Omuziki gwa 'fire baby' Winnie Nwagi gwalaludde abawagizi be okutuuka ku 'nnyama'

“BEND and Shoot sasi ku nyama tuli ku mulamwa ebyaffe bya ddala” Winnie Nwagi olwabadde okusuulamu akayimba ke aka Sasi Ku Nyama oyinza okugamba abawagizi be bagudde ddalu. 

Omuziki gwa 'fire baby' Winnie Nwagi gwalaludde abawagizi be okutuuka ku 'nnyama'
By Ignatius Kamya
Journalists @New Vision
#Kasalabecca

“Bend and Shoot sasi ku nyama tuli ku mulamwa ebyaffe bya ddala” Winnie Nwagi olwabadde okusuulamu akayimba ke aka Sasi Ku Nyama oyinza okugamba abawagizi be bagudde ddalu. 

Bano baatandikidde waggulu nga banyumirwa.

Bano baatandikidde waggulu nga banyumirwa.

Omanyi ekivulu kye ekyali e Lugogo ku Cricket Oval tekyakoma ku kya kujjuza kwoka wabula abantu era banyumirwa bya nsuso nga bangi bali bacamufu okuva lwe yalinya ku siteegi okutuuka bwe yavaako. 

Yatandise mpola okukkirira.

Yatandise mpola okukkirira.

Banno Nwagi yabacamula nnyo olw’obuyimba bwe yali asuulamu era bazina ekiro kyonna wabula ate bwekyatuuka kuka sasi ku nayama ate nekisuuka anti beekola buli kyebagala nga bwe bazina okwekutula. 

Kirabika 'kyana kiwala' kyamutabudde n'atandika kulajaana.

Kirabika 'kyana kiwala' kyamutabudde n'atandika kulajaana.

Okucamuka kwabano wabula oyinza okugamba nti kwasuuka ku nyimba anti n’eccupa zaliwo nga banyumirwa be benyweramu okujjuririza essanyu ly’akawungeezi. 

Oba ababbiri babbo bajja bombi oba beesanga awo nze nawe naye kyetuyinza okukakasa kimu nti banyumirwa bya nsusso.