breaking news
Emboozi
Naloose nsima entaana kitegeeza ki?
  • Oct 06, 2011
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip


 

Balaze e Busia yaloose nga yeegulidde emmotoka, ate enkeera mukyala we n’amulootololera nga bwe yali yeegulidde emmotoka. Kitegeeza bwe munaatera okugobolola mu bugumiikiriza bwe muzze mulaga mu nteekateeka z’amaka gammwe.
 
Nasta e Kasangati  yaloose ng’ayanika obutiko ku katandaalo. Kitegeeza kulwala oba kulwaza omu ku bantu b’olinako akakwate. 
 
M.M e Buloba yaloose ng’alwana ne muganda we.
Ekirooto kino kirina amakulu ga mirundi ebiri. Bw’aba yakusinzizza amaanyi kitegeeza bisiraani gy’oli, naye bw’oba nga ggwe wamuwangudde kitegeeza mikisa mu by’okola.
 
James e Kabojja yaloose nga basima entaana ne mikwano gye basatu b’akola nabo. Kitegeeza ng’omu ku bakama bammwe bw’anaatera okuva ku mulimu nga teyeesiimidde.
 
Mega e Kawanda yaakaloota emirundi ebiri nga waliwo mukazi munne amusitudde ng’omwana omuto. Kitegeeza ng’ekintu ky’oyagala okutandika okukola bwe kiri ekirungi naye nga tojja kukisobola wekka okuggyako nga waliwo akuyambako.
 
Kajubi e Mbalwa - Namugongo yaloose ng’alaba mikwano gye ababbinkana n’emirimu, ye ng’atudde atunuulidde batunuulire. Kitegeeza ekintu ekirungi ekiri awo w’oli naye amaaso go nga tegakiraba, osaana okyebuuze.
 
R.K e Wakiso yaloose ng’atambulidde ebbanga ggwanvu naye nga tatuuka gy’alaga. Kikulabula obutamala gatambula okuggyako nga gy’olaga olina ky’onoofunayo.
 
K.N e Bbira yaloose ng’alaba abantu abangi ennyo nga mulimu abasajja, abakazi n’abaana naye nga bonna babagalidde ebiso, embazzi, ebitiiyo n’enkumbi. wabula teyategedde kye baabaddeko. Kiranga omulimu ogunaatera okubaawo nga gukolebwa abatuuze mu kitundu kyo.
 
Aisha e Sironko yaloose ng’ensi emutamye kuba obwedda buli w’azza amaaso ng’alaba mazzi. Kitegeeza omujjuzo gw’amazzi aganaava ku nnamutikkwa w’enkuba eneetera okufukumuka mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu.
Mark e Bakka yaloose ng’atudde mu malaalo amangi ne kitaawe ne nnyina nga kitaawe bw’amusangula entuuyo. Kiranga obuzibu mu maaso gy’olaga naye nga waliwo omuzirakisa anaakuyamba okubiyitamu.
 
Fattie e Nazigo Bugerere yaloose ng’ataasa abasajja babiri abaabadde balwana. Kikulabula okubeera omukkakkamu buli lwe wabeerangawo ekikunyizizza kubanga okunyiiga kya butonde.
 
Lozio e Bbanda yaloose ng’ayamba abasajja abaali basindika omulwadde ku kagaali. Kikujjukiza okwongera amaanyi mu by’okola, obuzibu bukutuukeko ng’olinawo ke weekolera edda.
Zeverio e Kalagala, musomesa naye yaloose ng’avuga byannyanja ku ggaali mu kyalo. Kikulabula obuteesiba ku kintu kimu kubanga eriyo n’ebirala by’osobola okwekolera.
 
Jack e Mityana yaloose ng’ali mu kaguli mu kkooti y’omulamuzi naye nga tewali kyogerwa era nga kkooti yonna esirise. 
Kikulabula okweggyamu omuze gw’okunyoomerera amagezi agaba gakuweereddwa abakulu abakusingako oluvannyuma oleme kwejjusa.
 
Moses e Ndejje yaloose ng’ayomba n’omwawule w’obusumba bwe. 
Kitegeeza okwerinda n’okugumira enkyukakyuka ezijja mu maaso gy’olaga.
 
Stella e Mulago yaloose ng’alinnyalinnya amaddaala amawanvu ennyo. Kitegeeza emikisa gy’okuva mu mbeera gy’obaddemu weyongere okutereera mu mbeera z’obulamu bwo.
  • Oct 06, 2011
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola