwana so mwana tabbye bubbi.

Olw’okwagala ebintu biggwe,  Ziraba yeekuba enju n’aggyayo omutwalo n’ekitundu bw’atyo n’asaba abagende n’ezo. “Wamma ggwe yeebale, kale ffe k’agende naye muntu ono alina buzibu ya maanyi.”

Abaserikale nga bamaze okugenda ne kitaawe w’omwana yasiibula n’akwata ery’e Ziroobwe.

Ennaku nga ziyiseewo nga ssatu, Nakijoba yatuma akawala mu maduuka kagende kamugulireyo amata mu budde obw’olweggulo.

Katonda by’ategeka, eyo ku maduuka gye kaasanga nnyina waako eyali anobye okumala ekiseera ewa kitaawe waako.

Akawala bwe bamala okukawa amata ne kakwata ekkubo eridda eka, kumbe ebbali awo we waali watudde nnyina waako yennyini eyali avudde e Kikyusa n’ajja e Wobulenzi  okubaako bye yeegulira.

Owange mwana ggwe Nabukalu, eno wajjayo otya, era obeera wa?” Nnyina w’omwana abuuza

KO NABUKALU: Tuli eri ku nnyumba ziri ne anti Naaki, taata ye yantwalayo mbeere naye kuba maama yali ambonyaabonya.

NNYINA: Oyo anti gw’ogamba abeera w’ani ye ng’olabika ng’omulwadde, kiki?

NABUKALU: Anti  yajja mulwadde naye kati ali bulungi era yang’ambye nti tuli kumpi kuddayo ewaffe.

   Nakijoba yalaba omwana aluddeyo n’amuwondera. Ng’atuuse ku katale yasinziira walako akawala n’akakuba oluba: Obwedda kaakutumira okola ki eno era oyo akumalira ebiseera y’ani?

   Akawala kaba kagenda gye bakayise nnyina waako n’akakwata omukono nga bw’akabuuza, olaga wa?

   Embeera eno yawaliriza Nakijoba okusembera  amanye ekigenda mu maaso. “Maama osiibye otyanno, onsonyiwe okulwisa omwana ono, ono mwana wange ow’omu lubuto lwange. Nneewuunyiza engeri gye mmusanze eno ku myaka gye nga bw’omulaba wabula abadde antegeezezza nti abeera ne anti Naaki, ndowooza ye ggwe nnyabo.

KO NAKIJOBA: Ye nze, erinnya lyange erijjuvu nze Nakijoba. Naye omwana abadde akunnyonnyodde engeri gye namufunamu?

MAAMA: Antegeezezza nti kitaawe ye yamukuwa mbu nga nnyina muggya wange tamuyisa bulungi.

NAKIJOBA: Kati obadde ogamba otya?

MAAMA: Mukazi munnange, naawe omanyi omwoyo gw’omwana nga bwe guluma, tugende ndabe w’abeera bwe ndifuna ekiseera olulala ndidda ne twogera ebisingawo.

Kiki ekyabaawo? Linda ebijja.

Omwana omulonde amwasimula bugolo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pass 220x290

Ebbula lya pasipooti mu ggwanga:...

Ebbula lya pasipooti mu ggwanga: Ezigaddewo za bakungu n'abalwadde abagenda ebweru

Funa 220x290

Omuyimbi Aganaga asajjakudde: Kati...

Agamba nti nga yaakamala okukutula ddiiru okuyimbira e Bungereza ku lunaku lwa ‘Valentayini’ ate Katonda amuweereddemu...

Sej2 220x290

Gen. David Sejusa asabye kkooti...

Ebiwandiiko bino yabitaddeko omukono ku Lwokuna balooya be abakulembeddwaamu David Mushabe bwe baamusisinkanye...

Mbabali 220x290

Mbabali atuuyanidde mu kaguli ng'annyonnyola...

Mbabaali y'atwala Ponsiano Matovu mu mbuga z'amateeka ku bigambibwa nti yali ayitirizza obuyaaye n'okumuswaza mu...

Lya 220x290

Omupoliisi eyatta mukazi we awonye...

Abalamuzi ba kkooti ejulibwa bamukenderezezza ku kibonerezo okuva ku kuwanikibwa ku kalabba nga kati mu kkomera...