Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Bukedde Ku Ssande
Wuuno omwana wa Muteesa ow’ekyama Buganda gw’ebadde temanyi
Feb 10, 2014
Omumbejja Christine Nabanakulya.
  • print
  • mail
  • imgBya Anthony Ssempereza Ne HERBERT MUSOKE

Buganda efunye Omumbejja omulala oluvannyuma lw’omwana wa Ssekabaka Edward Muteesa II ayitibwa Gertrude Christine Nabanakulya Tebattagwabwe okuzaawuka!

Wadde omwana ono yazaalibwa nga 20 August 1964, abadde akuumirwa mu kyama era Buganda ebadde temumanyi okutuusa omwaka oguwedde nga May 14, nnyina bwe yawandiikidde Mmengo ng’agyanjulira omwana ono.

Mu bbaluwa eno Bukedde ku Ssande gye yalabyeko, Omuzaana Margaret Nakato alombojja enkolagana ye ne Muteesa omwava omwana ono ne lwaki abadde mu nkukutu ebbanga lino lyonna.   

Omumbejja Gertrude Christine Nabanakulya Tebattagwabwe, yazaalibwa omuzaana Margaret Nakato ng’ono abeera Nkumba n’omumbejja eyakomyewo okuva mu Bulaaya gy’amaze kumpi obulamu bwe bwonna. 

Ssekabaka Muteesa II. Wakati Omumbejja Christine Nabanakulya ng’akyali muto. Ate ku ddyo, Omuzaana Nakato ng’akyali muto.NSISINKANA KABAKA MUTEESA

Omuzaana Nakato bw’abeera anyumya omukwano gwe ne Ssekabaka Edward Muteesa n’engeri gye yazaalamu Omumbejja Gertrude Christine Nabanakulya Tebattagwabwe oyinza okulowooza nti yamulabye jjo olw’engeri gy’assaako akamwenyumwenyu n’amaaso ge ne gatunula nkaliriza gy’oli nti gw’anyumyako amulaba! 

Nakato agamba: ‘ Okuzaala Omumbejja kiringa ekyabaddewo eggulo olw’essanyu n’ebirungi Ssekabaka Muteesa bye yampanga  Omumbejja ono by’anzijukiza!

Olunaku lumu nawerekera mukwano gwange mu Lubiri e Mmengo ng’ono ye yali atera okugendayo, Kabaka Muteesa we yandabira ndowooza n’ansiima era n’antumya. Yasindika mmotoka ekika kya Bentley eyantwala mu Lubiri ne mmusisinkana.

Mu kiseera ekyo nali mbeera Kyambogo nga nnina emyaka 20. Twatandikira awo omukwano gwaffe era mu bbanga ttono Kabaka yangulira mmotoka ekika kya Mercedes Benz Sports ng’eno yali emu yokka mu buvanjuba bwa Afrika.

Wakati mu mukwano, twatambulanga okulambula ebitundu ebitali bimu, okuvuga eryato ku nnyanja Nalubaale, okukampinga e Ndaiga, nga tutambula fenna ku mikolo egitali kimu omuli egy’obuwangwa, okulambula Amasaza, empaka z’amaato n’emikolo gy’Obwapulezidenti.

Omuzaana Nakato azaala Omumbejja Chistine  Nabanakulya. Ku ddyo, Omumbejja Christine Nabanakulya ng’aggaddewo.

Yannyanjulanga mu bagenyi abaakyalanga  mu State house era nzijukira Haile Selassie owa Ethiopia, Omumbejja wa Bungereza Margaret ne bba Lord Snowdon lwe baamukyalira mu maka g’Obwapulezidenti yannyanjula nga muganzi we ne mu bakulembeze b’ennono nga ow’Ankole, Toro ne mikwano gye gyonna gye yali ayagala okulaga omuntu gw’ayagala.

Yatuuka ekiseera ng’ayagala tubeere fenna era n’ayita bannyinaze okwali James Ssali n’abategeeza nti ayagala kutandika kubeera nange wadde nga baali bakimanyi era mwannyinaze Ssali yamusaba ettaka e Makindye nange n’ampa okumuliraana era  eryange likyaliwo.

Nfuna olubuto lw’Omumbejja

Mu 1963 nafuna olubuto lwa Sir Edward Muteesa II era nali musannyufu okukamala kuba Kabaka Muteesa yali musajja mulungi si mu ndabika yokka wabula n’empisa ze nga tosobola butasikirizibwa singa abeera akusabye okutta ekyama! Bwe nafuna olubuto Kabaka Muteesa yayongera ku mukwano gwe yalina gyendi.

Kabaka bw’amala okukikakasa nti ndi lubuto lwe, yasaba Mw. Kisingiri n’Omumbejja Beatrice Muggale okuntwala ntandike okubeera nabo nga bandabirira era nabo ne bakkiriza okutuusa lwe nazaala.

Yajjanga ewa Mw. Kisingiri gye nabeeranga n’andaba n’okuleeta ebikozesebwa mu bulamu era n’ankwasa Dr. Sam eyalina okundabirira okutuusa lwe nzaala.

Omumbejja namuzaalira mu ddwaaliro e Mengo mu waadi ya Anne Walker mu 1964 era amangu ddala baatwalira Kabaka amawulire nti omwana azaaliddwa muwala n’asindika mukyala Nakalyana okutwala ebiggyibwa ku bambejja omuli akalira n’ebirala  okukolebwako emikolo gy’obuwangwa. 

Omumbejja Christine Nabanakulya ku kkono ng’ali n’Omuzaana Nakato gye buvuddeko.

Omwana yaweebwa amannya, ‘Gertrude Christine Nabanakulya Tebattagwabwe. Bwe namala okuzaala twaddayo mu maka g’omwami Kisingiri n’Omumbejja Muggale mwannyina wa Kabaka Muteesa agaali gasangibwa ku Kabakanjagala.

Oluvannyuma lw’okuzaala Kabaka yandagira nzireyo nsome mu Chumba Secretarial College e Kenya era ng’omwana wange namuleka tannaweza na mwaka. Buli wiikendi nga nninnya ennyonyi okudda okulaba ku mwana wange.

Eno nabeerayo nga Kabaka atuzimbira ennyumba mu Lubiri era bwe yaggwa ne tuyingira mu Lubiri e Mmengo okutuusa Obote lwe yalumba Olubiri olwo ne tudduka ne Kabaka n’awang’angusibwa. Eky’ennaku ng’akisizza omukono mu buwang’anguse mu 1969 twasigala ku lwaffe.

Nga wayise ekiseera nakomawo nga nsooba okulaba embeera y’omwana wange olwo ne ntandika okubuuliriza kyokka ng’embeera nzibu okutuusa lwe nasisinkana Mw. Dan Nsereko n’omuserikale omulala abaali bammanyi ne bannyamba okunoonya omwana wange.

Tugenda okumanya nga Omuzaana Sarah Kabejja yalagira abantu okutwala omumbejja mu Lubiri e Bamunaanika. Eno Omuzaana Kabejja yaddukayo ng’abaserikale baagala okumutta, Omumbejja n’amukwasa omukyala eyali akola mu Lubiri n’agenda naye ewaabwe mu Nkoola.

Abaserikale bamperekerako ne tugenda mu Nkoola ne nkimayo muwala wange. Oluvannyuma lnakimanya nti Kabaka akyali mulamu ne mmusaba ng’ende mulabe n’angaana. Yantegeeza nti bwe mba nnemeddeko sitwala mwana.

Omumbejja namulekera mwannyinaze ne ng’enda e Bungereza okulaba Kabaka era yali musannyufu. Essanyu lino teryamala kaseera kanene n’amboggolera nti lwaki mmujeemedde. Buli kimu kyansobera nga sirina kya kumugamba.

E Bungereza naddamu okusoma obusawo nga mbeera mu mikwano gya Kabaka. Olwamala okusoma ne mpangisa enju e Bungereza mwe mbeera n’okutuusa kati. Omumbejja namutwala mu 1973 nga mmaliriza okusoma”, Nakato bw’agamba. 

Ebbaluwa eyanjula Omumbejja Christine Nabanakulya.

Omuzaana awandiikira Mmengo

Mu bbaluwa gye yawandiikidde abakungu e Mmengo ng’abanjulira wamu n’okubabuulira obuzaale bw’Omumbejja, agamba nti okusindika Omumbejja e Bungereza tekwali kusiima kwe wabula okutaasa obulamu bwe olw’embeera eyaliwo kyokka nga buli lunaku oluyita abadde asubwa omwana we.

Omumbejja Gertrude Christine Nabanakulya Tebattagwabwe, omu ku baana ba Ssekabaka Fredrick Walugembe Muteesa II abasinga obuto abadde mu Bungereza okuva nga wa myaka mwenda (9), gyokka okutuusa mu mwezi gwokusatu omwaka oguwedde lwe yakomyewo mu nsi ya kitaawe.

Omumbejja Nabanakulya  obulamu bwe abunyumya bwati:

SAALABA ku kitange kuba nazaalibwa nga 20/08/1964 ate kitange n’awang’angusibwa mu 1966 nga sinnaba na kuweza myaka ebiri ate okwandibadde okumulaba nalaba njole ye eyali ekomezeddwaawo.

Amazima bingi byenfunye oba olyawo sandibifunye singa kitange teyali musajja mulungi akolagana n’abantu obulungi. Kino kinnyambye obutakaluubirizibwa nnyo mu bulamu wadde mbadde ku mawanga etali bang’anda. 

Natwalibwa mu Bungereza nga nnina emyaka mwenda (9) gy’okka okutuusa mu March wa 2013 lwe nakomawo omulundi ogusookera ddala mu Buganda (Uganda). 

Mbadde mbeera mu Central London mu Surry Epsom gye natuukira, gye nsomedde era obulamu bwange bwonna gye mbumalidde. 

Mu Bungereza mbadde mpisibwa ng’omuntu waabulijjo yenna kuba eri tubeera ku mawanga okuggyako Abaganda abatono ababadde bammanyi nga be bayinza okumpa ekitiibwa ky’Obumbejja. 

Nange kibadde tekimpa buzibu wadde okuwulira nti mpisibwamu amaaso kuba siri muntu ayagala nnyo okuvunnamirwa wadde okulaga nti ndi waakitalo wabula okubeera n’emikwano egintegeera era bwe tuwang’ana ekitiibwa naye nga ng’enda ku mikolo gya Buganda naddala nga Kabaka akyadde mu Bungereza  Abaganda ne beekolamu omulimu nga mpeebwa ekitiibwa kyange nga mwannyina. 

OKUSOMA KWANGE: 

Nasomera mu Gorringe school nga guno gwe mutendera gw’okusoma gw’obeeramu okutuusa ku myaka nga 16 lw’oyingira High School. 

Mu 1980, nayingira Rowan High School, n’oluvannyuma ne nnyingira Nescot College gye nasomera ‘O’ level. Nafuna Tech dipulooma ng’eno yenkanankana eddaala lya ‘A’, level mu Uganda omubeera n’amasomo ng’okubala, olungereza, ssaayansi n’amalala agayamba omuyizi okutegeera ensi nga bw’etambula n’okumubangulira ddala abeere omuyivu.

Oluvannyuma mu 1982, nneegatta ku ttendekero lya Association of Accounting Technicians erifulumya abakuguse mu kubalirira ebitabo  ne nkuguka mu kubala ebitabo era gwe mulimu gwange. 

Nga mmalirizza okusoma natandikira mu Stakis St. Ermin’s Hotel nga nkola ng’omubalirizi w’ebitabo wabwe gye nava okwegatta ku Tate Catering Tate Britain gye nakola okutuusa mu 2006 lwe nneegatta ku Leather Pic okutuusa essaawa ya leero ng’eno nkola nga omulondoozi oba kalabaalaba w’ebigulibwa. 

Nnaakamala mu Uganda  emyezi 11 gyokka okuva lwe natwalibwa mu Bungereza mu 1973. 

Embeera mu Uganda, tennambeerera nnyangu kuba ne baganda bange mu lulyo Olulangira sinnakwatagana nabo bulungi engeri gye tubadde tetumanyiganye n’abamu. 

Mu ngeri y’emu nnina bingi bye nkyalina okuyiga kuba wadde mbadde nnyambibwa okutegeera  ennono n’obulombolombo bwa Buganda tekimbeeredde kyangu okumanya ebintu nga bwe bitambula nga ndi bweru noolwekyo nkyalina okuyiga. 

Nasalawo okusigala ntandike obulamu mu nsi yange era nga nkyagezaako okunoonya engeri y’okweyimirizaawo gamba ng’okufuna eky’okukola kuba eri mbadde namanyiirayo nga mmanyi engeri y’okutetenkanya ne nnyimirizaawo obulamu ekitali kyangu mu Uganda. 

Eno y’emu ku nsonga lwaki sinnabaako kye nkolera Buganda kyokka nga njagala nnyo nange okubaako ejjinja lye nzisa ku kuzimba Buganda ne Uganda yonna okutwaliza awamu nga kitange bwe yakola wadde nga ku mulembe gwe abakyala tebaakola nnyo naye kati omulembe gwakyuka. 

blog comments powered by Disqus
NoImage
Nnamungi w'omuntu atambulira ku beesimbyewo ku Bwapulezidenti ategeeza buwanguzi oba kukyamuukiriza
Ye
Nedda
Simanyi
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Noimg Developed by: logo