breaking news
AsiikaObulamu
Ennyaanya zamponya obulumi bw’ennyingo
  • Oct 05, 2011
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip
Kw’olabira Obulumi obwa buli kiseera naddala mu kifuba, mu lubuto, emikono n’amagulu. Okukonziba Okulumwa omutwe, okwerumika, okwerabira. -Okumenyekamenyeka mu nnyingo n’okulemererwa okutambula. -obutafuluma bulungi, obutayagala kulya.

Musa Kyambadde, 23, makanika mu Gaddafi Auto garage ku Old Kampala ng’abeera Mukono. Anyumya bwe yawona obulumi bw’omubiri bwe yafuna ku myaka etaano.

“ Ku myaka etaano nnafuna okulumizibwa nga sisobola kutambula okuggyako okwekulula oba okutambuza omuggo.
Obulumi bw’agenda bweyongera okusaasaanira ebitundu by’omubiri byonna  ng’ekitundu ekimu bwe kitandika okunnuma nga n’ekirala.

Nnawulirizanga nnyo Dr. Ssali ng’asomesa ku mmere gy’olina okulya ekyampaliriza okumulaba. Bwe natuukayo yanjoza  mu lubuto, ndye ennyaanya, obutungulu, ebikoola bya kiragala, ebibala n’omubisi gwabyo.

Yang’aana okulya ekyeggulo, ebisiike, amata kye nakola okutuusa bwe obulumi lwe bwakendeera era kati emyezi mukaaga sifuna buzibu.

Dr. Yasin Zziwa, owa Sez Dama Medicinal Herbs e Nabweru agamba nti endwadde omuntu z’azaalibwa nazo n’okulya obubi ze zivaako okulumizibwa mu bitundu by’omubiri eby’enjawulo.Wabula omuntu gy’akoma okukula n’obulumi okweyongera.

Endwadde zino mulimu;
Sikoseero, kabootongo, kokoolo w’omusaayi, endwadde z’amagumba n’ennyingo.

Singa omubiri tegufuna biriisa bimala era ebitundu byagwo birumizibwa ne gulemererwa okutuukiriza emirimu gyagwo.
Okulya obubi kikosa ebitundu by’omubiri eby’omunda  naddala ekibumba, akalulwe, ensigo n’ebirala.

Emmere gy‘olina okulya

Ebikoola bya kiragala n’omubisi gwabyo.  Ssere, muwogo, lumonde, cukamba, ensujju. Bino biyamba okuzimba obwerinzi bw’omubiri, okufulumya obucaafu.

Obujjanjabi obusookerwako.
-Okweyoza mu lubuto.

-Dduyiro.
-Okweyoteza.

-Okunyiganyiga omubiri naddala awaluma.

Ebbumba liteeke mu mazzi lisulemu oba sira emmumbwa osiige mu nnyingo n’okunywa.

  • Oct 05, 2011
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola