breaking news
AsiikaObulamu
Baleese enkola empya ey’okukomola abasajja
  • Oct 12, 2011
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip
Abasawo nga bakomola abasajja nga bakozesa enkola enkadde.

EKITONGOLE kya Rakai Health Sciences Program kitandise okukomola abasajja nga kikozesa akaweta mu nkola eyitibwa Shang Ring.

Akulira okunoonyereza mu kitongole kino, Dr. Godfrey Kigozi yategeezezza nti enkola eno terwisa muntu akomola n’akomolebwa kubanga mu ddakiika 5 zokka omuntu abeera amaze okukolwako.

 “Twagikoppa mu China kyokka nga n’e Kenya ebadde ekozesebwa,” Dr. Kigozi bwe yagambye era yagyanjulidde mu kukomola okw’ekikungo okwabadde ku ddwaaliro lya Masaka Munisipaali n’agamba nti buli lunaku babadde bafuna abantu abali wakati wa 100 ne 120 nga bonna beetaaga okukomolebwa.
 
l Okusinziira ku Dr. Kigozi,  omusajja agenda okukozesa akaweta kano alina okusooka okugezesebwa okulaba akamutuuka obulungi ku busajja bwe nga tebunnayimirira era ne kamwambazibwa omusawo omukugu amanyi obulungi okukakozesa.
 
l Omusawo wano alina okukuba omuntu ayambadde akaweta kano empiso eziyiza obulumi oluvannyuma eddiba ly’obusajja ne libikkulwa okuzzibwa emabega w’akaweta ate ku busajja obwo ne kwambazibwako akaweta akalala.
 
Kigozi annyonnyola nti wano eddiba ly’obusajja liggyibwako naye akaweta tekaggyibwako wabula okusibwako bandegi era abeera akozeseddwako enkomola eno agenda ne bandage wamu n’akaweta akabeera kakyali ku busajja bwe.
 
Tasobola kuwulira wadde obulumi n’akamu ate ng’emirimu gye asigala akyagikola bulungi ewatali muntu n’omu kumanya nti yakomoleddwa,” Kigozi bw’annyonnyola.
 
l Agamba nti oluvannyuma lw’ennaku 7, addayo mu ddwaaliro akaweta ne kamuggyibwako kyokka amala wiiki ssatu oba omwezi nga teyegasse na mukazi.
 
Agamba nti okuggyako akaweta kano tekyetaagisa muntu kuzzibwa mu ssweta gye kabeera kaamuteekebwako sso ng’omuntu abeera akakozesezza tatungibwa wadde ewuzi emu oba okufuna enkovu yonna nga bwekiri ku nkola enkadde eriwo.
 
Yagambye nti abaneetaba mu kugezesa enkola eno baakusooka kusomesebwa.
 
  • Oct 12, 2011
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola