breaking news
AsiikaObulamu
Emmere owoolubuto gy’alina okulya okuzimba obwongo bw’omwana
  • Oct 06, 2011
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip
Buteeme n’omwana we.

 OBWONGO bw’omuntu ky’ekitundu ekifuga

enkola n’entabula y’ebitundu by’omubiri
byonna. Y’ensonga lwaki abamu bakosebwa
obwongo ne balemala nga bali mu mbuto
za bannyaabwe olw’obulwadde obubalumba,
obuzibu nga mu kuzaalibwa n’endya
 
y’abakyala nga bali embuto.
Fatuma Nakawooya, mutuuze w’e Nansana
agamba nti yazaala omwana we nga
mulamu bulungi. Nga wayise emyezi ebiri
yatandika okulwala omusujja ogwamutuuka
ku bwongo ekyavaako okuzing’ama.
 
Ku myaka ebiri n’ekitundu tasobola kutambula
wadde okwogera ng’abaana abalala
ab’emyaka gye.
 
Ye Margaret Buteme, agamba nti omwana
we ow’emyaka esatu yafuna obuzibu
ku bwongo nga kino kyava ku bulagajjavu
bw’abasawo abalwawo okumuzaalisa
ng’atuusizza.
 
Buteeme agamba ebisa byamulumira
wiiki nnamba okutuusa lwe baamussaako
eccupa ezaaleeta ebisa.
 
Wabula omwana yakwatibwa omusujja
nga wa nnaku bbiri era wadde gwawona
yatuuka ku myaka ebiri nga talina ky’akola
ng’abaana abalala.
 
Agamba nti, tebaasooka kumanyirawo
nga balowooza nti z’embeera
z’abaana.
  • Oct 06, 2011
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola